Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Zabbuli

Essuula

Ebirimu

  • 1

    • Amakubo abiri ag’enjawulo

      • Okusoma amateeka ga Katonda kireeta essanyu (2)

      • Abatuukirivu balinga omuti ogubala (3)

      • Ababi balinga ebisusunku ebifuumuulibwa embuyaga (4)

  • 2

    • Yakuwa n’oyo gwe yafukako amafuta

      • Yakuwa asekerera amawanga (4)

      • Yakuwa ateekawo kabaka (6)

      • Muwe omwana ekitiibwa (12)

  • 3

    • Okwesiga Katonda ne mu mbeera enzibu

      • ‘Lwaki abalabe bayitiridde obungi?’ (1)

      • “Obulokozi bwa Yakuwa” (8)

  • 4

    • Essaala eyoleka obwesige mu Katonda

      • “Bwe musunguwala temwonoona” (4)

      • ‘Nja kwebaka mirembe’ (8)

  • 5

    • Yakuwa kye kiddukiro ky’abatuukirivu

      • Katonda akyawa ebintu ebibi (4, 5)

      • “Nkulembera mu makubo go ag’obutuukirivu” (8)

  • 6

    • Okusaba okulagibwa ekisa

      • Abafu tebatendereza Katonda (5)

      • Katonda awulira okusaba okw’okwegayirira (9)

  • 7

    • Yakuwa Mulamuzi mutuukirivu

      • “Nnamula, Ai Yakuwa” (8)

  • 8

    • Ekitiibwa kya Katonda n’eky’abantu

      • “Erinnya lyo nga kkulu nnyo!” (1, 9)

      • “Omuntu kye ki?” (4)

      • Omuntu yatikkirwa engule ey’ekitiibwa (5)

  • 9

    • Okulangirira ebikolwa bya Katonda eby’ekitalo

      • Yakuwa, kiddukiro ekinywevu (9)

      • Okumanya erinnya lya Katonda kitegeeza kumwesiga (10)

  • 10

    • Yakuwa, omuyambi w’abo abatalina buyambi

      • Omubi agamba nti: “Teri Katonda” (4)

      • Yakuwa ayamba abanaku (14)

      • “Yakuwa Kabaka emirembe n’emirembe” (16)

  • 11

    • Okufuula Yakuwa ekiddukiro

      • “Yakuwa ali mu yeekaalu ye entukuvu” (4)

      • Katonda akyawa abo abaagala ebikolwa eby’obukambwe (5)

  • 12

    • Yakuwa asituka okubaako ky’akolawo

      • Ebigambo bya Katonda birongoofu (6)

  • 13

    • Okulindirira obulokozi bwa Yakuwa

      • “Ai Yakuwa, olituusa wa?” (1, 2)

      • Yakuwa akolera abantu ebirungi bingi (6)

  • 14

    • Endowooza y’omusirusiru

      • “Yakuwa taliiyo” (1)

      • “Tewali akola birungi” (3)

  • 15

    • Ani ayinza okukyala mu weema ya Yakuwa?

      • Ayogera amazima mu mutima gwe (2)

      • Atawaayiriza (3)

      • Atuukiriza by’asuubiza ne bwe kiba nga kimukosa (4)

  • 16

    • Yakuwa ye nsibuko y’ebirungi

      • “Yakuwa gwe mugabo gwange” (5)

      • ‘Ebirowoozo byange bimpabula ekiro’ (7)

      • ‘Yakuwa ali ku mukono gwange ogwa ddyo’ (8)

      • “Tolindeka magombe” (10)

  • 17

    • Okusaba okuweebwa obukuumi

      • “Okebedde omutima gwange” (3)

      • “Mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo” (8)

  • 18

    • Okutendereza Katonda olw’obulokozi

      • “Yakuwa lwe lwazi lwange” (2)

      • Yakuwa mwesigwa eri abeesigwa (25)

      • Ekkubo lya Katonda lyatuukirira (30)

      • “Obwetoowaze bwo bunfuula wa kitiibwa” (35)

  • 19

    • Ebitonde bya Yakuwa n’amateeka ge biwa obujulizi

      • “Eggulu lirangirira ekitiibwa kya Katonda” (1)

      • Etteeka lya Katonda eryatuukirira lizzaamu amaanyi (7)

      • “Ebibi bye nnakola naye ne simanya nti mbikoze” (12)

  • 20

    • Obulokozi bwa kabaka Katonda gwe yafukako amafuta

      • Abamu beesiga magaali na mbalaasi, “naye ffe tukoowoola linnya lya Yakuwa” (7)

  • 21

    • Emikisa gya kabaka eyeesiga Yakuwa

      • Kabaka wa kuwangaala (4)

