Biki Katonda by’Ayagala Nkole?
Bayibuli ky’egamba
Katonda ayagala omumanye era ofune enkolagana ey’oku lusegere naye, mu ngeri eyo osobole okumwagala era omuweereze n’omutima gwo gwonna. (Matayo 22:37, 38; Yakobo 4:8) Engeri Yesu gye yeeyisaamu era n’ebyo bye yayigiriza bisobola okukuyamba okumanya engeri gy’oyinza okukolamu Katonda by’ayagala. (Yokaana 7:16, 17) Yesu teyayogeranga bwogezi ku ebyo Katonda by’ayagala wabula yabikolanga. Mu butuufu, Yesu yagamba nti ekintu kye yali asinga okutwala ng’ekikulu mu bulamu bwe kwe ’kukola ebyo oyo eyamutuma by’ayagala.’—Yokaana 6:38.
Okusobola okumanya ebyo Katonda by’ayagala nkole nnina kusooka kufuna kabonero, kwolesebwa, oba okuyitibwa kuva gy’ali?
Nedda, kubanga ebyo byonna Katonda by’ayagala abantu bamanye bisangibwa mu Bayibuli. Bayibuli erimu byonna bye weetaaga “okusobola okukola buli mulimu omulungi.” (2 Timoseewo 3:16, 17) Katonda ayagala okozese Bayibuli awamu ‘n’obusobozi bwo obw’okulowooza’ osobole okumanya by’ayagala okole.—Abaruumi 12:1, 2; Abeefeso 5:17.
Ddala nsobola okukola Katonda by’ayagala?
Yee, osobola kubanga Bayibuli egamba nti: “ebiragiro bye tebizitowa.” (1 Yokaana 5:3) Ekyo tekitegeeza nti bulijjo kyangu okugondera amateeka ga Katonda. Naye bw’ogagondera ofuna emikisa mingi. Yesu yagamba nti: “Abalina essanyu beebo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikolerako!”—Lukka 11:28.