Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Isaaya

Essuula

Ebirimu

  • 1

    • Taata n’abaana be abajeemu (1-9)

    • Yakuwa akyawa okusinza okw’okutuusa obutuusa omukolo (10-17)

    • “Mujje tutereeze ensonga” (18-20)

    • Sayuuni kijja kuzzibwawo kiddemu okuba ekibuga ekyesigwa (21-31)

  • 2

    • Olusozi lwa Yakuwa lugulumizibwa (1-5)

      • Ebitala birikolebwamu enkumbi (4)

    • Ab’amalala bafeebezebwa ku lunaku lwa Yakuwa (6-22)

  • 3

    • Abakulembeze ba Yuda bawabya abantu (1-15)

    • Bawala ba Sayuuni abatunuza obukaba basalirwa omusango (16-26)

  • 4

    • Abakazi musanvu ku musajja omu (1)

    • Yakuwa ky’ameza kiriba kya kitiibwa (2-6)

  • 5

    • Oluyimba olukwata ku nnimiro ya Yakuwa ey’emizabbibu (1-7)

    • Zisanze ennimiro ya Yakuwa ey’emizabbibu (8-24)

    • Katonda asunguwalidde abantu be (25-30)

  • 6

    • Mu kwolesebwa alaba Yakuwa ng’ali mu yeekaalu ye (1-4)

      • “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Yakuwa” (3)

    • Emimwa gya Isaaya girongoosebwa (5-7)

    • Isaaya atumibwa (8-10)

      • “Nzuuno! Ntuma!” (8)

    • “Kiriba bwe kityo kumala bbanga ki, Ai Yakuwa?” (11-13)

  • 7

    • Obubaka eri Kabaka Akazi (1-9)

      • Seyalu-yasubu (3)

    • Akabonero ka Emmanweri (10-17)

    • Ebiva mu butaba beesigwa (18-25)

  • 8

    • Obulumbaganyi bwa Bwasuli (1-8)

      • Makeru-salalu-kasu-bazi (1-4)

    • Temutya—“Katonda ali naffe!” (9-17)

    • Isaaya n’abaana be balinga obubonero (18)

    • Mwebuuze ku mateeka so si ku badayimooni (19-22)

  • 9

    • Ekitangaala eky’amaanyi eri ensi ya Ggaliraaya (1-7)

      • Okuzaalibwa ‘kw’Omukulu ow’Emirembe’ (6, 7)

    • Omukono gwa Katonda gwa kubonereza Isirayiri (8-21)

  • 10

    • Omukono gwa Katonda gwa kubonereza Isirayiri (1-4)

    • Bwasuli—Muggo gwa Katonda ogw’obusungu (5-11)

    • Bwasuli eribonerezebwa (12-19)

    • Aba Yakobo abalisigalawo balikomawo (20-27)

    • Katonda alisalira Bwasuli omusango (28-34)

  • 11

    • Obufuzi bw’ekikolo kya Yese obw’obutuukirivu (1-10)

      • Omusege n’omwana gw’endiga bibeera wamu (6)

      • Okumanya Yakuwa kulijjula ensi (9)

    • Ensigalira bakomawo (11-16)

  • 12

    • Oluyimba olw’okwebaza (1-6)

      • “Ya Yakuwa ge maanyi gange” (2)

  • 13

    • Obubaka obukwata ku Babulooni (1-22)

      • Olunaku lwa Yakuwa luli kumpi! (6)

      • Abameedi ba kuwamba Babulooni (17)

      • Babulooni tekiriddamu kubeeramu bantu (20)

  • 14

    • Abayisirayiri ba kubeera mu nsi yaabwe (1, 2)

    • Kabaka wa Babulooni asekererwa (3-23)

      • Oyo ayakaayakana wa kugwa okuva mu ggulu (12)

    • Omukono gwa Yakuwa gwa kumenyaamenya Abaasuli (24-27)

    • Obubaka eri Bufirisuuti (28-32)

  • 15

    • Obubaka eri Mowaabu (1-9)

  • 16

    • Obubaka obulala eri Mowaabu (1-14)

  • 17

    • Obubaka eri Ddamasiko (1-11)

    • Yakuwa aliboggolera amawanga (12-14)