      • Abalabe ba Katonda bajja kuwangulwa (8-12)

  • 22

    • Alekera awo okunakuwala n’atendereza Katonda

      • “Katonda wange, lwaki onjabulidde?” (1)

      • “Engoye zange bazikubira akalulu” (18)

      • Okutendereza Katonda mu kibiina ekinene (22, 25)

      • Ensi yonna ejja kutendereza Katonda (27)

  • 23

    • “Yakuwa ye musumba wange”

      • “Siijulenga kintu kyonna” (1)

      • “Anzizaamu amaanyi” (3)

      • “Ekikopo kyange kijjudde bulungi” (5)

  • 24

    • Kabaka ow’ekitiibwa ayingira mu miryango

      • Yakuwa ye nnannyini nsi (1)

  • 25

    • Okusaba okuweebwa obulagirizi n’okusonyiyibwa

      • “Njigiriza empenda zo” (4)

      • ‘Mikwano gya Yakuwa egy’oku lusegere’ (14)

      • “Nsonyiwa ebibi byange byonna” (18)

  • 26

    • Okutambulira mu bugolokofu

      • “Nkebera Ai Yakuwa” (2)

      • Okwewala emikwano emibi (4, 5)

      • ‘Nja kwetooloola ekyoto kya Katonda’ (6)

  • 27

    • Yakuwa kye kigo ky’obulamu bwange

      • Okusiima yeekaalu ya Katonda (4)

      • Abazadde ne bwe banjabulira Yakuwa anfaako (10)

      • “Essuubi lyo lisse mu Yakuwa” (14)

  • 28

    • Essaala y’omuwandiisi wa zabbuli ewulirwa

      • “Yakuwa ge maanyi gange era ye ngabo yange” (7)

  • 29

    • Eddoboozi lya Yakuwa ery’amaanyi

      • Musinze Yakuwa nga mwambadde ebyambalo ebitukuvu (2)

      • “Katonda ow’ekitiibwa awuluguma” (3)

      • Yakuwa awa abantu be amaanyi (11)

  • 30

    • Essanyu lidda mu kifo ky’okukaaba

      • Katonda alaga omuntu ekisa obulamu bwe bwonna (5)

  • 31

    • Okufuula Yakuwa ekiddukiro

      • “Nteeka omwoyo gwange mu mukono gwo” (5)

      • “Yakuwa Katonda omwesigwa” (5)

      • Obulungi bwa Katonda obungi ennyo (19)

  • 32

    • Abo abasonyiyibwa ensobi baba basanyufu

      • “Nnakwatulira ekibi kyange” (5)

      • Katonda akuwa amagezi (8)

  • 33

    • Okutendereza Omutonzi

      • “Mumuyimbire oluyimba oluggya” (3)

      • Ebintu byatondebwa olw’ekigambo kya Yakuwa n’olw’omwoyo gwe (6)

      • Eggwanga lya Yakuwa ssanyufu (12)

      • “Eriiso lya Yakuwa liri ku abo abamutya” (18)

  • 34

    • Yakuwa anunula abaweereza be

      • “Ka tutenderereze wamu erinnya lye” (3)

      • Malayika wa Yakuwa akuuma (7)

      • “Mulegeeko mulabe nti Yakuwa mulungi” (8)

      • ‘Tewali na limu ku magumba ge limenyeddwa’ (20)

  • 35

    • Essaala ekwata ku kununulibwa mu mukono gw’abalabe

      • Abalabe bajja kugobebwa (5)

      • Okutendereza Katonda mu bantu abangi (18)

      • Okukyayibwa awatali nsonga (19)

  • 36

    • Okwagala kwa Katonda okutajjulukuka

      • Omubi tatya Katonda (1)

      • Katonda ye nsibuko y’obulamu (9)

      • “Ekitangaala kyo kye kitusobozesa okulaba ekitangaala” (9)

  • 37

    • Abo abeesiga Yakuwa bajja kubeera bulungi

      • Tokwatibwanga busungu olw’ababi (1

      • “Yakuwa abeerenga ensibuko y’essanyu lyo” (4)

      • “Amakubo go gakwasenga Yakuwa” (5)

      • “Abawombeefu balisikira ensi” (11)

      • Omutuukirivu tajja kubulwa mmere (25)

      • Abatuukirivu bajja kubeera ku nsi emirembe gyonna (29)

  • 38

    • Essaala y’oyo eyeenenyezza ensobi ze

      • “Nnina ennyiike era ndi mwennyamivu nnyo” (6)

      • Yakuwa awulira abo abamulindirira (15)

      • “Ekibi kyange kyali kinneeraliikiriza” (18)

  • 39

    • Obulamu bumpi

      • Omuntu mukka bukka (5, 11)

