1 Abakkolinso 15:1-58
15 Kaakano ab’oluganda, mbajjukiza amawulire amalungi ge nnababuulira,+ ge mwakkiriza, era ge munywereddeko.
2 Era nammwe mujja kulokolebwa okuyitira mu mawulire amalungi ge mwawulira okuva gye ndi singa mugakuumira ddala; bwe kitaba kityo, kiba kitegeeza nti mwakkiririza bwereere.
3 Mu bintu ebikulu nange bye nnaweebwa, nnabayigiriza ekigamba nti Kristo yafa ku lw’ebibi byaffe ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba;+
4 era nti yaziikibwa,+ n’azuukizibwa+ ku lunaku olw’okusatu+ ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba;+
5 era yalabikira Keefa,*+ ate n’alabikira n’Ekkumi n’Ababiri.+
6 Oluvannyuma yalabikira ab’oluganda abasukka mu 500 omulundi gumu,+ era abasinga obungi bakyaliwo naye abamu baafa.*
7 Oluvannyuma yalabikira Yakobo,+ n’azzaako abatume bonna.+
8 Oluvannyuma lwa bonna, nange n’andabikira+ ng’omwana omusowole.
9 Nze nsembayo mu batume era sisaanira kuyitibwa mutume, kubanga nnayigganya ekibiina kya Katonda.+
10 Naye olw’ekisa kya Katonda eky’ensusso, ndi ekyo kye ndi. Era ekisa eky’ensusso kye yandaga tekyafa bwereere, kubanga nnakola nnyo okubasinga bonna; naye si nze nnakola wabula ekisa kya Katonda ekiri nange kye kyakola.
11 K’abe nze oba bo, bwe tutyo bwe tubuulira, era bwe mutyo bwe mwakkiriza.
12 Kale bwe tuba tubuulira nti Kristo yazuukizibwa mu bafu,+ lwaki abamu ku mmwe mugamba nti teri kuzuukira kw’abafu?
13 Bwe kiba nti ddala teri kuzuukira, ne Kristo aba teyazuukizibwa.
14 Naye bwe kiba nti Kristo teyazuukizibwa, okubuulira kwaffe kuba kwa bwereere, n’okukkiriza kwammwe kuba kwa bwereere.
15 Ate era, naffe tuba tuwa obujulirwa obw’obulimba ku Katonda+ kubanga tugamba nti yazuukiza Kristo+ ng’ate teyamuzuukiza, bwe kiba nti ddala abafu tebajja kuzuukizibwa.
16 Bwe kiba nti abafu tebajja kuzuukizibwa, ne Kristo aba teyazuukizibwa.
17 Ate era, Kristo bw’aba nga teyazuukizibwa, okukkiriza kwammwe kuba tekugasa; era muba mukyali mu bibi byammwe.+
18 Era n’abo abaafa* nga bali mu Kristo baasaanawo.+
19 Bwe kiba nti mu bulamu buno mwokka mwe tusuubirira mu Kristo, tuli ba kusaasirwa okusinga omuntu omulala yenna.
20 Kyokka, Kristo yazuukizibwa mu bafu, era ye bye bibala ebibereberye eby’abo abaafa.*+
21 Kubanga ng’okufa bwe kwayitira mu muntu,+ n’okuzuukira kw’abafu nakwo kuyitira mu muntu.+
22 Nga bonna bwe bafiira mu Adamu,+ era bonna bajja kufuulibwa balamu mu Kristo.+
23 Naye buli omu mu kiti kye; Kristo ebibala ebibereberye,+ oluvannyuma abo aba Kristo mu kiseera ky’okubeerawo kwe.+
24 Awo ku nkomerero ajja kuwaayo Obwakabaka eri Katonda we era Kitaawe, ng’amaze okuggyawo obufuzi bwonna, obuyinza bwonna, n’amaanyi gonna.+
25 Kubanga alina okufuga nga kabaka okutuusa nga Katonda amaze okussa abalabe be bonna wansi w’ebigere bye.+
26 Era omulabe alisembayo okuggibwawo kwe kufa.+
27 Katonda “yassa ebintu byonna wansi w’ebigere bye.”+ Naye bwe kigambibwa nti ‘ebintu byonna byassibwa wansi we,’+ kyeyoleka kaati nti tekizingiramu Oyo eyassa byonna wansi we.+
28 Naye ebintu byonna bwe birimala okussibwa wansi we, Omwana naye alyessa wansi w’Oyo eyassa ebintu byonna wansi we,+ Katonda alyoke abeere byonna eri buli omu.+
29 Abafu bwe baba nga tebajja kuzuukizibwa, abo ababatizibwa olw’ekigendererwa eky’okubeera abafu+ balikola ki? Lwaki babatizibwa olw’ekigendererwa eky’okubeera abafu?
30 Lwaki naffe obulamu bwaffe buba mu kabi buli kiseera?+
31 Buli lunaku njolekagana n’okufa. Era kino ab’oluganda nkikakasa olw’okwenyumiriza kwe mbalinamu mu Kristo Yesu Mukama waffe.
