Kyetaagisa Okubaako Eddiini gy’Olimu?
Bayibuli ky’egamba
Yee, kubanga Katonda ayagala abantu bakuŋŋaane wamu okumusinza. Bayibuli egamba nti: “Ka buli omu ku ffe alowoozenga ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi, nga tetulekaayo kukuŋŋaananga wamu.”—Abebbulaniya 10:24, 25, obugambo obuli wansi.
Yesu yalaga nti abagoberezi be bandibadde bategekeddwa bulungi ng’ekibiina, bwe yagamba nti: “Ku kino bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange–bwe munaayagalananga.” (Yokaana 13:35) Engeri enkulu abagoberezi ba Yesu gye bandibadde balagaŋŋanamu okwagala okwo, kwe kukuŋŋaananga awamu ne bakkiriza bannaabwe. Bandibadde bategekeddwa mu bibiina, era nga bakuŋŋaana wamu obutayosa okusinza Katonda. (1 Abakkolinso 16:19) Bonna mu nsi bandibadde bumu ng’ab’oluganda.—1 Peetero 2:17.
Okubeera obubeezi n’eddiini tekimala
Wadde nga Bayibuli eraga nti abantu balina okukuŋŋaananga awamu okusinza Katonda, naye era eyigiriza nti omuntu okubaako eddiini gy’alimu ku bwakyo tekimala kusanyusa Katonda. Eddiini y’omuntu okusobola okusanyusa Katonda erina okuba ng’emuyamba okweyisa obulungi buli lunaku. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli egamba nti: “Eddiini ennongoofu era eteriiko bbala mu maaso ga Katonda waffe era Kitaffe y’eno: okulabirira bamulekwa ne bannamwandu mu nnaku yaabwe, n’okwekuuma obutaba na mabala ga nsi.”—Yakobo 1:27, obugambo obuli wansi.