      • “Tobuusa maaso maziga ge nkaaba” (12)

  • 40

    • Okwebaza Katonda atageraageranyizika

      • Emirimu gya Katonda mingi nnyo tegisobola kubalika (5)

      • Ssaddaaka si ze zisinga obukulu eri Katonda (6)

      • “Nsanyukira okukola by’oyagala” (8)

  • 41

    • Essaala y’omulwadde ali ku ndiri

      • Katonda alabirira abalwadde (3)

      • Okuliibwamu olukwe ow’omukwano ow’oku lusegere (9)

  • 42

    • Okutendereza Katonda ow’Obulokozi

      • Okuyaayaanira Katonda ng’empeewo bw’eyaayaanira amazzi (1, 2)

      • “Lwaki mpeddemu essuubi?” (5, 11)

      • “Lindirira Katonda” (5, 11)

  • 43

    • Katonda Mulamuzi anunula

      • “Sindika ekitangaala kyo n’amazima go” (3)

      • “Lwaki mpeddemu essuubi?” (5)

      • “Lindirira Katonda” (5)

  • 44

    • Essaala y’oyo eyeetaaga obuyambi

      • “Ggwe watuwonya” (7)

      • ‘Twali ng’endiga ez’okusalibwa’ (22)

      • “Situka otuyambe!” (26)

  • 45

    • Embaga ya kabaka eyafukibwako amafuta

      • “Ebigambo eby’ekisa” (2)

      • “Katonda ye ntebe yo ey’obwakabaka emirembe n’emirembe” (6)

      • Kabaka ayagala okutunula ku bulungi bw’omugole we (11)

      • Batabani bo bajja kuba baami mu nsi yonna (16)

  • 46

    • “Katonda kye kiddukiro kyaffe”

      • Ebikolwa bya Katonda ebyewuunyisa (8)

      • Katonda amalawo entalo mu nsi yonna (9)

  • 47

    • Katonda ye Kabaka afuga ensi yonna

      • ‘Yakuwa wa ntiisa’ (2)

      • Muyimbe ennyimba ezitendereza Katonda (6, 7)

  • 48

    • Sayuuni, ekibuga kya Kabaka ow’Ekitiibwa

      • Essanyu ly’ensi yonna (2)

      • Mulambule ekibuga n’eminaala gyakyo (11-13)

  • 49

    • Si kya magezi kwesiga bya bugagga

      • Tewali muntu ayinza kununula munne (7, 8)

      • Katonda anunula emagombe (15)

      • Obugagga tebusobola kuwonya muntu kufa (16, 17)

  • 50

    • Katonda alamula abo abamwesiga n’ababi

      • Abakola endagaano ne Katonda okuyitira mu ssaddaaka (5)

      • “Katonda ye Mulamuzi” (6)

      • Ensolo zonna za Katonda (10, 11)

      • Katonda ayogera ku bikolwa by’omubi (16-21)

  • 51

    • Essaala y’oyo eyeenenyezza

      • Mwonoonyi okuviira ddala mu lubuto lwa nnyina (5)

      • “Nnaazaako ekibi kyange” (7)

      • “Ntondaamu omutima omulongoofu” (10)

      • Omutima ogumenyese gusanyusa Katonda (17)

  • 52

    • Okwesiga okwagala kwa Katonda okutajjulukuka

      • Abeenyumiririza mu bintu ebibi balabulwa (1-5)

      • Ababi beesiga bya bugagga (7)

  • 53

    • Omusirusiru ayogerwako

      • “Yakuwa taliiyo” (1)

      • “Tewali akola birungi” (3)

  • 54

    • Essaala y’oyo ali wakati mu balabe

      • “Katonda ye muyambi wange” (4)

  • 55

    • Essaala y’oyo mukwano gwe gw’aliddemu olukwe

      • Avumibwa mukwano gwe ow’oku lusegere (12-14)

      • “Omugugu gwo gutikke Yakuwa” (22)

  • 56

    • Essaala y’oyo ayigganyizibwa

      • ‘Katonda gwe nneesiga’ (4)

      • ‘Amaziga gange mu nsawo yo ey’eddiba’ (8)

      • “Omuntu obuntu ayinza kunkola ki?” (4, 11)

  • 57

    • Okusaba okukwatirwa ekisa

      • Okuddukira wansi w’ebiwaawaatiro bya Katonda (1)

      • Abalabe bagwa mu mitego gyabwe (6)

  • 58

    • Waliwo Katonda alamula ensi

      • Okusaba ababi babonerezebwe (6-8)

  • 59

    • Katonda, ngabo era kiddukiro

      • ‘Ab’enkwe tobasaasira’ (5)

      • “Nja kuyimba ku maanyi go” (16)