  • 18

    • Obubaka eri Esiyopiya (1-7)

  • 19

    • Obubaka eri Misiri (1-15)

    • Misiri erimanya Yakuwa (16-25)

      • Ekyoto ekiriweebwayo eri Yakuwa mu Misiri (19)

  • 20

    • Akabonero akalaga ekirituuka ku Misiri ne Esiyopiya (1-6)

  • 21

    • Obubaka obukwata ku ddungu ly’ennyanja (1-10)

      • Okubeera obulindaala ku munaala gw’omukuumi (8)

      • “Babulooni kigudde!” (9)

    • Obubaka obukwata ku Duma n’eddungu (11-17)

      • “Omukuumi, ekiro okyogerako ki?” (11)

  • 22

    • Obubaka obukwata ku Kiwonvu eky’Okwolesebwa (1-14)

    • Eriyakimu adda mu kifo ky’omuwanika Sebuna (15-25)

      • Omusumaali ogw’akabonero (23-25)

  • 23

    • Obubaka obukwata ku Ttuulo (1-18)

  • 24

    • Yakuwa ensi ajja kugifuula njereere (1-23)

      • Yakuwa Kabaka mu Sayuuni (23)

  • 25

    • Emikisa abantu ba Katonda gye balifuna (1-12)

      • Ekijjulo kya Yakuwa ekiribaako omwenge omulungi (6)

      • Okufa kuliggibwawo (8)

  • 26

    • Oluyimba olukwata ku bulokozi n’obwesige (1-21)

      • Ya Yakuwa, Olwazi olw’emirembe n’emirembe (4)

      • Abantu ababeera ku nsi baliyiga obutuukirivu (9)

      • “Abafu bo baliba balamu” (19)

      • Muyingire mu bisenge eby’omunda mwekweke (20)

  • 27

    • Yakuwa atta Leviyasani (1)

    • Oluyimba olukwata ku Isirayiri, ennimiro y’emizabbibu (2-13)

  • 28

    • Zisanze abatamiivu ba Efulayimu! (1-6)

    • Bakabona ba Yuda ne bannabbi batagala (7-13)

    • “Endagaano n’Okufa” (14-22)

      • Ejjinja ery’omuwendo mu Sayuuni (16)

      • Omulimu gwa Yakuwa ogutali gwa bulijjo (21)

    • Ekyokulabirako ku ngeri Yakuwa gy’akangavvulamu (23-29)

  • 29

    • Zikusanze ggwe Aliyeri! (1-16)

      • Kitiibwa kya ku mimwa (13)

    • Bakiggala baliwulira; abazibe b’amaaso baliraba (17-24)

  • 30

    • Obuyambi bwa Misiri tebugasa (1-7)

    • Abantu bagaana obubaka obw’obunnabbi (8-14)

    • Amaanyi gali mu kwesiga Katonda (15-17)

    • Yakuwa alaga abantu be ekisa (18-26)

      • Yakuwa, Omuyigiriza Asingiridde (20)

      • “Lino lye kkubo” (21)

    • Yakuwa ajja kubonereza Bwasuli (27-33)

  • 31

    • Obuyambi obwa nnamaddala buva eri Katonda (1-9)

      • Embalaasi za Misiri mibiri bubiri (3)

  • 32

    • Kabaka n’abaami balifuga okuleetawo obwenkanya obwa nnamaddala (1-8)

    • Abakazi abateefiirayo balabulwa (9-14)

    • Emikisa egirifunibwa ng’omwoyo gufukiddwa (15-20)

  • 33

    • Omusango gwa kusalibwa, era abatuukirivu balina essuubi (1-24)

      • Yakuwa Mulamuzi, Muteesi w’amateeka, era Kabaka (22)

      • Tewali n’omu aligamba nti: “Ndi mulwadde” (24)

  • 34

    • Yakuwa awoolera eggwanga ku mawanga (1-4)

    • Edomu ya kufuulibwa matongo (5-17)

  • 35

    • Olusuku lwa Katonda luzzibwawo (1-7)

      • Bamuzibe baliraba; bakiggala baliwulira (5)

    • Ekkubo ery’Obutukuvu omulitambulira abaliba banunuddwa (8-10)

  • 36

    • Sennakeribu alumba Yuda (1-3)

