EKIBUUZO 12
Ssuubi Ki Lye Tulina Erikwata ku Bantu Abaafa?
“Temwewuunya kino, kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye ne bavaamu.”
“Wajja kubaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.”
“Ne ndaba abafu, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa, nga bayimiridde mu maaso g’entebe y’obwakabaka, emizingo ne gyanjuluzibwa. N’omuzingo omulala ne gwanjuluzibwa; gwe muzingo ogw’obulamu. Abafu ne balamulwa okusinziira ku ebyo ebyawandiikibwa mu mizingo ng’ebikolwa byabwe bwe byali. Ennyanja n’ereeta abafu abagirimu, n’okufa n’amagombe ne bireeta abafu ababirimu, ne balamulwa kinnoomu okusinziira ku bikolwa byabwe.”