Zabbuli 65:1-13

  • Katonda alabirira ensi

    • “Ggwe awulira okusaba” (2)

    • “Alina essanyu oyo gw’olonda” (4)

    • Obulungi bwa Katonda obungi (11)

Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi. Luyimba. 65  Ai Katonda, ettendo likulindiridde mu Sayuuni;+Tujja kutuukiriza ebyo bye tweyama gy’oli.+   Ai ggwe awulira okusaba, abantu aba buli kika banajjanga gy’oli.+   Ensobi zange zimpitiriddeko,+Naye ggwe obikka ku kwonoona kwaffe.+   Alina essanyu oyo gw’olonda era n’omusembezaOkubeera mu mpya zo.+ Tujja kuba bamativu n’ebirungi eby’omu nnyumba yo,+Yeekaalu yo entukuvu.*+   Ojja kutwanukula ng’okola ebintu ebiwuniikiriza+ eby’obutuukirivu,Ai Katonda ow’obulokozi bwaffe;Ggwe Bwesige bw’abantu mu nsi yonna,+N’abo abali ewala emitala w’ennyanja.   Wanyweza* ensozi n’amaanyi go;Oyambadde* amaanyi.+   Okkakkanya* ennyanja ezeefuukuula,+Okkakkanya* okuyira kw’amayengo gaazo n’oluyoogaano lw’amawanga.+   Ababeera mu bitundu eby’ewala bajja kuwuniikirira olw’obubonero bwo;+Ojja kuleetera abantu okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba okwogerera waggulu n’essanyu.   Olabirira ensi,Ogisobozesa okubala ennyo era n’okubaamu eby’obugagga bingi nnyo.+ Omugga oguva eri Katonda gujjudde amazzi;Owa abantu emmere,+Bw’otyo bwe wateekateeka ensi. 10  Onnyikiza embibiro zaayo era otereeza ettaka lyayo erikabaddwa;Otonnyesa enkuba n’oligonza; owa ebimera byayo omukisa.+ 11  Omwaka ogujjuza ebirungi, n’oba ng’agutikkidde engule;Amakubo go gajjudde ne gabooga.*+ 12  Amalundiro ag’oku ttale gajjudde omuddo ogutonnyolokoka amazzi,+N’obusozi bwambadde essanyu.+ 13  Amalundiro gajjudde ebisibo,Ebiwonvu bijjudde emmere ey’empeke.+ Bijaguza era biyimba.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Ekifo kyo ekitukuvu.”
Obut., “Ayambadde.”
Obut., “Yanyweza.”
Obut., “Akkakkanya.”
Obut., “Akkakkanya.”
Obut., “gatonnya amasavu.”