Buuka ogende ku bubaka obulimu

Bayibuli Eyogera Ki ku Nsibuko y’Olunaku lwa Halloween?

Bayibuli Eyogera Ki ku Nsibuko y’Olunaku lwa Halloween?

Bayibuli ky’egamba

 Bayibuli teyogera ku Halloween. Kyokka ensibuko y’olunaku olwo n’obulombolombo obukolebwa ku lunaku olwo byesigamiziddwa ku njigiriza ez’obulimba ezikwata ku bafu, n’ebitonde eby’omwoyo ebiyitibwa dayimooni.—⁠Laba ebiri wansi w’omutwe  “Ebyafaayo bya Halloween n’obulombolombo obukolebwa.”

 Bayibuli etulabula nti: “Tewalabikanga mu ggwe . . . eyeebuuza ku bafu.” (Ekyamateeka 18:10-​12) Wadde ng’abamu ebikolebwa ku lunaku lwa Halloween babitwala ng’okwesanyusaamu, Bayibuli eraga nti bya bulabe. Mu 1 Abakkolinso 10:20, 21, Bayibuli egamba nti: “Saagala mmwe mugabane ne badayimooni. Temuyinza kunywa ku kikopo kya Yakuwa ne ku kikopo kya badayimooni.”

 Ebyafaayo bya Halloween n’obulombolombo obukolebwa

  1.   Samhain : Ensibuko ya Halloween erina akakwate n’omukolo oguyitibwa Samhain ogw’edda. Ekitabo ekiyitibwa The World Book Encyclopedia kyogera bwe kiti ku mukolo oguyitibwa Samhain: “Abantu abayitibwa Abaseruti (Celts) baalina omukolo ogw’ekikaafiiri gwe baakuzanga emyaka 2000 emabega. Abaseruti bakkirizanga nti ku mukolo ogwo abafu baatambulanga n’abantu abalamu era baabakyaliranga.” Kyokka Bayibuli eyigiriza nti “abafu tebaliiko kye bamanyi.” (Omubuulizi 9:5) N’olwekyo, tebasobola kwogera na balamu.

  2.   Ebyambolo bya Halloween, buswiti, ebirabo oba obuzannyo: Okusinziira ku kitabo ekiyitibwa Halloween​—An American Holiday, An American History, Abaseruti abamu baayambalanga ebyambalo ebyabafaananyanga ng’abafu, emwoyo emibi gireme kubatuusaako kabi. Abalala emyoyo baagiwanga buswiti basobole okugisanyusa. Mu biseera eby’edda, abakulembeze b’eddiini y’Ekikatuliki mu Bulaaya baatandika okwenyigira mu bulombolombo obwo obw’ekikaafiiri era ne bagamba abagoberezi baabwe okwambala ebyambalo batambule nnyumba ku nnyumba nga basaba ebirabo. Ku luuyi olulala, Bayibuli egaana okugattika obulombolombo bw’ekikaafiiri n’okusinza Katonda.​—⁠2 Abakkolinso 6:​17.

  3.   Emizimu, vampaya, abasezi, abalogo, n’ebikulekule: Ebigambo ebyo abantu babikozesa nga boogera ku mwoyo emibi. (Halloween Trivia) Bayibuli ekyoleka kaati nti tulina okuziyiza emyoyo emibi, so si kujaguza nagyo.​—⁠Abeefeso 6:​12.

  4.   Ensujju z’oku Halloween: Mu Bungereza ey’edda, “abantu abamu baatambulanga nnyumba ku nnyumba nga basaba emmere ne balyoka basabira abafu b’oyo eyabanga agibawadde,” era baasitulanga “ensujju gye baabanga bakubyemu ekituli ng’erimu ettaala, era ng’ettaala eyo ekiikirira omwoyo ogusibiddwa mu puligaatooli.” (Halloween​—From Pagan Ritual to Party Night) Abalala bagamba nti ettaala ezo zaagobanga emyoyo emibi. Mu myaka gya 1800 ensujju zaatandika okukozesebwa kubanga zaabanga nnyingi era nga kyangu okuzikubamu ebituli. Enzikiriza ezeesigamiziddwako omukolo guno, gamba ng’eyo egamba nti omwoyo tegufa, puligaatooli, n’okusabira abafu, tezeesigamiziddwa ku Bayibuli.​—⁠Ezeekyeri 18:4.