A7-B
Ebintu Ebikulu Ebyaliwo mu Bulamu bwa Yesu ku Nsi—Yesu Atandika Obuweereza Bwe
EKISEERA |
EKIFO |
EKYALIWO |
MATAYO |
MAKKO |
LUKKA |
YOKAANA |
---|---|---|---|---|---|---|
29, nga gunaatera okuggwako |
Omugga Yoludaani, oboolyawo e Bessaniya oba okumpi nakyo emitala wa Yoludaani |
Yesu abatizibwa era afukibwako amafuta; Yakuwa alangirira nti Yesu Mwana we era nti amusiima |
||||
Eddungu ly’e Buyudaaya |
Akemebwa Omulyolyomi |
|||||
Bessaniya emitala wa Yoludaani |
Yokaana Omubatiza ayita Yesu Omwana gw’Endiga owa Katonda; abayigirizwa ba Yesu abasooka |
|||||
Kaana eky’e Ggaliraaya; Kaperunawumu |
Ekyamagero ekisooka, afuula amazzi omwenge; agenda e Kaperunawumu |
|||||
30, Okuyitako |
Yerusaalemi |
Alongoosa yeekaalu |
||||
Ayogera ne Nikodemu |
||||||
Buyudaaya; Enoni |
Agenda mu bitundu by’e Buyudaaya, abayigirizwa be babatiza; Yokaana ayogera ebisembayo ku Yesu |
|||||
Tiberiyo; Buyudaaya |
Yokaana asibibwa; Yesu agenda e Ggaliraaya |
|||||
Sukali, mu Samaliya |
Ng’agenda e Ggaliraaya, ayigiriza Abasamaliya |