Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Nnaagenda Eri Ani?

Nnaagenda Eri Ani?

Wanula:

  1. 1. Eddoboozi lya Yesu

    Nze lye mpuliriza.

    Y’ammulisiza

    Ekkubo lye ndimu.

    Ye gwe ngoberera,

    Ye musumba wange.

    Ankulembera,

    Tayinza kumpabya.

    (PRE-CHORUS)

    Sijja kuwuliriza

    Maloboozi g’abalala;

    Baagal’o kunzigya

    Mu kkubo ly’obulamu.

    (CHORUS)

    Nze ŋŋende eri ani?

    Wa gye nnyinza okuddukira?

    Ani gwe mpuliriza?

    Abalala bonna

    Beenoonyeza byabwe.

    Yesu nze gwe nnaawuliriza.

  2. 2. Nze ’ra ndi mumativu

    Kubanga ’nfaako nnyo,

    N’ab’oluganda

    Bandag’o kwagala.

    Ate ’ra Yakuwa

    Y’oyo gwe yatuwa.

    Y’alin’e bigambo

    Eby’obulamu.

    (PRE-CHORUS)

    Nze siwuliriza

    Maloboozi g’abalala;

    Baagal’o kunzigya

    Mu kkubo ly’obulamu.

    (CHORUS)

    Nze ŋŋende eri ani?

    Wa gye nnyinza okuddukira?

    Ani gwe mpuliriza?

    Abalala bonna

    Beenoonyeza byabwe.

    Yesu nze gwe nnaawuliriza.

    (CHORUS)

    Nze ŋŋende eri ani?

    Wa gye nnyinza okuddukira?

    Ani gwe mpuliriza?

    Abalala bonna

    Beenoonyeza byabwe.

    Yesu nze gwe nnaawuliriza..

    Nze ŋŋende eri ani?

    Yesu gwe nj’o kuwuliriza.