    • Labusake asoomooza Yakuwa (4-22)

  • 37

    • Keezeekiya agamba Isaaya asabe Katonda abayambe (1-7)

    • Sennakeribu atiisatiisa Yerusaalemi (8-13)

    • Essaala ya Keezeekiya (14-20)

    • Isaaya abuulira Keezeekiya Katonda ky’azzeemu (21-35)

    • Malayika atta Abaasuli 185,000 (36-38)

  • 38

    • Keezeekiya alwala era awona (1-22)

      • Oluyimba olw’okwebaza (10-20)

  • 39

    • Ababaka okuva e Babulooni (1-8)

  • 40

    • Ebigambo ebibudaabuda abantu ba Katonda (1-11)

      • Eddoboozi mu ddungu (3-5)

    • Katonda tageraageranyizika (12-31)

      • Amawanga galinga ettondo mu kalobo (15)

      • Katonda abeera waggulu “w’ensi enneetooloovu” (22)

      • Emmunyeenye zonna ziyitibwa amannya (26)

      • Katonda takoowa (28)

      • Yakuwa awa amaanyi abo abamwesiga (29-31)

  • 41

    • Awangula amawanga ava buvanjuba (1-7)

    • Isirayiri yalondebwa okuba omuweereza wa Katonda (8-20)

      • “Ibulayimu mukwano gwange” (8)

    • Bakatonda abalala basoomoozebwa (21-29)

  • 42

    • Omuweereza wa Katonda n’ebyo by’alikola (1-9)

      • ‘Yakuwa lye linnya lyange’ (8)

    • Oluyimba olupya olutendereza Yakuwa (10-17)

    • Isirayiri muzibe era kiggala (18-25)

  • 43

    • Yakuwa addamu okukuŋŋaanya abantu be (1-7)

    • Bakatonda bayitibwa okwewozaako (8-13)

      • “Muli bajulirwa bange” (10, 12)

    • Okusumululwa okuva e Babulooni (14-21)

    • “Ka buli omu ayogere ky’avunaana munne” (22-28)

  • 44

    • Emikisa abantu ba Katonda abaalondebwa gye banaafuna (1-5)

    • Teri Katonda mulala okuggyako Yakuwa (6-8)

    • Ebifaananyi ebikolebwa abantu tebirina mugaso (9-20)

    • Yakuwa, Omununuzi wa Isirayiri (21-23)

    • Okukomezebwawo Kuulo (24-28)

  • 45

    • Kuulo afukibwako amafuta okuwamba Babulooni (1-8)

    • Ebbumba teririna kuwakanya Mubumbi (9-13)

    • Amawanga amalala gawa Isirayiri ekitiibwa (14-17)

    • Ebyo Katonda bye yatonda awamu n’ebyo by’ayogera byesigika (18-25)

      • Ensi yatondebwa kubeeramu bantu (18)

  • 46

    • Enjawulo wakati w’ebifaananyi bya Babulooni ne Katonda wa Isirayiri (1-13)

      • Yakuwa ayogera ebiribaawo mu maaso (10)

      • Ekinyonyi ekirya ennyama okuva ebuvanjuba (11)

  • 47

    • Okugwa kwa Babulooni (1-15)

      • Abalaguzisa emmunyeenye baanikibwa (13-15)

  • 48

    • Isirayiri anenyezebwa era alongoosebwa (1-11)

    • Yakuwa ajja kubonereza Babulooni (12-16a)

    • Katonda by’ayigiriza bigasa (16b-19)

    • “Mufulume mu Babulooni!” (20-22)

  • 49

    • Omulimu Yakuwa gw’awa omuweereza we (1-12)

      • Ekitangaala eri amawanga (6)

    • Ebigambo ebibudaabuda Isirayiri (13-26)

  • 50

    • Ebibi bya Isirayiri bimuviirako ebizibu (1-3)

    • Omuweereza wa Yakuwa omuwulize (4-11)

      • Okutu n’olulimi lw’abo abaayigirizibwa (4)

  • 51

    • Sayuuni kiddamu okuba ng’olusuku Adeni (1-8)

    • Ebigambo by’Oyo eyakola Sayuuni ebibudaabuda (9-16)

    • Ekikopo ky’obusungu bwa Yakuwa (17-23)