  • 60

    • Katonda awangula abalabe

      • Obulokozi bw’abantu tebugasa (11)

      • “Katonda ajja kutuwa amaanyi” (12)

  • 61

    • Katonda munaala omugumu ogutuwonya abalabe

      • “Nja kubeeranga mu weema yo” (4)

  • 62

    • Obulokozi obwa nnamaddala buva eri Katonda

      • “Nnindirira Katonda” (1, 5)

      • ‘Mubuulire Katonda ebibali ku mitima’ (8)

      • “Abaana b’abantu mukka bukka” (9)

      • Teweesiganga bugagga (10)

  • 63

    • Okulumirwa Katonda omwoyo

      • “Okwagala kwo okutajjulukuka kusinga obulamu” (3)

      • ‘Mmatidde n’ebisingayo obulungi’ (5)

      • Okufumiitiriza ku Katonda ekiro (6)

      • ‘Nnyweredde ku Katonda’ (8)

  • 64

    • Okuwonyezebwa enkwe ezisalibwa mu kyama

      • “Katonda ajja kubalasa” (7)

  • 65

    • Katonda alabirira ensi

      • “Ggwe awulira okusaba” (2)

      • “Alina essanyu oyo gw’olonda” (4)

      • Obulungi bwa Katonda obungi (11)

  • 66

    • Ebikolwa bya Katonda eby’ewuunyisa

      • “Mujje mulabe Katonda by’akola” (5)

      • “Nja kusasula bye nneeyama gy’oli” (13)

      • Katonda awulira okusaba (18-20)

  • 67

    • Ensi yonna ejja kutya Katonda

      • Ekkubo lya Katonda lijja kumanyika (2)

      • ‘Abantu bonna ka batendereze Katonda’ (3, 5)

      • “Katonda anaatuwanga omukisa” (6, 7)

  • 68

    • ‘Abalabe ba Katonda ka basaasaane’

      • “Kitaawe w’abatalina bakitaabwe” (5)

      • “Katonda awa abo abali obwannamunigina aw’okubeera” (6)

      • Abakazi balangirira amawulire amalungi (11)

      • Watwala abantu ng’ebirabo (18)

      • “Yakuwa asitula emigugu gyaffe buli lunaku” (19)

  • 69

    • Essaala ey’okununulibwa

      • “Okwagala ennyo ennyumba yo kummazeewo” (9)

      • “Yanguwa okunnyanukula” (17)

      • ‘Bampa omwenge omukaatuufu’ (21)

  • 70

    • Okusaba okudduukirirwa mu bwangu

      • “Nziruukirira mu bwangu” (5)

  • 71

    • Obwesige bw’abo abakaddiye

      • Okwesiga Katonda okuviira ddala mu buvubuka (5)

      • “Ng’amaanyi gampedde” (9)

      • ‘Katonda yanjigiriza okuva mu buvubuka’ (17)

  • 72

    • Obufuzi obw’emirembe obwa kabaka Katonda gw’ataddewo

      • “Abatuukirivu banaamerukanga” (7)

      • “Anaafuganga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja” (8)

      • Anaawonyanga abantu ebikolwa eby’obukambwe (14)

      • Emmere ey’empeke ejja kuba nnyingi mu nsi (16)

      • Erinnya lya Katonda litenderezebwa emirembe gyonna (19)

  • 73

    • Omusajja atya Katonda addamu okuba n’endowooza ennungi

      • “Ebigere byange byali binaatera okuseerera” (2)

      • “Nnabanga mweraliikirivu okuzibya obudde” (14)

      • “Okutuusa lwe nnayingira mu kifo kya Katonda ekitukuvu” (17)

      • Ababi bayimiridde awali obuseerezi (18)

      • Okusemberera Katonda kirungi (28)

  • 74

    • Asaba Katonda ajjukire abantu be

      • Ebikolwa bya Katonda eby’obulokozi bijjukirwa (12-17)

      • “Jjukira ebivumo by’omulabe” (18)

  • 75

    • Katonda alamula na bwenkanya

      • Ababi bajja kunywa ku kikopo kya Yakuwa (8)

  • 76

    • Katonda awangula abalabe ba Sayuuni

      • Katonda alokola abawombeefu (9)

      • Abalabe ab’amalala bajja kutoowazibwa (12)

  • 77

    • Essaala mu biseera eby’obuyinike

      • Okufumiitiriza ku bikolwa bya Katonda (11, 12)

      • “Ai Katonda, eriyo katonda omukulu nga ggwe?” (13)

  • 78

    • Katonda afaayo; Isirayiri terina kukkiriza

      • Buulira emirembe egiriddawo (2-8)

      • “Tebaalina kukkiriza” (22)

      • “Emmere ey’omu ggulu” (24)

