Okuva 15:1-27
15 Awo Musa n’Abayisirayiri ne bayimbira Yakuwa oluyimba luno:+
“Ka nnyimbire Yakuwa, kubanga agulumiziddwa nnyo.+
Asudde mu nnyanja embalaasi n’omwebagazi waayo.+
2 Ya* ge maanyi gange, kubanga andokodde.+
Ono ye Katonda wange, era nnaamutenderezanga;+ ye Katonda wa kitange,+ era nnaamugulumizanga.+
3 Yakuwa mulwanyi muzira,+ Yakuwa lye linnya lye.+
4 Asudde amagaali ga Falaawo n’eggye lye mu nnyanja,+N’abalwanyi be abazira babbidde mu Nnyanja Emmyufu.+
5 Amazzi ag’amaanyi gababuutikidde ne bakka mu buziba ng’ejjinja.+
6 Omukono gwo ogwa ddyo, Ai Yakuwa, gwa maanyi nnyo;+Omukono gwo ogwa ddyo, Ai Yakuwa, gusobola okubetenta omulabe.
7 Mu buyinza bwo obungi osobola okusuula wansi abakuziyiza;+Osindika obusungu bwo obubuubuuka ne bubookya ng’obwokya ebisubi.
8 Olw’omukka ogw’omu nnyindo zo, amazzi geetuuma wamu;Gaayimirira ne gatanjaala;Amazzi ageefuukuula gaakwata ekitole wakati mu nnyanja.
9 Omulabe yagamba nti, ‘Nja kubawondera! Nja kubatuukako!
Nja kugabanyaamu omunyago okutuusa lwe nnakkuta!
Nja kusowolayo ekitala kyange! Omukono gwange gujja kubawangula!’+
10 Wassa omukka, ennyanja n’ebabuutikira;+Babbira ng’erisasi* mu mazzi ageefuukuula.
11 Ai Yakuwa, katonda ki alinga ggwe?+
Ani alinga ggwe asingayo obutukuvu?+
Ggwe asaanidde okutiibwa n’okutenderezebwa, ggwe akola ebyewuunyisa.+
12 Wagolola omukono gwo ogwa ddyo ensi n’ebamira.+
13 Olw’okwagala kwo okutajjulukuka okulembedde abantu b’onunudde;+Mu maanyi go ojja kubakulembera obatuuse mu kifo kyo ekitukuvu ky’obeeramu.
14 Abantu bajja kuwulira;+ bajja kukankana;Ababeera mu Bufirisuuti bajja kufuna obulumi obw’amaanyi.*
15 Mu kiseera ekyo, abaami* b’e Edomu bajja kutya,Era abafuzi ba Mowaabu ab’amaanyi*+ bajja kukankana.
Ababeera mu Kanani bonna bajja kuggwaamu amaanyi.+
16 Bajja kufuna ekyekango n’entiisa.+
Olw’omukono gwo ogw’amaanyi bajja kusigala mu kifo kimu ng’ejjinja,Okutuusa abantu bo lwe banaayitawo, Ai Yakuwa.
Okutuusa abantu bo be watonda+ lwe banaayitawo.+
17 Ojja kubaleeta obasimbe ku lusozi olw’obusika bwo,+Ekifo ekinywevu kye weeteekerateekera okubeeramu, Ai Yakuwa,Ekifo ekitukuvu emikono gyo kye gyakola, Ai Yakuwa.
18 Yakuwa ajja kufuga nga kabaka emirembe n’emirembe.+
19 Embalaasi za Falaawo n’amagaali ge ag’olutalo n’abasirikale abaali beebagadde embalaasi bwe baagenda mu nnyanja,+Yakuwa yazza amazzi g’ennyanja ne gababuutikira,+Naye abantu ba Isirayiri baatambulira ku ttaka ekkalu wakati mu nnyanja.”+
20 Awo nnabbi Miriyamu, mwannyina wa Alooni, n’akwata akagoma, abakazi bonna ne bamugoberera nga bakutte obugoma era nga bazina.
21 Miriyamu n’ayimba ng’ayanukula abasajja nti:
“Muyimbire Yakuwa kubanga agulumiziddwa nnyo.+
Asudde mu nnyanja embalaasi n’omwebagazi waayo.”+
22 Oluvannyuma Musa yakulemberamu Isirayiri okuva ku Nnyanja Emmyufu ne bagenda mu ddungu ly’e Ssuuli; baatambulira ennaku ssatu mu ddungu naye tebaasanga wali mazzi.
23 Bwe baatuuka e Mala,*+ tebaasobola kunywa mazzi gaayo olw’okuba gaali gakaawa. Ekifo ekyo kyeyava akituuma Mala.
24 Awo abantu ne batandika okwemulugunyiza Musa+ nga bagamba nti: “Tunaanywa ki?”
25 Awo Musa n’akaabirira Yakuwa,+ Yakuwa n’amulaga omuti. Bwe yagusuula mu mazzi, amazzi ne galongooka.
Eyo gye yabaweera etteeka era n’ekisinziirwako okusala emisango, era eyo gye yabagezeseza.+
26 Yagamba nti: “Bw’onoowuliriza n’obwegendereza eddoboozi lya Yakuwa Katonda wo n’okola ekituufu mu maaso ge, n’ossaayo omwoyo ku biragiro bye+ era n’okwata amateeka ge gonna, sijja kukuleetako ndwadde ze nnaleeta ku Bamisiri,+ kubanga nze Yakuwa nkuwonya.”+
27 Awo ne batuuka mu Erimu awaali ensulo z’amazzi 12 n’enkindu 70. Ne basiisira awo okumpi n’amazzi.
Obugambo Obuli Wansi
^ “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
^ Kika kya kyuma ekigonvu ekya kikuusikuusi ekisaanuuka amangu.
^ Obut., “ebisa.”
^ Abaami aboogerwako wano baali bakulu ba bika.
^ Oba, “bannaakyemalira.”
^ Kitegeeza, “Okukaawa.”