EKIBUUZO 19
Biki Ebyogerwako mu Bitabo bya Bayibuli Ebitali Bimu?
EBYAWANDIIKIBWA EBY’OLWEBBULANIYA (“ENDAGAANO ENKADDE”)
EBITABO EBITAANO EBISOOKA MU BAYIBULI (EBITABO 5)
Olubereberye, Okuva, Eby’Abaleevi, Okubala, Ekyamateeka
Okuva ku kutonda okutuuka ku kuteekebwawo kw’eggwanga lya Isirayiri
EBITABO EBIRIMU EBYAFAAYO (EBITABO 12):
Yoswa, Ekyabalamuzi, Luusi
Ebyaliwo ng’Eggwanga lya Isirayiri liyingira mu Nsi Ensuubize n’ebyaddirira
1 ne 2 Samwiri, 1 ne 2 Bassekabaka, 1 ne 2 Ebyomumirembe
Ebyafaayo by’eggwanga lya Isirayiri okutuukira ddala Yerusaalemi bwe kyazikirizibwa
Ezera, Nekkemiya, Eseza
Ebyafaayo by’Abayudaaya oluvannyuma lw’okuva mu buwambe e Babulooni
EBITABO EBYAWANDIIKIBWA MU NGERI EY’EBITONTOME (EBITABO 5):
Yobu, Zabbuli, Engero, Omubuulizi, Oluyimba
Ebigambo eby’amagezi n’ennyimba
EBITABO BY’OBUNNABBI (EBITABO 17):
Isaaya, Yeremiya, Okukungubaga, Ezeekyeri, Danyeri, Koseya, Yoweeri, Amosi, Obadiya, Yona, Mikka, Nakkumu, Kaabakuuku, Zeffaniya, Kaggayi, Zekkaliya, Malaki
Obunnabbi obukwata ku bantu ba Katonda
EBYAWANDIIKIBWA EBY’OLUYONAANI (“ENDAGAANO EMPYA”)
ENJIRI ENNYA (EBITABO 4):
Matayo, Makko, Lukka, Yokaana
Obulamu bwa Yesu n’obuweereza bwe ku nsi
EBIKOLWA BY’ABATUME (EKITABO 1):
Ebikwata ku ngeri ekibiina Ekikristaayo gye kyatandikamu n’omulimu gw’obuminsani
AMABALUWA (EBITABO 21):
Abaruumi, 1 ne 2 Abakkolinso, Abaggalatiya, Abeefeso, Abafiripi, Abakkolosaayi, 1 ne 2 Abassessaloniika
Amabaluwa eri ebibiina ebitali bimu
1 ne 2 Timoseewo, Tito, Firemooni
Amabaluwa eri Abakristaayo kinoomu
Abebbulaniya, Yakobo, 1 ne 2 Peetero, 1, 2, ne 3 Yokaana, Yuda
Amabaluwa eri Abakristaayo bonna
OKUBIKKULIRWA (EKITABO 1):
Obunnabbi obwaweebwa omutume Yokaana mu kwolesebwa