Zabbuli 62:1-12
Eri akubiriza eby’okuyimba; mu ngeri ya Yedusuni.* Zabbuli ya Dawudi.
62 Nnindirira Katonda.
Obulokozi bwange buva gy’ali.+
2 Lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange, ekiddukiro kyange;+Siritagala ne ngwa.+
3 Mulituusa wa okulumba omuntu nga mwagala okumutta?+
Mmwenna muli ba bulabe ng’ekisenge ekyewunzise, ekisenge eky’amayinja ekyagala okugwa.
4 Kubanga bateesaganya okumuggya mu kifo kye ekya waggulu;*Banyumirwa okulimba.
Akamwa kaabwe kaagaliza abalala emikisa, naye nga munda bakolima.+ (Seera)
5 Nnindirira Katonda+Kubanga ye nsibuko y’essuubi lyange.+
6 Lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange, ekiddukiro kyange;Sirisagaasagana.+
7 Obulokozi bwange n’ekitiibwa kyange biva eri Katonda.
Katonda lwe lwazi lwange olugumu, era kye kiddukiro kyange.+
8 Mumwesigenga bulijjo, mmwe abantu.
Mumubuulire ebibali ku mitima.+
Katonda kye kiddukiro kyaffe.+ (Seera)
9 Abaana b’abantu mukka bukka,Abaana b’abantu bulimba.+
Bw’obateeka bonna ku minzaani bawewuka okusinga omukka.+
10 Teweesiganga kunyaga,Era tolowoozanga nti oyinza okuganyulwa mu kubba.
Obugagga bwo bwe bweyongeranga, tobussangako mutima.+
11 Emirundi ebiri nnawulira nti Katonda yagamba nti:
Katonda ye nnannyini maanyi.+
12 Okwagala okutajjulukuka nakwo kukwo, Ai Yakuwa,+Kubanga buli omu omusasula okusinziira ku bikolwa bye.+