OLUYIMBA 17
“Njagala”
-
1. ’Kwagala kwa Yesu kungi;
Yakwoleka ng’ali ku nsi.
Byonna bye yakola
Byali bya kisa;
Yalaga obusaasizi.
Yalumirirwa ’banaku.
Yayamba abawombeefu.
Yayagala nnyo ’buweereza bwe
Era yagamba: “Njagala.”
-
2. Tufuba okumukoppa
Mw’ebyo byonna bye tukola.
Tufaayo nnyo ddala
Ku bantu bonna
Abaagala amazima.
Tetwerabira banaku
N’abalina ebizibu.
Kale ’nfuuzi bwe bakusaba ggwe,
Baddengamu nti: “Njagala.”
(Laba ne Yok. 18:37; Bef. 3:19; Baf. 2:7.)