Buuka ogende ku bubaka obulimu

Bayibuli Eyogera ki ku Bufumbo?

Bayibuli Eyogera ki ku Bufumbo?

Bayibuli ky’egamba

 Katonda bwe yamala okutonda omusajja n’omukazi abaasooka, yabagatta wamu ng’omwami n’omukyala. Yatandikawo obufumbo, omwami n’omukyala mwe bandibeeredde n’enkolagana ey’enjawulo, eyandibaleetedde okutebenkera mu bufumbo bwabwe awamu n’abaana be bandizadde.—Olubereberye 1:27, 28; 2:18.

 Katonda ayagala abafumbo babe basanyufu. (Engero 5:18) Yateeka mu Bayibuli emisingi egisobola okubayamba okuba abasanyufu.

Ebiri mu kitundu kino

 Emitindo gya Katonda egikwata ku bufumbo gye giruwa?

 Katonda yatandikawo obufumbo nga bwa kubaamu omwami omu, n’omukyala omu. (Olubereberye 2:24) Akyawa okufumbiriganwa n’omuntu asukka mu omu, okulya ebisiyaga, oba omusajja n’omukazi okubeera awamu ng’obufumbo bwabwe tebukkirizibwa mu mateeka. (1 Abassessalonika 4:3) Yesu yayigiriza abagoberezi be okunywerera ku mutindo gw’obufumbo Katonda gwe yassaawo.—Makko 10:6-8.

 Katonda ayagala obufumbo bube bwa lubeerera. Omwami n’omukyala bwe bafumbiriganwa, buli omu asuubiza okuba omwesigwa eri munne, n’okubeera awamu ebbanga lyonna lye banaamala nga balamu. Katonda asuubira abafumbo okunywerera ku bweyamo obwo.—Makko 10:9.

 Bayibuli eyogera ki ku kwawukana n’okugattululwa?

 Wayinza okubaawo ekiseera omwami oba omukyala w’ayinza okulekawoko munne, nga wazzeewo embeera emu. Ng’ekyokulabirako, ayinza okuba ng’alina bye yeetaaga okukolako mu bwangu ebikwata ku maka gaabwe. Kyokka Bayibuli tewagira bafumbo kwawukana nga bafunye ebizibu. Mu kifo ky’ekyo, ebakubiriza okubigonjoola.—1 Abakkolinso 7:10.

 Obwenzi ye nsonga yokka mu Byawandiikibwa abafumbo gye basobola okusinziirako okugattululwa. (Matayo 19:9) N’olwekyo, singa omwami n’omukyala basalawo okwawukana oba okugattululwa nga basinziira ku nsonga endala, buli omu ku bo Ebyawandiikibwa tebimukkiriza kwogerezeganya oba kufumbiriganwa na muntu mulala.—Matayo 5:32; 1 Abakkolinso 7:11.

 Obufumbo bulina kuba buwandiise mu mateeka okusobola okusiimibwa Katonda?

 Katonda asuubira Abakristaayo okugondera amateeka agakwata ku bufumbo ab’obuyinza ge bassaawo. (Tito 3:1) Omwami n’omukyala bwe bawandiisa obufumbo bwabwe mu mateeka, kiba kiraga nti bagondera ab’obuyinza, era baba bakolera ku musingi Katonda gwe yassaawo nti abafumbo buli omu alina okunywerera ku munne. a

 Omwami n’omukyala balina buvunaanyizibwa ki mu maka?

  •   Obuvunaanyizibwa buli omu bw’alina. Omwami n’omukyala buli omu asaanidde okulaga munne okwagala era n’okumussaamu ekitiibwa. (Abeefeso 5:33) Buli omu asaanidde okufaayo ku nneewulira za munne ku bikwata ku kwegatta n’okwewala obutali bwesigwa obw’engeri yonna. (1 Abakkolinso 7:3; Abebbulaniya 13:4) Bwe baba n’abaana, bombi bavunaanyizibwa okubatendeka.—Engero 6:20.

     Bayibuli tetubuulira kalonda yenna akwata ku ngeri abafumbo gye basaanidde okugabanamu emirimu gy’awaka, n’emirimu gye bakola okweyimirizaawo. Basobola okusalawo engeri gye banaagikolamu.

  •   Obuvunaanyizibwa omwami bw’alina. Bayibuli egamba nti “omwami gwe mutwe gwa mukyala we.” (Abeefeso 5:23) Omwami gwe mutwe gwa maka mu ngeri nti, y’asaanidde okuwa ab’omu maka ge obulagirizi n’okusalawo mu ngeri enaaganyula mukyala we n’abaana.

     Omwami alina okufuba okulaba nti akola ku byetaago by’ab’omu maka ge eby’omubiri, eby’omwoyo, n’okufaayo ku nneewulira yaabwe. (1 Timoseewo 5:8) Akiraga nti afaayo ku ngeri za mukyala we, n’ebyo by’asobola okukola, ng’akolera wamu naye era ng’afaayo ku ndowooza ye n’enneewulira ye ng’alina by’asalawo. (Engero 31:11, 28) Bayibuli ekiraga nti omwami asaanidde okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe mu ngeri ey’okwagala.—Abakkolosaayi 3:19.

  •   Obuvunaanyizibwa omukyala bw’alina. Bayibuli egamba nti “omukyala asaanidde okussaamu ennyo omwami we ekitiibwa.” (Abeefeso 5:33) Omukyala bw’assaamu omwami we ekitiibwa, asanyusa Katonda.

     Omukyala alina obuvunaanyizibwa okuyamba omwami we okusalawo mu ngeri ennungi era n’okumuwagira ng’omutwe gw’amaka. (Olubereberye 2:18) Omukyala atuukiriza obuvunaanyizibwa bwe, Bayibuli emwogerako bulungi.—Engero 31:10.

 Katonda yeetaagisa abafumbo leero okuzaala abaana?

 Nedda. Mu biseera eby’edda Katonda yalagira abamu ku baweereza be okuzaala abaana. (Olubereberye 1:28; 9:1) Naye ekiragiro ekyo tekikwata ku Bakristaayo. Yesu teyalagira bagoberezi be kuzaala baana, era tewali n’omu ku bayigirizwa be ab’edda eyagamba nti abafumbo balina okuzaala abaana. Abafumbo basaanidde okwesalirawo obanga banaazaala abaana.

 Bayibuli esobola etya okunnyamba mu bufumbo bwange?

 Bayibuli erimu emisingi egisobola okuyamba omwami n’omukyala okutandika obulungi obufumbo bwabwe. Emisingi gya Bayibuli gisobola okuyamba abafumbo okwewala ebizibu, n’okubigonjoola.

 Emisingi gya Bayibuli egisobola okuyamba abafumbo . . .

a Okumanya ebikwata ku bufumbo bw’ekinnansi, laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Noovemba 1, 2006, olupapula 15, akatundu 12.