Ddala Sitaani y’Aleeta Okubonaabona Kwonna?
Bayibuli ky’egamba
Bayibuli eraga nti Sitaani Omulyolyomi ddala gy’ali, era nti afuba nnyo okutuukiriza by’ayagala ng’akozesa “obubonero obw’obulimba” “n’obulimba.” Mu butuufu, Bayibuli egamba nti Sitaani “yeefuula malayika ow’ekitangaala.” (2 Abassessalonika 2:9, 10; 2 Abakkolinso 11:14) Ebintu ebibi ennyo ebiriwo mu nsi leero bikakasa nti ddala Sitaani gy’ali.
Naye Sitaani si y’aleeta okubonaabona kwonna. Lwaki? Katonda yatonda abantu nga basobola okusalawo okukola ekirungi oba ekibi. (Yoswa 24:15) Bwe tusalawo obubi, ebivaamu tebiba birungi.—Abaggalatiya 6:7, 8.