Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Matayo

Essuula

Ebirimu

  • 1

    • Olunyiriri lw’obuzaale bwa Yesu Kristo (1-17)

    • Okuzaalibwa kwa Yesu (18-25)

  • 2

    • Abalaguzisa emmunyeenye bajja (1-12)

    • Baddukira e Misiri (13-15)

    • Kerode atta abaana ab’obulenzi (16-18)

    • Baddayo e Nazaaleesi (19-23)

  • 3

    • Yokaana Omubatiza abuulira (1-12)

    • Okubatizibwa kwa Yesu (13-17)

  • 4

    • Omulyolyomi akema Yesu (1-11)

    • Yesu atandika okubuulira mu Ggaliraaya (12-17)

    • Abayigirizwa abaasooka bayitibwa (18-22)

    • Yesu abuulira, ayigiriza, era awonya abantu (23-25)

  • 5

    • OKUBUULIRA OKW’OKU LUSOZI (1-48)

      • Yesu atandika okuyigiriza ku lusozi (1, 2)

      • Ebintu mwenda ebireeta essanyu (3-12)

      • Omunnyo n’ekitangaala (13-16)

      • Yesu wa kutuukiriza Amateeka (17-20)

      • Okubuulirira okukwata ku busungu (21-26), obwenzi (27-30), okugattululwa (31, 32), okulayira (33-37), okwesasuza (38-42), okwagala abalabe (43-48)

  • 6

    • OKUBUULIRA OKW’OKU LUSOZI (1-34)

      • Weewale okwolesa obutuukirivu bwo (1-4)

      • Engeri y’okusabamu (5-15)

        • Essaala eyaweebwa ng’ekyokulabirako (9-13)

      • Okusiiba (16-18)

      • Eby’obugagga ku nsi ne mu ggulu (19-24)

      • Mulekere awo okweraliikirira (25-34)

        • Musooke munoonyenga Obwakabaka (33)

  • 7

    • OKUBUULIRA OKW’OKU LUSOZI (1-27)

      • Mulekere awo okusalira abalala omusango (1-6)

      • Musabenga, munoonyenga, mukonkonenga (7-11)

      • Okuyisa abalala nga bwe twagala batuyise (12)

      • Omulyango omufunda (13, 14)

      • Bategeererwa ku bikolwa byabwe (15-23)

      • Ennyumba eyazimbibwa ku lwazi, ennyumba eyazimbibwa ku musenyu (24-27)

    • Abantu bawuniikirira olw’okuyigiriza kwa Yesu (28, 29)

  • 8

    • Omugenge awonyezebwa (1-4)

    • Okukkiriza kw’omusirikale (5-13)

    • Yesu awonya bangi e Kaperunawumu (14-17)

    • Okubeera omugoberezi wa Yesu (18-22)

    • Yesu akkakkanya omuyaga (23-27)

    • Yesu asindika dayimooni mu mbizzi (28-34)

  • 9

    • Yesu awonya eyali yasannyalala (1-8)

    • Yesu ayita Matayo (9-13)

    • Abuuzibwa ebikwata ku kusiiba (14-17)

    • Muwala wa Yayiro; omukazi akwata ku kyambalo kya Yesu (18-26)

    • Yesu awonya bamuzibe n’oyo eyali tayogera (27-34)

    • Eby’okukungula bingi naye abakozi batono (35-38)

  • 10

    • Abatume 12 (1-4)

    • Obulagirizi obukwata ku buweereza (5-15)

    • Abayigirizwa bajja kuyigganyizibwa (16-25)

    • Tya Katonda so si bantu (26-31)

    • Si mirembe wabula kitala (32-39)

    • Abasembeza abayigirizwa ba Yesu (40-42)

  • 11

    • Yesu atendereza Yokaana Omubatiza (1-15)

    • Omulembe omukakanyavu guvumirirwa (16-24)

    • Yesu atendereza Kitaawe olw’okuwa abawombeefu enkizo (25-27)

    • Ekikoligo kya Yesu kyangu okusitula (28-30)

  • 12

    • Yesu, “Mukama wa Ssabbiiti” (1-8)

    • Omusajja ow’omukono ogwali gukaze awonyezebwa (9-14)

    • Omuweereza Katonda gw’ayagala ennyo (15-21)

    • Agoba dayimooni ng’akozesa omwoyo omutukuvu (22-30)

    • Ekibi ekitasobola kusonyiyibwa (31, 32)

    • Omuti gutegeererwa ku bibala byagwo (33-37)

    • Akabonero ka Yona (38-42)

    • Omwoyo omubi bwe gukomawo (43-45)

    • Maama wa Yesu ne baganda be (46-50)

  • 13

    • ENGERO EZIKWATA KU BWAKABAKA (1-52)

      • Omusizi (1-9)

      • Ensonga lwaki Yesu yakozesanga engero (10-17)

      • Olugero lw’omusizi lunnyonnyolwa (18-23)

      • Eŋŋaano n’omuddo (24-30)

      • Akasigo ka kalidaali n’ekizimbulukusa (31-33)

      • Okukozesa engero kituukiriza bunnabbi (34, 35)

      • Olugero lw’eŋŋaano n’omuddo lunnyonnyolwa (36-43)

      • Eky’obugagga ekyakwekebwa ne luulu ennungi (44-46)

      • Akatimba (47-50)

      • Ebintu eby’omuwendo ebipya n’ebikadde (51, 52)

