Ebikolwa 7:1-60
7 Naye kabona asinga obukulu n’amubuuza nti: “Ebintu bino bituufu?”
2 Siteefano n’amuddamu nti: “Ab’oluganda ne bataata, muwulire. Katonda ow’ekitiibwa yalabikira jjajjaffe Ibulayimu ng’ali e Mesopotamiya nga tannagenda kubeera Kalani,+
3 n’amugamba nti, ‘Va mu nsi yo ne mu b’eŋŋanda zo ogende mu nsi gye nnaakulaga.’+
4 Awo n’ava mu nsi y’Abakaludaaya n’agenda n’abeera e Kalani. Kitaawe bwe yamala okufa,+ Katonda n’amugamba aveeyo ajje mu nsi eno gye mulimu kati.+
5 Kyokka teyamuwaamu kya busika kyonna wadde w’asobola okussa ekigere; naye yamusuubiza okugimuwa ebeere yiye n’oluvannyuma agiwe ezzadde lye eryandizzeewo,+ wadde nga yali tannazaala mwana.
6 Ate era Katonda yamugamba nti ab’ezzadde lye bandibadde bagwira mu nsi endala, era nti bandifuuliddwa baddu ne babonyaabonyezebwa* okumala emyaka 400.+
7 Katonda yagamba nti, ‘Eggwanga eriribafuula abaddu ndirisalira omusango,+ era oluvannyuma balivaayo ne bansinziza mu kifo kino.’+
8 “Ate era yakola naye endagaano y’okukomolebwa,+ era Ibulayimu yazaala Isaaka+ n’amukomola ku lunaku olw’omunaana,+ Isaaka n’azaala* Yakobo, Yakobo n’azaala abakulu b’ebika ekkumi n’ebibiri.
9 Abakulu b’ebika baakwatirwa Yusufu+ obuggya ne bamutunda mu Misiri.+ Kyokka Katonda yali naye,+
10 era yamununula mu kubonaabona kwe kwonna, n’amusobozesa okuganja n’okwoleka amagezi mu maaso ga Falaawo kabaka wa Misiri. Falaawo yamulonda okufuga Misiri n’ennyumba ye yonna.+
11 Naye enjala yagwa mu Misiri yonna ne mu Kanani, n’ebaleetera okubonaabona ennyo, bajjajjaffe ne babulwa emmere.+
12 Yakobo bwe yawulira nti e Misiri waaliyo emmere,* n’atuma bajjajjaffe okugendayo omulundi ogwasooka.+
13 Ku mulundi ogw’okubiri, Yusufu yeemanyisa eri baganda be, era Falaawo n’amanya ebikwata ku b’eŋŋanda za Yusufu.+
14 Yusufu yatumya Yakobo kitaawe n’ab’eŋŋanda ze bonna okuva e Kanani,+ era bonna awamu baali abantu 75.+
15 Yakobo n’agenda e Misiri,+ era eyo gye yafiira,+ era ne bajjajjaffe nabo ne bafiira eyo.+
16 Baatwalibwa e Sekemu ne bateekebwa mu ntaana Ibulayimu gye yagula ssente eza ffeeza ku baana ba Kamoli mu Sekemu.+
17 “Naye ekiseera eky’okutuukiriza ekisuubizo Katonda kye yawa Ibulayimu bwe kyagenda kisembera, abantu baffe beeyongera obungi mu Misiri,
18 okutuusa lwe wajjawo kabaka omulala mu Misiri eyali tamanyi Yusufu.+
19 Kabaka oyo yakozesa olukujjukujju n’abonyaabonya bajjajjaffe n’abawaliriza okwabulira abaana baabwe abawere bafe.+
20 Mu kiseera ekyo Musa yazaalibwa, era yali alabika bulungi nnyo.* Yalabirirwa* okumala emyezi esatu mu maka ga kitaawe.+
21 Naye bwe yalekebwawo,+ muwala wa Falaawo n’amulonda n’amukuza ng’omwana we yennyini.+
22 Musa yayigirizibwa mu magezi gonna ag’Abamisiri. Mu butuufu, yali wa maanyi mu bigambo ne mu bikolwa.+
23 “Bwe yaweza emyaka 40, n’afuna ekirowoozo mu mutima ggwe eky’okugenda* okulaba* baganda be abaana ba Isirayiri bwe baali.+
24 Bwe yalaba omu ku bo ng’ayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya, n’amulwanirira, n’awoolera eggwanga ku lulwe ng’atta Omumisiri.
