Zabbuli 4:1-8

  • Essaala eyoleka obwesige mu Katonda

    • “Bwe musunguwala temwonoona” (4)

    • ‘Nja kwebaka mirembe’ (8)

Eri akubiriza eby’okuyimba; kugenderako ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi. 4  Bwe nkukoowoola, nnyanukula, Ai Katonda wange omutuukirivu.+ Mu buyinike bwange nteeraawo obuddukiro.* Nkwatirwa ekisa owulire okusaba kwange.   Mmwe abaana b’abantu, mulituusa wa okumpeebuula? Mulituusa wa okwagala ebitaliimu nsa n’okunoonya ebitali bya mazima. (Seera)   Mukimanye nti Yakuwa ayisa mu ngeri ya njawulo oyo omwesigwa gy’ali;*Yakuwa ajja kuwulira bwe nnaamukoowoola.   Bwe musunguwala temwonoona.+ Mwogerere mu mitima gyammwe ku bitanda byammwe, era musirike. (Seera)   Muweeyo ssaddaaka ez’obutuukirivu,Era mwesige Yakuwa.+   Waliwo bangi abagamba nti: “Ani anaatulaga ebirungi?” Ekitangaala ky’obwenyi bwo ka kitwakire, Ai Yakuwa.+   Omutima gwange ogujjuzza essanyuErisinga ery’abo abakungudde emmere ennyingi era abalina omwenge omusu omungi.   Nja kugalamira nneebake mirembe,+Kubanga, Ai Yakuwa, ggwe wekka andeetera okuba mu mirembe.+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “ngaziyiza ekifo.”
Oba, “ayawulawo oyo omwesigwa gy’ali.”