Zabbuli 107:1-43
(Zabbuli 107-150)
107 Mwebaze Yakuwa, kubanga mulungi;+Okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.+
2 Abo Yakuwa be yanunula ka boogere bwe batyo,Abo be yanunula mu mukono* gw’omulabe,+
3 Abo be yakuŋŋaanya ng’abaggya mu nsi ez’enjawulo,+Ng’abaggya mu buvanjuba ne mu bugwanjuba,Ng’abaggya mu bukiikakkono ne mu bukiikaddyo.+
4 Baabundabundira mu lukoola, mu ddungu;Tebaalaba kkubo libatuusa mu kibuga mwe baali basobola okubeera.
5 Baalumwa enjala n’ennyonta;Baazirika olw’okukoowa ennyo.
6 Baakaabiriranga Yakuwa nga bali mu nnaku;+N’abalokola mu buzibu bwe baalimu.+
7 Yabayisa mu kkubo ettuufu+Basobole okutuuka mu kibuga mwe baali basobola okubeera.+
8 Abantu ka beebaze Yakuwa+ olw’okwagala kwe okutajjulukukaN’olw’ebintu eby’ekitalo by’akoledde abaana b’abantu.+
9 Kubanga abalumwa ennyonta agibamazeeko;N’abayala abakkusizza ebirungi.+
10 Abamu baali babeera mu kizikiza eky’amaanyi ennyo,Nga basibe abali ku njegere era abali mu nnaku.
11 Olw’okuba baajeemera ekigambo kya Katonda;Baanyooma obulagirizi bw’oyo Asingayo Okuba Waggulu.+
12 Kyeyava atoowaza emitima gyabwe okuyitira mu bizibu bye baafuna;+Beesittala ne bagwa ne babulwa abayamba.
13 Baakoowoola Yakuwa abayambe nga bali mu nnaku,N’abalokola mu buzibu bwe baalimu.
14 Yabaggya mu kizikiza eky’amaanyi ennyo,Era yabaggyako enjegere.+
15 Abantu ka beebaze Yakuwa olw’okwagala kwe okutajjulukuka+N’olw’ebintu eby’ekitalo by’akoledde abaana b’abantu.
16 Kubanga amenye enzigi ez’ekikomoN’akutulamu ebisiba eby’ekyuma.+
17 Baali basirusiru ne babonaabona,+Olw’okwonoona kwabwe n’olw’ensobi zaabwe.+
18 Beetamwa eby’okulya byonna;Baakoma ku mugo gw’entaana.
19 Baakoowoolanga Yakuwa abayambe nga bali mu nnaku;Yabalokola mu buzibu bwe baalimu.
20 Yalagiranga ne bawona+Era n’abaggyanga mu binnya mwe baabanga bagudde.
21 Abantu ka beebaze Yakuwa olw’okwagala kwe okutajjulukukaN’olw’ebintu eby’ekitalo by’akoledde abaana b’abantu.
22 Ka baweeyo ssaddaaka ez’okwebaza+Era balangirire ebikolwa bye mu ddoboozi ery’essanyu.
23 Abo abasaabalira mu byombo ku nnyanja,Abakolera emirimu gyabwe ku mazzi amangi,+
24 Balabye ebikolwa bya YakuwaEra balabye ebikolwa bye eby’ekitalo mu buziba;+
25 Omuyaga bwe gusituka olw’ekigambo kye,+Ne gusitula amayengo g’ennyanja.
26 Batumbiira waggulu mu bbanga,Ate ne bakka wansi mu ddubi.
Obuvumu bubaggwaamu olw’akabi akaba kabasemberedde.
27 Beesunda era ne batagala ng’omutamiivu,Era obumanyirivu bwabwe bwonna tebubayamba.+
28 Bakoowoola Yakuwa nga bali mu buzibu,+N’abalokola mu kabi ke baba balimu.
29 Akkakkanya omuyaga;Amayengo g’ennyanja ne gateeka.+
30 Basanyuka bwe bikkakkana,Era abatuusa ku mwalo gye baba baagala okugenda.
31 Abantu ka beebaze Yakuwa olw’okwagala kwe okutajjulukukaN’olw’ebintu eby’ekitalo by’akoledde abaana b’abantu.+
32 Ka bamugulumize mu kibiina ky’abantu;+Ka bamutendereze mu lukiiko lw’abakadde.
33 Emigga agifuula ddungu,N’ensulo z’amazzi azifuula ettaka ekkalu.+
34 Ensi engimu agifuula ya lunnyo,+Olw’ebikolwa ebibi eby’abo abagibeeramu.
35 Eddungu alifuula bidiba bya mazzi,N’ensi enkalu agifuula nsulo z’amazzi.+
36 Omwo mw’assa abalumwa enjala,+Bazimbemu ekibuga eky’okubeeramu.+
37 Basiga ensigo mu nnimiro ne basimba n’ennimiro z’emizabbibu+Ebivaamu ebibala ebingi ennyo.+
38 Abawa omukisa ne baala nnyo;Ente zaabwe tazireka kukendeera.+
39 Kyokka baddamu ne baba batono era ne batoowazibwaOlw’okunyigirizibwa, n’olw’emitawaana, n’olw’ennaku.
40 Ab’ebitiibwa abaleetera okunyoomebwa,Era abaleetera okubundabundira mu malungu omutali makubo.+
41 Naye abaavu abakuuma* ne batanyigirizibwa,+Era n’ayaza ab’omu maka gaabwe ne baba bangi ng’ebisolo mu kisibo.
42 Abagolokofu bakiraba ne basanyuka;+Naye abatali batuukirivu bonna babunira.+
43 Ebintu bino buli alina amagezi ajja kubissaako omwoyo,+Era ajja kufumiitiriza ku bikolwa bya Yakuwa ebiraga okwagala kwe okutajjulukuka.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “mu buyinza.”
^ Oba, “abateeka waggulu,” kwe kugamba, we batayinza kutuukibwako kabi.