      • ‘Baanakuwaza Omutukuvu wa Isirayiri’ (41)

      • Okuva e Misiri okugenda mu Nsi Ensuubize (43-55)

      • “Beeyongera okugezesa Katonda” (56)

  • 79

    • Essaala amawanga bwe gaalumba abantu ba Katonda

      • “Tufuuse kivume” (4)

      • ‘Tuyambe olw’erinnya lyo’ (9)

      • “Baliraanwa baffe basasule emirundi musanvu” (12)

  • 80

    • Asaba Omusumba wa Isirayiri abazze buggya

      • “Ai Katonda, tuzzeewo” (3)

      • Isirayiri alinga omuzabbibu gwa Katonda (8-15)

  • 81

    • Okukubirizibwa okuba abawulize

      • Temusinza bakatonda balala (9)

      • ‘Singa mwawuliriza!’ (13)

  • 82

    • Okusaba wabeewo okusala omusango mu butuukirivu

      • ‘Katonda alamulira wakati mu bakatonda’ (1)

      • “Mulamulenga omunaku” (3)

      • “Muli bakatonda” (6)

  • 83

    • Essaala y’oyo alina abalabe

      • “Ai Katonda, tosirika” (1)

      • Abalabe balinga amatovu agatwalibwa empewo (13)

      • Yakuwa lye linnya lya Katonda (18)

  • 84

    • Okwagala ennyo weema ya Katonda ey’ekitiibwa

      • Omuleevi ayagala okuba ng’ekinyonyi (3)

      • “Olunaku olumu mu mpya zo” (10)

      • “Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe” (11)

  • 85

    • Okusaba okuzzibwamu amaanyi

      • Katonda ajja kulangirira emirembe eri abo abeesigwa gy’ali (8)

      • Okwagala okutajjulukuka n’obwesigwa bijja kusisinkana (10)

  • 86

    • Tewali katonda alinga Yakuwa

      • Yakuwa mwetegefu okusonyiwa (5)

      • Amawanga gonna gajja kusinza Yakuwa (9)

      • “Njigiriza amakubo go” (11)

      • “Gatta wamu omutima gwange” (11)

  • 87

    • Sayuuni, ekibuga kya Katonda ow’amazima

      • Abo abaazaalibwa mu Sayuuni (4-6)

  • 88

    • Asaba Katonda amuwonye okufa

      • “Obulamu bwange buli ku mugo gwa ntaana” (3)

      • ‘Buli ku makya nkusaba’ (13)

  • 89

    • Okuyimba ku kwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka

      • Endagaano ne Dawudi (3)

      • Ezzadde lya Dawudi lya kuwangaala emirembe gyonna (4)

      • Eyafukibwako amafuta ayita Katonda ‘Kitaawe’ (26)

      • Endagaano ya Dawudi ejja kunywezebwa (34-37)

      • Omuntu tayinza kusimattuka magombe (48)

  • 90

    • Katonda abeerawo emirembe gyonna naye omuntu abeerawo kaseera buseera

      • Emyaka olukumi giringa olwa jjo (4)

      • Omuntu awangaala emyaka 70 oba 80 (10)

      • “Tuyigirize engeri gye tusaanidde okubalamu ennaku zaffe” (12)

  • 91

    • Okufuna obukuumi mu kifo kya Katonda eky’ekyama

      • Okuggibwa mu mutego gw’omutezi w’ebinyonyi (3)

      • Okwekweka wansi w’ebiwaawaatiro bya Katonda (4)

      • Okukuumibwa wadde nga enkumi bagwa (7)

      • Bamalayika balagirwa okukuuma (11)

  • 92

    • Yakuwa agulumizibwa emirembe gyonna

      • Ebikolwa bye eby’ekitalo n’ebirowoozo bye eby’ebuziba (5)

      • ‘Abatuukirivu bajja kugejja ng’omuti’ (12)

      • Abakadde bajja kusigala nga balina amaanyi (14)

  • 93

    • Obufuzi bwa Yakuwa obw’ekitiibwa

      • “Yakuwa afuuse Kabaka!” (1)

      • “By’otujjukiza byesigika” (5)

  • 94

    • Okusaba Katonda awoolere eggwanga

      • “Ababi balituusa wa?” (3)

      • Okugololwa Yakuwa kuleeta essanyu (12)

      • Katonda tajja kwabulira bantu be (14)

      • “Abasuula abalala mu mitawaana nga beeyambisa amateeka” (20)

  • 95

    • Okusinza okw’amazima kugendera wamu n’obuwulize

      • “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye” (7)

      • “Temukakanyaza mitima gyammwe” (8)

      • “Tebaliyingira mu kiwummulo kyange” (11)

  • 96

    • “Muyimbire Yakuwa oluyimba olupya”

