Ddala Ebyo Ebiri mu Bayibuli Byava eri Katonda?
Bayibuli ky’egamba
Abawandiisi ba Bayibuli bangi baakiraga nti Katonda ye yabawa obulagirizi nga bagiwandiika. Lowooza ku byokulabirako bino wammanga:
Kabaka Dawudi yagamba nti: “Omwoyo gwa Yakuwa gwayogera okuyitira mu nze; ekigambo kye kyali ku lulimi lwange.”—2 Samwiri 23:1, 2.
Nnabbi Isaaya yagamba nti: “Bw’ati Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ow’eggye, bw’agamba.”—Isaaya 22:15.
Omutume Yokaana yagamba nti: “Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo Katonda kwe yamuwa.”—Okubikkulirwa 1:1.