Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Danyeri

Essuula

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12

Ebirimu

  • 1

    • Yerusaalemi kizingizibwa Abababulooni (1, 2)

    • Abavubuka abaawambibwa batendekebwa mu ngeri ey’enjawulo (3-5)

    • Obwesigwa bw’Abebbulaniya abana bugezesebwa (6-21)

  • 2

    • Kabaka Nebukadduneeza aloota ekirooto ekimweraliikiriza (1-4)

    • Abagezigezi balemwa okubuulira kabaka ekirooto (5-13)

    • Danyeri asaba Katonda amuyambe (14-18)

    • Atendereza Katonda olw’okumubikkulira ekyama (19-23)

    • Danyeri abuulira kabaka ekirooto (24-35)

    • Amakulu g’ekirooto (36-45)

      • Ejjinja erikiikirira obwakabaka lya kubetenta ekifaananyi (44, 45)

    • Kabaka awa Danyeri ebitiibwa (46-49)

  • 3

    • Ekifaananyi kya Kabaka Nebukadduneeza ekya zzaabu (1-7)

      • Alagira abantu okusinza ekifaananyi (4-6)

    • Abebbulaniya abasatu bagaana okusinza ekifaananyi (8-18)

      • “Tetujja kuweereza bakatonda bo” (18)

    • Basuulibwa mu kyokero (19-23)

    • Banunulibwa mu ngeri ey’ekyamagero (24-27)

    • Kabaka atendereza Katonda w’Abebbulaniya (28-30)

  • 4

    • Kabaka Nebukadduneeza akitegeera nti obwakabaka bwa Katonda bwe buli ku ntikko (1-3)

    • Ekirooto kya kabaka ekikwata ku muti (4-18)

      • Ebiseera musanvu bya kuyitawo (16)

      • Katonda ye Mufuzi w’abantu (17)

    • Danyeri annyonnyola amakulu g’ekirooto (19-27)

    • Okutuukirizibwa okusooka kubaawo ku kabaka (28-36)

      • Kabaka agwa eddalu okumala ebiseera musanvu (32, 33)

    • Kabaka agulumiza Katonda w’eggulu (37)

  • 5

    • Kabaka Berusazza agabula ekijjulo (1-4)

    • Omukono guwandiika ku kisenge (5-12)

    • Danyeri asabibwa okunnyonnyola amakulu g’ebiwandiikiddwa (13-25)

    • Amakulu gaabyo: Babulooni kya kugwa (26-31)

  • 6

    • Abakungu ba Buperusi beekobaanira Danyeri (1-9)

    • Danyeri yeeyongera okusaba (10-15)

    • Danyeri asuulibwa mu kinnya ekyalimu empologoma (16-24)

    • Kabaka Daliyo atendereza Katonda wa Danyeri (25-28)

  • 7

    • Okwolesebwa okw’ensolo ennya (1-8)

      • Ejjembe ettono ery’amalala limera (8)

    • Oyo Abaddewo Okuva Edda n’Edda (9-14)

      • Omwana w’omuntu afuuka kabaka (13, 14)

    • Danyeri ategeezebwa amakulu g’okwolesebwa (15-28)

      • Ensolo ennya be bakabaka bana (17)

      • Abatukuvu bakuweebwa obwakabaka (18)

      • Amayembe ekkumi, oba bakabaka kkumi, bajja kuyimirira (24)

  • 8

    • Okwolesebwa okw’endiga ennume n’embuzi ennume (1-14)

      • Ejjembe ettono lyegulumiza (9-12)

      • Ennaku 2,300 (14)

    • Gabulyeri annyonnyola okwolesebwa (15-27)

      • Amakulu g’endiga ennume n’embuzi ennume gannyonnyolwa (20, 21)

      • Kabaka atunuza obukambwe ayimirira (23-25)

  • 9

    • Danyeri asaba era ayatula ebibi (1-19)

      • Emyaka 70 ng’ensi eri matongo (2)

    • Gabulyeri ajja eri Danyeri (20-23)

    • Wiiki 70 ez’obunnabbi zoogerwako (24-27)

      • Masiya wa kulabika oluvannyuma lwa wiiki 69 (25)

      • Masiya wa kuttibwa (26)

      • Ekibuga n’ekifo ekitukuvu bya kuzikirizibwa (26)

  • 10

    • Omubaka okuva eri Katonda ajja eri Danyeri (1-21)

      • Mikayiri ayamba malayika (13)

  • 11

    • Kabaka wa Buperusi n’owa Buyonaani (1-4)

    • Kabaka ow’ebukiikaddyo n’ow’ebukiikakkono (5-45)

      • Omusolooza w’omusolo ajja kujja (20)

      • Omukulu w’endagaano amenyebwa (22)

      • Katonda w’ebigo agulumizibwa (38)

      • Kabaka ow’ebukiikaddyo n’ow’ebukiikakkono basindikagana (40)

      • Amawulire ageeraliikiriza okuva ebuvanjuba n’ebukiikakkono (44)

  • 12

    • ‘Ekiseera eky’enkomerero’ n’okweyongerayo (1-13)

      • Mikayiri ajja kuyimirira (1)

      • Abaliba n’amagezi balyakaayakana (3)

      • Okumanya okutuufu kulyeyongera (4)

      • Danyeri wa kuyimirira afune omugabo gwe (13)