25 Yali alowooza nti baganda be banditegedde nti Katonda yali abalokola ng’ayitira mu ye, naye tebaakitegeera.
26 Ku lunaku olwaddirira yagenda gye bali n’asanga abasajja babiri nga balwana, n’agezaako okubatabaganya ng’agamba nti: ‘Abasajja, muli ba luganda, lwaki mulwana?’
27 Naye oyo eyali ayisa munne obubi n’amusindika eri ng’agamba nti: ‘Ani yakulonda okuba omufuzi waffe era omulamuzi waffe?
28 Nange oyagala kunzita nga bwe wasse Omumisiri jjo?’
29 Musa bwe yawulira ekyo n’adduka n’awaŋŋangukira mu nsi ya Midiyaani, gye yazaalira abaana babiri ab’obulenzi.+
30 “Bwe waayitawo emyaka 40, malayika n’amulabikira mu muliro ogwali gwakira mu kisaka mu ddungu, okumpi n’Olusozi Sinaayi.+
31 Musa bwe yakiraba ne yeewuunya. Naye bwe yali asembera okwetegereza, n’awulira eddoboozi lya Yakuwa* nga ligamba nti:
32 ‘Nze Katonda wa bajjajjaabo, Katonda wa Ibulayimu, Isaaka ne Yakobo.’+ Musa yakankana, n’ateeyongera kwetegereza.
33 Yakuwa* n’amugamba nti: ‘Ggyamu engatto zo, kubanga ekifo ky’oyimiriddemu kitukuvu.
34 Mazima ddala ndabye okubonaabona kw’abantu bange abali e Misiri, era mpulidde okusinda kwabwe,+ era nzize okubanunula. Kaakano jjangu nkutume e Misiri.’
35 Musa oyo gwe baagaana nga bagamba nti: ‘Ani yakulonda okuba omufuzi era omulamuzi?’+ Oyo yennyini Katonda gwe yatuma+ okubeera omufuzi era omununuzi ng’ayitira mu malayika eyamulabikira mu kisaka.
36 Omusajja oyo yabaggyayo+ oluvannyuma lw’okukola ebyamagero n’obubonero mu Misiri+ ne ku Nnyanja Emmyufu+ ne mu ddungu okumala emyaka 40.+
37 “Oyo ye Musa eyagamba abaana ba Isirayiri nti: ‘Katonda alibawa nnabbi okuva mu baganda bammwe alinga nze.’+
38 Y’oyo eyali awamu n’ekibiina mu ddungu, era yali ne malayika+ eyayogera naye+ ku Lusozi Sinaayi, era ye yayogera ne bajjajjaffe. Ate era yaweebwa ebigambo ebitukuvu eby’olubeerera abituwe.+
39 Bajjajjaffe baagana okumugondera ne bamweggyako,+ era mu mitima gyabwe ne beegomba okuddayo e Misiri,+
40 nga bagamba Alooni nti: ‘Tukolere bakatonda abanaatukulemberamu, kubanga tetumanyi kituuse ku Musa eyatuggya mu nsi ya Misiri.’+
41 Bwe batyo mu nnaku ezo ne bakola akayana, ne bawaayo ssaddaaka eri ekifaananyi, era ne bakola embaga okwesanyusaamu olw’ekyo kye baali bakoze.+
42 Bw’atyo Katonda n’abavaako n’abaleka okuweereza eggye ery’oku ggulu,+ nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Bannabbi nti: ‘Mmwe ennyumba ya Isirayiri, ebiweebwayo ne ssaddaaka mwabiwanga nze mu myaka 40 gye mwamala mu ddungu?