  • 52

    • Zuukuka, Ggwe Sayuuni! (1-12)

      • Ebigere by’abo abaleeta amawulire amalungi birabika bulungi (7)

      • Abakuumi ba Sayuuni baleekaanira wamu (8)

      • Abasitula ebintu bya Yakuwa balina okuba abayonjo (11)

    • Omuweereza wa Yakuwa ajja kugulumizibwa (13-15)

      • Endabika ye yayonoonebwa (14)

  • 53

    • Okubonaabona kw’omuweereza wa Yakuwa, okufa kwe, n’okuziikibwa kwe (1-12)

      • Anyoomebwa era yeewalibwa (3)

      • Asitula obulwadde n’obulumi (4)

      • “Yaleetebwa ng’omwana gw’endiga okuttibwa” (7)

      • Yeetikka ebibi by’abantu bangi (12)

  • 54

    • Sayuuni omugumba wa kuba n’abaana bangi (1-17)

      • Yakuwa, bba wa Sayuuni (5)

      • Abaana ba Sayuuni ba kuyigirizibwa Yakuwa (13)

      • Tewali kyakulwanyisa kirikozesebwa ku Sayuuni kiriraba mukisa (17)

  • 55

    • Okuyitibwa okulya n’okunywa eby’obwereere (1-5)

    • Munoonye Yakuwa n’ekigambo kye ekyesigika (6-13)

      • Amakubo ga Katonda ga waggulu okusinga ag’abantu (8, 9)

      • Ekigambo kya Katonda kya kutuukirira (10, 11)

  • 56

    • Emikisa egiweebwa abagwira n’abalaawe (1-8)

      • Ennyumba ey’okusabirwamu bonna (7)

    • Abakuumi abazibe b’amaaso, embwa ezitaboggola (9-12)

  • 57

    • Omutuukirivu n’abeesigwa bazikirira (1, 2)

    • Obwenzi bwa Isirayiri obw’eby’omwoyo bwogerwako (3-13)

    • Ebigambo ebibudaabuda abanakuwavu (14-21)

      • Ababi balinga ennyanja esiikuuse (20)

      • Ababi tebalina mirembe (21)

  • 58

    • Okusiiba okutuufu n’okukyamu (1-12)

    • Okusanyuka okukwata Ssabbiiti (13, 14)

  • 59

    • Ebibi bya Isirayiri bye bibaggya ku Katonda (1-8)

    • Okwatula ebibi (9-15a)

    • Yakuwa ayamba abo abeenenya (15b-21)

  • 60

    • Ekitiibwa kya Yakuwa kyakira Sayuuni (1-22)

      • Ng’amayiba agakomawo mu biyumba byago (8)

      • Zzaabu mu kifo ky’ekikomo (17)

      • Omutono alifuuka lukumi (22)

  • 61

    • Afukibwako amafuta okubuulira amawulire amalungi (1-11)

      • “Omwaka ogw’okulagirwamu ekisa kya Yakuwa” (2)

      • “Emiti eminene egy’obutuukirivu” (3)

      • Bannaggwanga ba kuyambako (5)

      • “Bakabona ba Yakuwa” (6)

  • 62

    • Erinnya lya Sayuuni eppya (1-12)

  • 63

    • Yakuwa awoolera eggwanga ku mawanga (1-6)

    • Okwagala okutajjulukuka Yakuwa kwe yalaga mu biseera eby’edda (7-14)

    • Essaala ey’okwenenya (15-19)

  • 64

    • Essaala ey’okwenenya yeeyongerayo (1-12)

      • Yakuwa ‘ye Mubumbi waffe’ (8)

  • 65

    • Omusango Yakuwa gw’asalidde abasinza ebifaananyi (1-16)

      • Katonda Mukisa ne katonda Omugeresi (11)

      • “Abaweereza bange balirya” (13)

    • Eggulu eriggya n’ensi empya (17-25)

      • Okuzimba amayumba; okusimba ennimiro z’emizabbibu (21)

      • Tewaliba ateganira bwereere (23)

  • 66

    • Okusinza okw’amazima n’okw’obulimba (1-6)

    • Sayuuni n’abaana be (7-17)

    • Abantu bakuŋŋaana okusinza mu Yerusaalemi (18-24)