Buuka ogende ku bubaka obulimu

Omwoyo Kye Ki?

Omwoyo Kye Ki?

Bayibuli ky’egamba

 Ekigambo ruʹach eky’Olwebbulaniya n’ekigambo pneuʹma eky’Oluyonaani ebitera okuvvuunulwa “omwoyo,” birina amakulu agatali gamu. Byombi biwa amakulu ag’ekintu abantu kye batasobola kulaba naye ng’amaanyi gaakyo geeyolekera mu bintu bye kikola. Ebigambo ebyo eby’Olwebbulaniya n’Oluyonaani bisobola okutegeeza (1) empewo, (2) obulamu obuli mu bintu ebiramu ebiri ku nsi, (3) enneewulira ebeera mu mutima gw’omuntu ogw’akabonero emuleetera okwogera oba okukola ebintu mu ngeri emu oba endala, (4) ebigambo ebiruŋŋamiziddwa amaanyi agatalabika, (5) ebitonde eby’omwoyo, ne (6) amaanyi Katonda g’akozesa, oba omwoyo omutukuvu.​—Okuva 35:21; Zabbuli 104:29; Matayo 12:43; Lukka 11:13.

Adamu bwe yatondebwa yaweebwa amaanyi ag’obulamu ‘n’afuuka omuntu omulamu’

 Yakuwa Katonda bwe yatonda omuntu eyasooka, Adamu, Bayibuli egamba nti ‘yafuuwa mu nnyindo ze omukka ogw’obulamu, omuntu n’afuuka omulamu.’ (Olubereberye 2:7) Weetegereze nti mu lunyiriri olwo, Katonda yafuuwa mu muntu omukka oba amaanyi agaamusobozesa okuba omulamu.

Ddala Abantu Balina Omwoyo Ogutafa?

 Abawandiisi ba Bayibuli baakozesa ekigambo ky’Olwebbulaniya ruʹach oba eky’Oluyonaani pneuʹma ekitera okuvvuunulwa nti “omwoyo.” Ebyawandiikibwa biraga amakulu g’ekigambo ekyo. Ng’ekyokulabirako, Yakobo 2:​26 wagamba nti: ‘Omubiri ogutaliimu mwoyo [pneuʹma] guba mufu.’ N’olwekyo, mu lunyiriri olwo, “omwoyo” gutegeeza ekyo ekisobozesa omubiri okuba omulamu. Awatali mwoyo, omubiri guba mufu. Mu Bayibuli, ekigambo ruʹach tekivvuunulwa nga “mwoyo” kyokka, naye era kivvuunulwa ‘ng’omukka ogw’obulamu’ oba amaanyi ag’obulamu. Ng’ekyokulabirako, ng’ayogera ku mataba g’omu biseera bya Nuuwa, Katonda yagamba nti: “Ŋŋenda kuleeta amataba ku nsi okuzikiriza buli ekirina omubiri ekirina omukka ogw’obulamu [ruʹach] ekiri wansi w’eggulu.” (Olubereberye 6:17; 7:15, 22) N’olwekyo, ekigambo “omwoyo” kitegeeza amaanyi agatalabika agasobozesa ebitonde byonna ebiramu okuba ebiramu.

Ekyokulabirako

 Omubiri gwetaaga omwoyo mu ngeri y’emu nga leediyo bwe yeetaaga amanda oba amasannyalaze, okusobola okwogera. Okusobola okukitegeera obulungi, lowooza ku ka leediyo akatono. Bw’oteeka amanda mu leediyo oba bw’ogiteeka ku masannyalaze, esobola okwogera. Kyokka awatali manda oba masannyalaze, leediyo tesobola kwogera. Mu ngeri y’emu, omwoyo ge maanyi agasobozesa emibiri gyaffe okubeera emiramu. Okufaananako amasannyalaze, omwoyo tegulina nneewulira era tegusobola kulowooza. Maanyi bwanyi. Kyokka, awatali mwoyo, oba amaanyi ag’obulamu, emibiri gyaffe ‘gifa era ne giddayo mu nfuufu,’ ng’omuwandiisi wa zabbuli bwe yagamba.​—Zabbuli 104:29.

 Nga woogera ku kufa kw’omuntu, Omubuulizi 12:7 wagamba nti: ‘Enfuufu [y’omubiri gwe] edda mu ttaka gye yali mu kusooka, n’omwoyo ne gudda eri Katonda ow’amazima eyaguwa abantu.’ Omwoyo, oba amaanyi g’obulamu bwe gava mu mubiri, omubiri gufa ne guddayo mu ttaka gye gwava. Mu ngeri y’emu, amaanyi agasobozesa omuntu okuba omulamu gaddayo eri Katonda gye gaava. (Yobu 34:14, 15; Zabbuli 36:9) Kyokka, kino tekitegeeza nti amaanyi ago gatambula ne gagenda mu ggulu. Wabula kitegeeza nti omuntu afudde okusobola okuddamu okuba omulamu mu biseera eby’omu maaso, kiba kyesigamye ku Yakuwa Katonda. Mu ngeri endala, obulamu bwe buba mu mikono gya Katonda. Katonda yekka y’asobola okuddamu okuwa omuntu oyo omwoyo oba amaanyi ag’obulamu, n’addamu okubeera omulamu.

Enjigiriza egamba nti omuntu bw’afa omwoyo gwe gusigala nga mulamu, yava wa?

 Enjigiriza eyo teva mu Bayibuli, wabula yava mu njigiriza endala ez’obulimba, gamba nga mu bufirosoofo bw’Abayonaani ab’edda. Katonda tayagala tugattike njigiriza ze na bufirosoofo bw’abantu. Bayibuli etulabula nti: “Mwegendereze waleme kubaawo abafuula abaddu ng’akozesa obufirosoofo n’eby’obulimba ebitaliimu ebyesigamiziddwa ku bulombolombo bw’abantu.”​—Abakkolosaayi 2:8.