Ddala Sitaani Alina Obuyinza ku Bantu?
Bayibuli ky’egamba
Sitaani ne dayimooni balina obuyinza bungi ku bantu, era Bayibuli egamba nti: “Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” (1 Yokaana 5:19) Bayibuli eyogera ku ngeri Sitaani gy’afugamu abantu.
Okulimba. Bayibuli ekubiriza Abakristaayo ‘okuziyiza enkwe za Sitaani.’ (Abeefeso 6:11) Akamu ku bukodyo Sitaani bw’akozesa, kwe kulimbalimba abantu ng’abaleetera okulowooza nti abo abamuweereza, baba baweereza ba Katonda.—2 Abakkolinso 11:13-15.
Eby’obusamize. Sitaani abuzaabuza abantu okuyitira mu basamize, abalaguzi, n’abalogo. (Ekyamateeka 18:10-12) Okukozesa ebiragalalagala, omuntu omulala okufuga ebirowoozo byo, n’engeri z’okufumiitiriza ezireka omuntu nga takyalina ky’alowooza, zimuleetera okufugibwa dayimooni.—Lukka 11:24-26.
Amadiini ag’obulimba. Amadiini agayigiriza ebintu eby’obulimba galeetera abantu okujeemera Katonda. (1 Abakkolinso 10:20) Enjigiriza ng’ezo ez’obulimba Bayibuli eziyita “okuyigiriza kwa badayimooni.”—1 Timoseewo 4:1.
Okukwatibwa dayimooni. Bayibuli eyogera ku bantu abaaliko emwoyo emibi. Ebiseera ebimu emyoyo egyo gyafuulanga abantu abazibe, gyabalemesanga okwogera, era gyabaleeteranga okwesalaasala n’amayinja.—Matayo 12:22; Makko 5:2-5.
Engeri gye tuyinza okwewalamu enkwe za Sitaani
Tosaanidde kutya dayimooni kubanga Bayibuli etubuulira engeri gye tusobola okuziyizaamu Sitaani:
Fuba okumanya obukodyo Sitaani bw’akozesa osobole okuba ‘ng’omanyi enkwe ze.’—2 Abakkolinso 2:11.
Yiga ebiri mu Bayibuli era obikolereko. Okukolera ku magezi agali mu Bayibuli kijja kukukuuma Sitaani aleme kukutuusaako kabi.—Abeefeso 6:11-18.
Weggyeeko buli kintu ekirina akakwate ne Dayimooni. (Ebikolwa 19:19) Ebyo bizingiramu ennyimba, ebitabo, magazini, ebipande, ne vidiyo ezikubiriza eby’obusamize.