Buuka ogende ku bubaka obulimu

AMAGEZI AGAYAMBA AMAKA | OKUKUZA ABAANA

Lwaki Okusoma Kikulu eri Abaana​—Ekitundu 2: Ekitabo Ekiri ku Ssimu oba Ekikube mu Kyapa?

Lwaki Okusoma Kikulu eri Abaana​—Ekitundu 2: Ekitabo Ekiri ku Ssimu oba Ekikube mu Kyapa?

 Kiki omwana wo ky’ayagala okusoma—ekitabo ekikube mu kyapa oba ekiri ku ssimu?

 Abavubuka bangi baagala kusomera ku ssimu. Dr. Jean M. Twenge ayawandiika nti: “Omulembe oguyigiriziddwa okunyiga ku linki eri ku ssimu oba okuseereza essimu n’ogenda mangu ku lupapula oluddako, tekibanguyira kusoma bitabo ebikube mu kyapa.”

 Tewali kubuusabuusa nti okusomera ku ssimu kulimu ebirungi. John ow’emyaka 20 agamba nti: “Essomero lye nnasomeramu lyakozesanga bitabo bya ku ssimu. Akakonge k’okunoonya kannyambanga okufuna kye nnabanga nneetaaga mu bwangu.”

 Abantu abasomera ku ssimu baba n’ebintu ebirala ebiwerako bye basobola okufuna amangu. Ng’ekyokulabirako, omusomi bw’anyiga obunyizi ku ssimu, asobola okufuna amakulu g’ekigambo, okuzannya amaloboozi agaakwatibwa, okulaba vidiyo ekwatagana n’ekyo ky’asoma, oba ebintu ebirala ebyongera okunnyonnyola ekyo ky’asomako. Naye ekyo kitegeeza nti si kyamuganyulo okusoma ekitabo ekikube mu kyapa?

 Abantu abamu baagala nnyo okusoma ebitabo ebikube mu kyapa bwe baba beesomesa ebintu bya Katonda eby’ebuziba. Lwaki?

  •   Okussaayo omwoyo. Omuvubuka omu ayitibwa Nathan agamba nti, “Bwe mba nsomera ku ssimu, obulango ne bumesegi bimpugula okuva ku ekyo kye mba ngezaako okussaako ebirowoozo.”

     Karen, ow’emyaka 20, alina okusoomooza kwe kumu. Agamba nti, “Bwe nsomera ku ssimu oba ku tabbuleeti, kyangu gye ndi okuwugulibwa ne ntandika okunyiga ku programu y’essimu endala oba okukemebwa okuzannya akazannyo.”

     Omusingi gwa Bayibuli: ‘Mukozese bulungi ebiseera byammwe.’—Abakkolosaayi 4:5.

     Eky’okulowoozaako: Omwana wo asobola okwefuga n’atawugulibwa ng’asoma oba nga yeesomesa bw’aba akozesa essimu oba tabbuleeti? Bwe kiba nga si bwe kiri, biki by’oyinza okukola okusobola okumuyamba okussaayo omwoyo ku ebyo by’aba asoma?

     Ekiyinza okukuyamba: Yamba omwana wo okukitegeera nti singa awugulibwa ebintu ebirala ebiri ku ssimu oba ku tabbuleeti ye, kijja kumutwalira ekiseera kiwanvu nnyo okukola ebiba bimuweereddwa ku ssomero era bw’atyo ajja kuba n’obudde butono okukola ebintu ebirala by’ayagala.

  •   Okutegeera. Ekitabo ekiyitibwa Be the Parent, Please, kigamba nti, “Okunoonyereza okuwerako kulaga nti abantu bwe basomera ku ssimu oba ku tabbuleeti tebategeera bulungi bye baba basoma nga bwe kiba nga babisomedde ku mpapula.”

     Ensonga emu eri nti, abantu abasomera ku ssimu ebiseera ebisinga basoma mangu mu kifo ky’okufumiitiriza ku ebyo bye basoma. Omuwandiisi w’ebitabo ayitibwa Nicholas Carr agamba nti, “Bwe tuba ku Intaneeti, tuba twagala okuyiga ebintu bingi nnyo amangu ddala nga bwe kisoboka.” b

     Kya lwatu nti, oluusi okusoma amangu kirimu ebirungi. Carr agamba nti, ekizibu kiri nti ensoma ey’ekika ekyo “efuuse engeri yaffe enkulu ey’okusomamu.” Kyokka, omwana wo ayinza okuyiga omuze gw’okusoma amangu ebintu n’atabitegeera bulungi.

     Omusingi gwa Bayibuli: “Mu byonna by’ofuna, funa n’okutegeera.”—Engero 4:7.

     Eky’okulowoozaako: Oyinza otya okuyamba omwana wo okuyiga okunoonyereza ku nsonga emu, ka kibe nti asomera ku lupapula oba ku ssimu?

     Ekiyinza okukuyamba: Togwa lubege. Ekikulu si kwe kukozesa ebitabo ebiri mu kyapa oba ku ssimu. Enkola zombi zirina ebirungi. Mu butuufu, ebintu ebimu ebiri ku ssimu bisobola okukifuula ekyangu okutegeera ebisomebwa. N’olwekyo, toba mukakanyavu ng’oyogera n’omwana wo ku birungi n’ebibi ebiri mu nkola zombi ez’okusoma. Ate era, kijjukire nti, buli mwana aba wa njawulo ku munne.

  •   Okujjukira by’osoma. Mu kitundu ekimu ekyafulumira mu Scientific American, Ferris Jabr yagamba nti, bw’ogeraageranya okusoma ebitabo ebikube mu kyapa ku kusoma ebitabo ebiri ku ssimu, okusomera ku ssimu kiyinza “okukooya ennyo obwongo bwaffe . . . era n’okukifuulamuko ekizibu okujjukira ebyo bye tuba tusomye.”

     Ng’ekyokulabirako, okusoma ekitabo ekikube mu kyapa kisobola okukuyamba okujjukira ensonga emu gy’oba wasomyeko, kubanga oba ojjukira wa we wagirabye ku lupapula. Ekyo kiyinza okukola ng’akasaze akakuyamba okuddamu okuzuula ensonga eyo oluvannyuma.

     Okugatta ku ekyo, abanoonyereza bakizudde nti abo abasoma ebintu ebikube mu kyapa batera okujjukira obulungi bye baba basomye. Bajjukira ebintu ebyo kubanga baba babiyize bulungi.

     Omusingi gwa Bayibuli: “Amagezi n’obusobozi bw’okulowooza obulungi tobiganyanga kukuvaako.”—Engero 3:21.

     Eky’okulowoozaako: Kizibuwalira omwana wo okutegeera oba okujjukira ebyo by’asomye? Bwe kiba kityo, oyinza otya okuyamba omwana wo okulongoosa mu ngeri gy’asomamu? Kyandiba nti okukozesa ekitabo ekikube mu kyapa kye kijja okumuyamba?

     Ekiyinza okukuyamba: Lowooza ku ngeri omwana wo gy’ayigamu ebintu okusinga ekyo ky’ayagala. Kyangu abantu okusavuwaza nga bagamba nti basinga kusoma bulungi nga bakozesezza essimu.

a Okuva mu kitabo, iGen.

b Okuva mu kitabo, The Shallows.