Buuka ogende ku bubaka obulimu

Sitaani Abeera Wa?

Sitaani Abeera Wa?

Bayibuli ky’egamba

 Olw’okuba Sitaani kitonde kya mwoyo, abeera mu kifo ekitalabika. Kyokka, tali mu Ggeyeena ng’abonyaabonya abantu ababi mu muliro ogutazikira ng’ekifaananyi ekiri mu kitundu kino bwe kiraga.

“Olutalo mu ggulu”

 Okumala ekiseera, Sitaani Omulyolyomi yatambulanga buli wamu mu twale ery’omwoyo era yagendanga ne mu maaso ga Katonda ng’ali wamu ne bamalayika abalala abeesigwa. (Yobu 1:6) Naye Bayibuli yali yalagula nti wandibaddewo “olutalo mu ggulu” era nti Sitaani yandigobeddwa mu ggulu ‘n’asuulibwa wano ku nsi.’ (Okubikkulirwa 12:7-9) Obunnabbi obuli mu Bayibuli n’ebyo ebizze bibaawo ku nsi biraga nti olutalo olwo lwamala dda okubaawo. Kati Sitaani ali wano ku nsi.

 Ekyo kitegeeza nti Sitaani alina ekifo kimu ky’abeeramu wano ku nsi? Ng’ekyokulabirako, Perugamo ekibuga eky’edda kyayogerwako nga awaali “entebe ya Sitaani” era nti ‘Sitaani gye yali abeera.’ (Okubikkulirwa 2:13) Kyokka, ebigambo ebyo birabika bitegeeza nti ekibuga ekyo kyali kijjuddemu ebikolwa eby’okusinza Staani. Bayibuli egamba nti Sitaani afuga “obwakabaka bwonna obw’omu nsi.” N’olwekyo tabeera mu kifo kimu kyokka, wabula atambula buli wamu ku nsi.​—Lukka 4:​5, 6.