Ebimu ku Bye Tuyiga mu Kigambo kya Katonda
Bayibuli erimu obubaka bwa Katonda eri abantu. Etulaga engeri gye tusobola okutambuzaamu obulamu bwaffe mu ngeri esanyusa Katonda. Era eddamu ebibuuzo bino wammanga:
ENGERI Y’OKUZUULAMU EKYAWANDIIKIBWA MU BAYIBULI
Bayibuli erimu ebitabo 66. Erimu ebitundu bibiri: Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya n’Olulamayiki (“Endagaano Enkadde”) n’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani (“Endagaano Empya”). Buli kitabo kya Bayibuli kirimu essuula n’ennyiriri. Ekyawandiikibwa bwe kijulizibwa, ennamba eddirira erinnya ly’ekitabo y’eba essuula, ate ennamba eddako oba ennamba eziddako ze ziba ennyiriri. Ng’ekyokulabirako, Olubereberye 1:1 kitegeeza Olubereberye essuula 1, olunyiriri 1.