      • Yakuwa agwana okutenderezebwa (4)

      • Bakatonda b’amawanga tebalina mugaso (5)

      • Musinze Yakuwa nga mwambadde ebyambalo ebitukuvu (9)

  • 97

    • Yakuwa agulumizibwa okusinga bakatonda abalala

      • “Yakuwa afuuse Kabaka!” (1)

      • Yagala Yakuwa, kyawa ebibi (10)

      • Ekitangaala kyakira abatuukirivu (11)

  • 98

    • Yakuwa, Omulokozi era Omulamuzi omutuukirivu

      • Obulokozi bwa Yakuwa bumanyisibwa (2, 3)

  • 99

    • Yakuwa, Kabaka omutukuvu

      • “Atudde ku ntebe y’obwakabaka waggulu wa bakerubi” (1)

      • Katonda asonyiwa era abonereza (8)

  • 100

    • Okwebaza Omutonzi

      • “Muweereze Yakuwa n’essanyu” (2)

      • ‘Katonda ye yatukola’ (3)

  • 101

    • Omufuzi akola eby’obutuukirivu

      • ‘Sijja kugumiikiriza muntu wa malala’ (5)

      • “Nja kweyuna abeesigwa” (6)

  • 102

    • Essaala y’oyo anyigirizibwa era atalina ssuubi

      • “Nninga ekinyonyi ekiri kyokka waggulu ku nnyumba” (7)

      • “Ennaku zange ziringa ekisiikirize ekiggwaawo” (11)

      • “Yakuwa ajja kuddamu azimbe Sayuuni” (16)

      • Yakuwa abeerawo emirembe gyonna (26, 27)

  • 103

    • “Ka ntendereze Yakuwa”

      • Katonda ateeka wala ebibi byaffe (12)

      • Katonda asaasira abantu nga taata bw’asaasira abaana be (13)

      • Katonda ajjukira nti tuli nfuufu (14)

      • Entebe ya Yakuwa ey’obwakabaka n’obwakabaka bwe (19)

      • Bamalayika bakolera ku kigambo kya Katonda (20)

  • 104

    • Okutendereza Katonda olw’ebitonde ebyewuunyisa

      • Ensi ya kubeerawo emirembe gyonna (5)

      • Omwenge n’emmere byaweebwa omuntu (15)

      • “Bye wakola nga bingi!” (24)

      • ‘Omwoyo bwe gubiggibwako nga bifa’ (29)

  • 105

    • Ebyo Yakuwa by’akolera abantu be

      • Katonda ajjukira endagaano ye (8-10)

      • “Temukwata ku bantu bange abaafukibwako amafuta” (15)

      • Katonda akozesa Yusufu eyali mu buddu (17-22)

      • Ebyamagero Katonda bye yakola e Misiri (23-36)

      • Abayisirayiri bava e Misiri (37-39)

      • Katonda ajjukira kye yasuubiza Ibulayimu (42)

  • 106

    • Abayisirayiri tebasiima

      • Beerabira mangu Katonda bye yakola (13)

      • Ekitiibwa kya Katonda kiweebwa ekifaananyi ky’ente (19, 20)

      • Tebakkiririza mu kisuubizo kya Katonda (24)

      • Beenyigira mu kusinza Bbaali (28)

      • Abaana baaweebwayo eri badayimooni (37)

  • 107

    • Mwebaze Katonda olw’ebikolwa bye eby’ekitalo

      • Yabayisa mu kkubo ettuufu (7)

      • Abaalina ennyonta yagibamalako n’abayala yabakkusa (9)

      • Yabaggya mu kizikiza (14)

      • Yalagira ne bawona (20)

      • Akuuma abaavu ne batanyigirizibwa ((41)

  • 108

    • Essaala ey’okuwangula abalabe

      • Obulokozi bw’abantu tebugasa (12)

      • “Katonda ajja kutuwa amaanyi” (13)

  • 109

    • Essaala y’omusajja ali mu buyinike

      • ‘Omulimu gwe omulala k’agutwale’ (8)

      • Katonda ayimirira ku mukono gw’omunaku ogwa ddyo (31)

  • 110

    • Kabaka era kabona alinga Merukizeddeeki

      • ‘Fugira wakati mu balabe bo’ (2)

      • Abavubuka abeewaayo kyeyagalire balinga omusulo (3)

  • 111

    • Mutendereze Yakuwa olw’ebikolwa bye eby’ekitalo

      • Erinnya lya Katonda ttukuvu era lya ntiisa (9)

      • Okutya Yakuwa ge magezi (10)

  • 112

    • Omuntu omutuukirivu atya Yakuwa

      • Omuntu omugabi afuna ebirungi (5)