32 Bwe kiba nti okufaananako abalala* nnalwana n’ensolo mu Efeso,+ ekyo kingasa ki? Bwe kiba nti abafu tebajja kuzuukizibwa, “ka tulye era tunywe, kubanga enkya tujja kufa.”+
33 Temulimbibwanga. Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.+
34 Muddeemu amagezi mukole eby’obutuukirivu era temutambuliranga mu kibi, kubanga abamu tebamanyi Katonda. Njogedde kubakwasa nsonyi.
35 Naye omu ajja kugamba nti: “Abafu banaazuukira batya? Mubiri gwa ngeri ki gwe banajja nagwo?”+
36 Ggwe atalina magezi! Gy’osiga teyinza kuba nnamu okuggyako ng’esoose kufa.
37 Era gy’osiga, tosiga mubiri gw’eriba nagwo, naye osiga mpeke njereere, k’ebe ya ŋŋaano oba ensigo endala yonna;
38 naye Katonda agiwa omubiri nga bw’aba ayagadde, era buli nsigo agiwa omubiri gwayo.
39 Emibiri gyonna tegifaanana, waliwo ogw’abantu, ogw’ente, ogw’ebinyonyi, n’ogw’ebyennyanja.
40 Era waliwo emibiri egy’omu ggulu+ n’emibiri egy’oku nsi;+ naye ekitiibwa eky’egy’omu ggulu kirala, n’eky’egy’oku nsi kirala.
41 Ekitiibwa ky’enjuba kirala, ekitiibwa ky’omwezi kirala,+ n’ekitiibwa ky’emmunyeenye kirala; mu butuufu, ekitiibwa ky’emmunyeenye emu tekyenkana na kya mmunyeenye ndala.
42 Bwe kityo bwe kiri ne ku kuzuukira kw’abafu. Omubiri gusigibwa mu kuvunda; guzuukizibwa mu butavunda.+
43 Gusigibwa nga si gwa kitiibwa; guzuukizibwa nga gwa kitiibwa.+ Gusigibwa mu bunafu; guzuukizibwa mu maanyi.+
44 Gusigibwa nga mubiri gwa nnyama; guzuukizibwa nga mubiri gwa mwoyo. Bwe kiba nti waliwo omubiri ogw’ennyama, era waliwo n’ogw’omwoyo.
45 Era kyawandiikibwa nti: “Adamu, omuntu eyasooka, yafuuka omuntu omulamu.”+ Adamu ow’oluvannyuma yafuuka omwoyo oguwa obulamu.+
46 N’olwekyo, eky’omwoyo si kye kisooka, wabula eky’omubiri kye kisooka, eky’omwoyo ne kiryoka kijja.
47 Omuntu eyasooka yava mu nsi era yakolebwa mu nfuufu;+ omuntu ow’okubiri yava mu ggulu.+
48 Ng’oyo eyakolebwa mu nfuufu bw’ali, n’abo abaakolebwa mu nfuufu bwe bali; era ng’oyo ow’omu ggulu bw’ali n’abo ab’omu ggulu bwe bali.+
49 Nga bwe twayambala ekifaananyi ky’oyo eyakolebwa mu nfuufu,+ era tujja kwambala ekifaananyi ky’oyo ow’omu ggulu.+
50 Ab’oluganda, kye ŋŋamba kye kino, omubiri n’omusaayi tebisobola kusikira Bwakabaka bwa Katonda, n’okuvunda tekuyinza kusikira butavunda.
51 Laba! Mbabuulira ekyama ekitukuvu: Ffenna tetujja kwebaka mu kufa, naye ffenna tujja kukyusibwa,+
52 mu kaseera buseera, ng’okutemya n’okuzibula, ekkondeere erisembayo bwe lirivuga. Kubanga ekkondeere lijja kuvuga,+ abafu bazuukizibwe n’omubiri ogutavunda, era tujja kukyusibwa.
53 Kubanga guno oguvunda gujja kwambala obutavunda,+ era guno ogufa gujja kwambala obutafa.+
54 Naye guno oguvunda bwe gulyambala obutavunda era guno ogufa bwe gulyambala obutafa, awo ekyawandiikibwa kijja kutuukirizibwa ekigamba nti: “Okufa kumiriddwa emirembe gyonna.”+
55 “Ggwe Okufa, obuwanguzi bwo buli wa? Ggwe Okufa, obulumi bwo buli wa?”+
56 Obulumi obuleeta okufa kye kibi,+ naye amaanyi g’ekibi ge Mateeka.*+
57 Naye Katonda yeebazibwe, kubanga atuwa obuwanguzi okuyitira mu Mukama waffe Yesu Kristo!+
58 N’olwekyo baganda bange abaagalwa, munywere,+ temusagaasagana, bulijjo mube n’eby’okukola bingi+ mu mulimu gwa Mukama waffe, nga mukimanyi nti okutegana kwammwe si kwa bwereere+ mu Mukama waffe.
Obugambo Obuli Wansi
^ Era ayitibwa Peetero.
^ Obut., “beebaka mu kufa.”
^ Obut., “abeebaka mu kufa.”
^ Obut., “abeebaka mu kufa.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “okusinziira ku ndowooza z’abantu.”
^ Oba, “era Amateeka gawa ekibi amaanyi gaakyo.”