Zabbuli 83:1-18
Oluyimba. Zabbuli ya Asafu.+
83 Ai Katonda, tosirika;+Yogera* era baako ky’okola, Ai Katonda.
2 Laba! Abalabe bo bayoogaana;+Abo abatakwagala beekulumbaza.*
3 Mu lukujjukujju basalira abantu bo enkwe;Beekobaana okukola akabi ku bantu bo ab’omuwendo.*
4 Bagamba nti: “Mujje tubazikirize bonna ng’eggwanga,+Erinnya lya Isirayiri lireme kujjukirwa nate.”
5 Bateesa ne bakkaanya;Beegasse wamu* okukulwanyisa+—
6 Weema za Edomu n’ez’Abayisimayiri, Mowaabu+ n’Abakaguli,+
7 Gebali ne Amoni+ ne Amaleki,Bufirisuuti+ awamu n’abantu b’e Ttuulo.+
8 Bwasuli+ naye abeegasseeko;Bayamba* abaana ba Lutti.+ (Seera)
9 Bakole kye wakola Midiyaani,+Kye wakola Sisera ne Yabini ku Kagga Kisoni.+
10 Baazikirizibwa mu Eni-doli;+Baafuuka bigimusa bya ttaka.
11 Abaami baabwe bafuule nga Olebu ne Zeebu,+Abakulembeze baabwe bafuule nga Zeba ne Zalumunna,+
12 Kubanga bagambye nti: “Ka tutwale ensi Katonda mw’abeera.”
13 Ai Katonda wange, bafuule ng’amatovu agatwalibwa empewo,+Bafuule ng’ebisubi ebifuumuulibwa embuyaga.
14 Ng’omuliro ogwokya ekibira,Era ng’ennimi z’omuliro ezibabula ensozi,+
15 Bawondere ng’okozesa omuyaga gwo,+Era batiise ne kibuyaga wo.+
16 Amaaso gaabwe gajjuze* okuswala,Banoonyenga erinnya lyo, Ai Yakuwa.
17 Ka baswalenga era batyenga emirembe gyonna,Ka bafeebezebwe era bazikirire;
18 Abantu ka bamanye nti erinnya lyo, ggwe Yakuwa,+Ggwe wekka Asingayo Okuba Waggulu, afuga ensi yonna.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “Tosirika.”
^ Oba, “bayimusa emitwe gyabwe.”
^ Obut., “bantu bo abakwekeddwa.”
^ Oba, “Bakoze endagaano.”
^ Obut., “Bafuuse mukono eri.”
^ Oba, “gabikke.”