      • “Omutuukirivu alijjukirwa emirembe n’emirembe” (6)

      • Omugabi agabira abaavu (9)

  • 113

    • Katonda abeera waggulu, ayimusa omunaku

      • Erinnya lya Yakuwa litenderezebwa emirembe gyonna (2)

      • Katonda akutama (6)

  • 114

    • Abayisirayiri banunulibwa e Misiri

      • Ennyanja yadduka (5)

      • Ensozi zaabuukabuuka ng’obuliga obuto (6)

      • Olwazi olugumu lwafuuka ensulo z’amazzi (8)

  • 115

    • Katonda yekka y’alina okuweebwa ekitiibwa

      • Ebifaananyi tebirina bulamu (4-8)

      • Ensi yaweebwa abantu (16)

      • “Abafu tebatendereza Ya” (17)

  • 116

    • Oluyimba olwoleka okusiima

      • “Yakuwa nnaamusasula ki?” (12)

      • “Nja kutoola ekikopo eky’obulokozi” (13)

      • “Nja kusasula bye nneeyama eri Yakuwa” (14, 18)

      • Okufa kw’abantu abeesigwa kwa muwendo nnyo (15)

  • 117

    • Amawanga gonna gakoowoolwa okutendereza Yakuwa

      • Okwagala kwa Katonda okutajjulukuka kungi nnyo (2)

  • 118

    • Okwebaza olw’obuwanguzi bwa Yakuwa

      • ‘Nnakoowoola Ya, n’annyanukula’ (5)

      • “Yakuwa ali ku ludda lwange” (6, 7)

      • Ejjinja eryagaanibwa lifuuse ejjinga ekkulu ery’oku nsonda (22)

      • “Oyo ajjira mu linnya lya Yakuwa” (26)

  • 119

    • Okusiima ekigambo kya Katonda eky’omuwendo

      • ‘Abavubuka bayinza batya okukuuma ekkubo lyabwe nga ddongoofu?’ (9)

      • “Njagala nnyo by’otujjukiza” (24)

      • “Ekigambo kyo lye ssuubi lyange” (74, 81, 114)

      • “Amateeka go nga ngaagala nnyo!” 97)

      • “Ntegeera okusinga abayigiriza bange bonna” (99)

      • “Ekigambo kyo ye ttaala emulisiza ebigere byange” (105)

      • “Amazima gwe mulamwa gw’ekigambo kyo” (160)

      • Abo abaagala amateeka ga Katonda balina emirembe (165)

  • 120

    • Omugwira ayagala emirembe

      • ‘Mponya olulimi olukuusa (2)

      • “Njagala mirembe” (7)

  • 121

    • Yakuwa akuuma abantu be

      • “Obuyambi bwange buva eri Yakuwa” (2)

      • Yakuwa teyeebaka (3, 4)

  • 122

    • Okusabira Yerusaalemi okubaamu emirembe

      • Essanyu olw’okugenda mu nnyumba ya Yakuwa (1)

      • Ekibuga ekigattiddwa awamu (3)

  • 123

    • Basaba Yakuwa abalage ekisa

      • ‘Okufaananako abaweereza, tutunuulira Yakuwa’ (2)

      • “Tunyoomeddwa nnyo” (3)

  • 124

    • “Singa Yakuwa teyali naffe”

      • Okudduka mu mutego ogwamenyeka (7)

      • “Obuyambi bwaffe buli mu linnya lya Yakuwa” (8)

  • 125

    • Yakuwa akuuma abantu be

      • “Ng’ensozi bwe zeetoolodde Yerusaalemi” (2)

      • “Emirembe ka gibe ku Isirayiri” (5)

  • 126

    • Sayuuni asanyuka olw’okuzzibwawo

      • “Yakuwa atukoledde ebikulu” (3)

      • Abaali bakaaba bajaganya (5, 6)

  • 127

    • Awatali Katonda, buli kintu kiba tekigasa

      • “Yakuwa bw’atazimba nnyumba” (1)

      • Abaana, mpeera okuva eri Katonda (3)

  • 128

    • Essanyu eriri mu kutya Yakuwa

      • Omukazi alinga omuzabbibu ogubala (3)

      • “K’olabe Yerusaalemi nga kikulaakulana” (5)

  • 129

    • Alumbibwa naye tawangulwa

      • Abatayagala Sayuuni bakwatibwa ensonyi (5)

  • 130

    • “Nkukoowoola nga ndi mu buziba”

      • “Singa wali otunuulira nsobi” (3)

      • Yakuwa asonyiyira ddala (4)

      • “Nnindirira Yakuwa” (6)

  • 131

    • Okuba omumativu ng’omwana eyaakava ku mabeere

      • Obutaluubirira bintu bikulu (1)

