OLUYIMBA 31
Tambulanga ne Katonda!
-
1. Tambulanga ne Katonda;
Beeranga mwetoowaze.
Weesige Yakuwa; musabenga
Akuwe omwoyo gwe.
Bw’onywerera ku Kigambo kye
Toyinza kuwaba.
Kale ’kkubo ly’akulaga
Mw’oba otambulira.
-
2. Tambulanga ne Katonda;
Kolanga ebigwana.
’Bigezo bibe bya maanyi bitya,
Ajja kukuyambanga.
Buli kintu ekirongoofu
Ko n’eby’amazima,
By’oba olowoozangako,
Osanyuse Katonda.
-
3. Tambulanga ne Katonda;
Munywerereko ddala.
Siimanga buli kimu ky’akuwa;
Era by’akuwa bingi.
Yongera ’kutambula naye;
Mutenderezenga.
Bonna bajja kukiraba
Nti ggw’oli wa Yakuwa.
(Laba ne Lub. 5:24; 6:9; Baf. 4:8; 1 Tim. 6:6-8.)