43 Naye mwasitula weema ya Moloki+ n’emmunyeenye ya katonda Lefani, ebifaananyi bye mwakola musobole okubisinza. N’olwekyo, nja kubawaŋŋangusa okusukka e Babulooni.’+
44 “Bajjajjaffe baalina weema ey’obujulirwa mu ddungu, nga Katonda eyayogera ne Musa bwe yamulagira okugikola ng’agoberera ekyokulabirako kye yalaba.+
45 Oluvannyuma, abaana ba bajjajjaffe abo baafuna weema eyo ne bagireeta ne Yoswa mu nsi eyalimu amawanga+ Katonda ge yagoba mu maaso ga bajjajjaffe.+ Yabeera eyo okutuusa mu nnaku za Dawudi.
46 Dawudi yasiimibwa Katonda, era yasaba aweebwe enkizo ey’okuzimbira Katonda wa Yakobo aw’okubeera.+
47 Naye Sulemaani ye yamuzimbira ennyumba.+
48 Kyokka, Oyo Asingayo Okuba Waggulu tabeera mu nnyumba zizimbiddwa mikono,+ nga nnabbi bw’agamba nti:
49 ‘Eggulu ye ntebe yange ey’obwakabaka,+ ate ensi ye ntebe y’ebigere byange.+ Nnyumba ya ngeri ki gye mulinzimbira? Yakuwa* bw’agamba. Oba ekifo kye mpummuliramu kiri ludda wa?
50 Omukono gwange si gwe gwakola ebintu bino byonna?’+
51 “Mmwe abasajja abakakanyavu era abatali bakomole mu mutima ne mu matu, bulijjo muziyiza omwoyo omutukuvu; nga bajjajjammwe bwe baakola, nammwe bwe mutyo bwe mukola.+
52 Nnabbi ki bajjajjammwe gwe bataayigganya?+ Batta abo abaalangirira edda okujja kw’omutuukirivu,+ mmwe gwe mwalyamu olukwe era gwe mwatta,+
53 mmwe abaafuna Amateeka agaabatuusibwako okuyitira mu malayika+ naye ne mutagakwata.”
54 Bwe baawulira ebyo ne basunguwala nnyo ne baagala okumutuusaako akabi.
55 Naye, ng’ajjudde omwoyo omutukuvu, n’atunula mu ggulu n’alaba ekitiibwa kya Katonda n’ekya Yesu ng’ayimiridde ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo,+
56 n’agamba nti: “Laba! Ndaba eggulu nga libikkuse n’Omwana w’omuntu+ ng’ayimiridde ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo.”+
57 Bwe baawulira ebyo, ne baleekaana nnyo, ne bateeka ebibatu byabwe ku matu gaabwe, bonna ne bamuyiikira.
58 Bwe baamala okumufulumya ebweru w’ekibuga, ne batandika okumukuba amayinja.+ Abo abaali abajulizi+ ne bateeka ebyambalo byabwe ku bigere by’omuvubuka ayitibwa Sawulo.+
59 Bwe baali bakuba Siteefano amayinja, n’asaba ng’agamba nti: “Mukama wange Yesu, nkukwasa obulamu bwange.”
60 Awo n’afukamira, n’ayogera mu eddoboozi ery’omwanguka nti: “Yakuwa,* tobavunaana olw’ekibi kino.”+ Bwe yamala okwogera ekyo, n’afa.*
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “ne bayisibwa bubi.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “yakola kye kimu ku.”
^ Oba, “emmere ey’empeke.”
^ Oba, “yali alabika bulungi nnyo mu maaso ga Katonda.”
^ Oba, “Yakuzibwa.”
^ Oba, “n’asalawo okugenda.”
^ Oba, “okulambula.”
^ Laba Ebyong. A5.
^ Laba Ebyong. A5.
^ Laba Ebyong. A5.
^ Laba Ebyong. A5.
^ Obut., “ne yeebaka mu kufa.”