  • 132

    • Dawudi alondebwa, ne Sayuuni kirondebwa

      • “Toyabulira oyo gwe wafukako amafuta” (10)

      • Bakabona ba Sayuuni bambadde obulokozi (16)

  • 133

    • Okubeera awamu mu bumu

      • Kiringa amafuta ku kirevu kya Alooni (2)

      • Kiringa omusulo gwa Kerumooni (3)

  • 134

    • Okutendereza Katonda ekiro

      • “Muyimuse emikono gyammwe mu butukuvu” (2)

  • 135

    • Mutendereze Ya olw’obukulu bwe

      • Obubonero n’ebyamagero ebyakolebwa mu Misiri (8, 9)

      • “Erinnya lyo libeerawo emirembe n’emirembe” (13)

      • Ebifaananyi tebirina bulamu (15-18)

  • 136

    • Okwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe

      • Eggulu n’ensi byakolebwa mu ngeri ya bukugu (5, 6)

      • Falaawo yafiira mu Nnyanja Emmyufu (15)

      • Katonda ajjukira abennyamivu (23)

      • Awa ebiramu byonna emmere (25)

  • 137

    • Okumpi n’emigga gy’e Babulooni

      • Ennyimba za Sayuuni tezaayimbibwa (3, 4)

      • Babulooni kya kuzikirizibwa (8)

  • 138

    • Wadde nga Katonda wa waggulu, afaayo

      • Waddamu okusaba kwange (3)

      • ‘Ne bwe mba mu kifo ekirimu akabi, ondokola’ (7)

  • 139

    • Katonda amanyi bulungi abaweereza be

      • Tetusobola kwekweka mwoyo gwa Katonda (7)

      • ‘Nnakolebwa mu ngeri ey’ekitalo’ (14)

      • ‘Wandaba nga ndi mu lubuto lwa mmange’ (16)

      • ‘Nnuŋŋamya mu kkubo ery’emirembe n’emirembe’ (24)

  • 140

    • Yakuwa, Omulokozi ow’amaanyi

      • Abantu ababi balinga emisota (3)

      • Abo abakola ebikolwa eby’obukambwe bajja kugwa (11)

  • 141

    • Asaba Katonda amukuume

      • “Okusaba kwange ka kube ng’obubaani” (2)

      • Okukangavvula omutuukirivu kw’awa kulinga amafuta (5)

      • Ababi bagwa mu bitimba byabwe (10)

  • 142

    • Asaba Katonda amununule mu mikono gy’abo abamuyigganya

      • “Sirina we nnyinza kuddukira” (4)

      • “Ggwe wekka gwe nnina” (5)

  • 143

    • Okulindirira Katonda ng’ensi enkalu bw’erindirira amazzi

      • ‘Nfumiitiriza ku mirimu gyo’ (5)

      • “Njigiriza okukola by’oyagala” (10)

      • ‘Omwoyo gwo omulungi ka gunnuŋŋamye’ (10)

  • 144

    • Okusaba okufuna obuwanguzi

      • “Omuntu kye ki?” (3)

      • Abalabe ka basaasaane (6)

      • Abantu ba Yakuwa basanyufu (15)

  • 145

    • Okutendereza Katonda, Kabaka omukulu

      • ‘Nja kulangirira obukulu bwa Katonda’ (6)

      • “Yakuwa mulungi eri bonna” (9)

      • “Abeesigwa gy’oli bajja kukutendereza” (10)

      • Obwakabaka bwa Katonda bwa mirembe na mirembe (13)

      • Omukono gwa Katonda gukkusa buli kiramu (16)

  • 146

    • Weesige Katonda, so si bantu

      • Omuntu bw’afa ebirowoozo bye bisaanawo (4)

      • Katonda ayimusa abo abakutamye (8)

  • 147

    • Okutendereza ebikolwa bya Katonda eby’amanyi era ebyoleka okwagala

      • “Awonya abamenyese omutima” (3)

      • Emmunyeenye zonna aziyita amannya gaazo (4)

      • “Aweereza omuzira ne guba ng’ebyoya by’endiga” (16)

  • 148

    • Ebitonde byonna birina okutendereza Yakuwa

      • “Mumutendereze mmwe bamalayika be bonna” (2)

      • ‘Mumutendereze mmwe, enjuba, n’omwenzi, n’emmunyeenye’ (3)

      • Abato n’abakulu batendereze Yakuwa (12, 13)

  • 149

    • Oluyimba olutendereza Katonda olw’obuwanguzi bwe

      • Katonda asanyukira abantu be (4)

      • Ekitiibwa ky’abo abeesigwa eri Katonda (9)

  • 150

    • Buli kintu ekiramu kitendereze Ya

      • Aleruuya! (1, 6)