Engero 21:1-31

  • Yakuwa aluŋŋamya omutima gwa kabaka (1)

  • Obwenkanya businga ssaddaaka (3)

  • Obunyiikivu buvaamu ebirungi (5)

  • Oyo atawuliriza munaku naye taddibwamu (13)

  • Si kya magezi okuwakanya Yakuwa (30)

21  Omutima gwa kabaka gulinga emikutu gy’amazzi mu mukono gwa Yakuwa.+ Aguzza buli gy’ayagala.+   Amakubo g’omuntu gonna galabika ng’amatuufu gy’ali,+Naye Yakuwa akebera emitima.*+   Okukola ekituufu era eky’obwenkanyaKisanyusa Yakuwa okusinga ssaddaaka.+   Amaaso ag’amalala n’omutima ogwekulumbaza—Ye ttaala emulisa ababi, era ebyo byonna kwonoona.+   Enteekateeka z’abanyiikivu zivaamu ebirungi,*+Naye abo bonna abapapa bajja kwavuwala.+   Eby’obugagga ebifunibwa mu bulimbaBiringa olufu oluggwaawo amangu, era kyambika.*+   Ababi ebikolwa byabwe eby’obukambwe biribasaanyaawo,+Kubanga tebaagala kukola bya bwenkanya.   Ekkubo ly’omuntu aliko omusango si ttereevu,Naye ebikolwa by’omulongoofu biba birungi.+   Waakiri obeera ku nsonda y’akasolya k’ennyumbaOkusinga okubeera n’omukazi omuyombi* mu nnyumba.+ 10  Omuntu omubi yeegomba ebintu ebibi;+Era takwatirwa muntu yenna kisa.+ 11  Omukudaazi bw’abonerezebwa, atalina bumanyirivu yeeyongera okuba ow’amagezi,Era ow’amagezi bw’ayigirizibwa, yeeyongera okumanya.*+ 12  Katonda omutuukirivu yeetegereza ennyumba y’omubi;Afufuggaza ababi ne bazikirira.+ 13  Oyo atawuliriza kukaaba kwa munakuNaye alikoowoola n’ataddibwamu.+ 14  Ekirabo ekigabibwa mu kyama kikkakkanya obusungu,+N’enguzi eweebwa mu nkukutu* ekkakkanya ekiruyi. 15  Kya ssanyu omutuukirivu okukola eby’obwenkanya,+Naye emitawaana girindiridde abo abakola ebibi. 16  Omuntu awaba okuva mu kkubo ery’amageziAjja kwegatta ku abo abaafa.+ 17  Omuntu ayagala eby’amasanyu ajja kwavuwala;+N’oyo ayagala ennyo omwenge n’amafuta tajja kugaggawala. 18  Omubi kye kinunulo ky’omutuukirivu,Era ow’enkwe kye kinunulo ky’abagolokofu.+ 19  Waakiri obeera mu ddunguN’otobeera na mukazi muyombi* era anyiiganyiiga.+ 20  Ebintu eby’omuwendo omungi n’amafuta biba mu nnyumba z’abo abalina amagezi,+Naye omusirusiru ayonoona* by’alina.+ 21  Buli afuba okunoonya obutuukirivu n’okwagala okutajjulukukaAjja kufuna obulamu, obutuukirivu, n’ekitiibwa.+ 22  Omuntu ow’amagezi asobola okulinnya bbugwe w’ekibuga* eky’ab’amaanyi,N’amenya ekigo kyabwe kye beesiga.+ 23  Omuntu afuga akamwa ke n’olulimi lweYeewala emitawaana.+ 24  Omuntu eyeetulinkiriza era eyeewaanaAyitibwa mwetulinkirize.+ 25  Omugayaavu kye yeegomba kijja kumutta,Kubanga tayagala kukola.+ 26  Olunaku lwonna asiiba yeegomba,Naye ye omutuukirivu agaba era takodowala.+ 27  Ssaddaaka z’ababi za muzizo.+ Naye ate kiba kitya bwe ziweebwayo n’ekigendererwa ekibi!* 28  Awa obujulizi obw’obulimba ajja kuzikirira,+Naye omuntu awuliriza n’obwegendereza ajja kuwa obujulizi obukkirizibwa.* 29  Omuntu omubi taba na nsonyi ku maaso,+Naye omugolokofu ekkubo lye liba kkakafu.*+ 30  Tewayinza kubaawo magezi, kutegeera, wadde okuteesa mu kuwakanya Yakuwa.+ 31  Embalaasi zitegekerwa olunaku lw’olutalo,+Naye obulokozi buva eri Yakuwa.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “ebiruubirirwa.”
Oba, “emiganyulo.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “eri abo abanoonya okufa.”
Oba, “abeeba.”
Oba, “amanya eky’okukola.”
Obut., “N’enguzi mu kifuba.”
Oba, “abeeba.”
Obut., “amira.”
Oba, “okuwangula ekibuga.”
Oba, “awamu n’ebikolwa ebiswaza.”
Obut., “ajja kwogera emirembe gyonna.”
Oba, “ekkubo lye alifuula kkakafu.”