    • Ab’omu kitundu ky’ewaabwe bagaana okumukkiriza (53-58)

  • 14

    • Yokaana Omubatiza attibwa (1-12)

    • Yesu aliisa abantu 5,000 (13-21)

    • Yesu atambulira ku mazzi (22-33)

    • Awonya abantu e Genesaleeti (34-36)

  • 15

    • Obulombolombo bw’abantu (1-9)

    • Ebyonoona omuntu biva mu mutima (10-20)

    • Omukazi Omufoyiniikiya eyalaga okukkiriza okw’amaanyi (21-28)

    • Yesu awonya endwadde nnyingi (29-31)

    • Yesu aliisa abantu 4,000 (32-39)

  • 16

    • Bamusaba abalage akabonero (1-4)

    • Ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo (5-12)

    • Ebisumuluzo by’Obwakabaka (13-20)

      • Ekibiina kizimbibwa ku lwazi (18)

    • Yesu ayogera ku kufa kwe (21-23)

    • Okuba omuyigirizwa owa nnamaddala (24-28)

  • 17

    • Okufuusibwa kwa Yesu (1-13)

    • Okukkiriza okwenkana akasigo ka kalidaali (14-21)

    • Addamu okwogera ku kufa kwe (22, 23)

    • Ssente eggiddwa mu kamwa k’ekyennyanja ekozesebwa okusasula omusolo (24-27)

  • 18

    • Asinga obukulu mu Bwakabaka (1-6)

    • Ebyesittaza (7-11)

    • Olugero lw’endiga eyali ebuze (12-14)

    • Okukomyawo muganda wo mu kkubo ettuufu (15-20)

    • Olugero lw’omuddu ataasonyiwa (21-35)

  • 19

    • Obufumbo n’okugattululwa (1-9)

    • Ekirabo eky’okubeera obwannamunigina (10-12)

    • Yesu awa abaana omukisa (13-15)

    • Ekibuuzo ky’omusajja eyali omugagga (16-24)

    • Okwefiiriza ku lw’Obwakabaka (25-30)

  • 20

    • Abakozi mu nnimiro y’emizabbibu baweebwa empeera y’emu (1-16)

    • Addamu okwogera ku kufa kwe (17-19)

    • Okusaba ebifo mu Bwakabaka (20-28)

      • Yesu awaayo ekinunulo ku lw’abangi (28)

    • Abazibe babiri bawonyezebwa (29-34)

  • 21

    • Ayingira Yerusaalemi mu kitiibwa (1-11)

    • Alongoosa yeekaalu (12-17)

    • Omutiini gukolimirwa (18-22)

    • Yesu abuuzibwa gye yaggya obuyinza (23-27)

    • Olugero lw’abaana ababiri (28-32)

    • Olugero lw’abalimi abatemu (33-46)

      • Ejjinja ekkulu ery’oku nsonda ligaanibwa (42)

  • 22

    • Olugero lw’embaga ey’obugole (1-14)

    • Katonda ne Kayisaali (15-22)

    • Ekibuuzo ekikwata ku kuzuukira (23-33)

    • Amateeka abiri agasinga obukulu (34-40)

    • Kristo mwana wa Dawudi? (41-46)

  • 23

    • Temuba ng’abawandiisi n’Abafalisaayo (1-12)

    • Zisanze abawandiisi n’Abafalisaayo (13-36)

    • Yesu akaabira Yerusaalemi (37-39)

  • 24

    • AKABONERO AKALAGA OKUBEERAWO KWA KRISTO (1-51)

      • Entalo, enjala, musisi (7)

      • Amawulire amalungi ga kubuulirwa (14)

      • Ekibonyoobonyo ekinene (21, 22)

      • Akabonero k’Omwana w’omuntu (30)

      • Omutiini (32-34)

      • Nga bwe kyali mu nnaku za Nuuwa (37-39)

      • Mubeere bulindaala (42-44)

      • Omuddu omwesigwa n’omuddu omubi (45-51)

  • 25

    • AKABONERO AKALAGA OKUBEERAWO KWA KRISTO (1-46)

      • Olugero lw’abawala ekkumi embeerera (1-13)

      • Olugero lwa ttalanta (14-30)

      • Endiga n’embuzi (31-46)

  • 26

    • Bakabona bakola olukwe okutta Yesu (1-5)

    • Amafuta ag’akaloosa gafukibwa ku Yesu (6-13)

    • Okuyitako okwasembayo, aliibwamu olukwe (14-25)

    • Omukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe gutandikibwawo (26-30)

    • Peetero agambibwa nti ajja kwegaana Yesu (31-35)

    • Yesu asaba e Gesusemane (36-46)

    • Yesu akwatibwa (47-56)

    • Awozesebwa mu maaso g’Olukiiko Olukulu (57-68)

    • Peetero yeegaana Yesu (69-75)

  • 27

    • Yesu atwalibwa ewa Piraato (1, 2)

    • Yuda yeetuga (3-10)

    • Yesu ng’ali mu maaso ga Piraato (11-26)

    • Aweebuulwa mu lujjudde (27-31)

    • Akomererwa ku muti e Ggologoosa (32-44)

    • Okufa kwa Yesu (45-56)

    • Okuziikibwa kwa Yesu (57-61)

    • Entaana eteekebwako abakuumi (62-66)

  • 28

    • Yesu azuukizibwa (1-10)

    • Abasirikale baweebwa ssente okulimba (11-15)

    • Okufuula abantu abayigirizwa (16-20)