Ekinunulo—Kirabo kya Katonda Ekisingayo Obulungi
Essuula ey’Okutaano
Ekinunulo—Kirabo kya Katonda Ekisingayo Obulungi
Ekinunulo kye ki?
Kyaweebwayo kitya?
Oyinza otya okukiganyulwamu?
Oyinza otya okulaga nti okisiima?
1, 2. (a) Ddi ekirabo lwe kiba eky’omugaso gy’oli? (b) Lwaki kiyinza okugambibwa nti ekinunulo kye kirabo ekisingayo obulungi ky’oyinza okufuna?
KIRABO ki ekisingayo obulungi kye wali ofunye? Ekirabo tekirina kuba kya bbeeyi okusobola okuba ekirungi. Mu butuufu, ekirabo okusobola okuba eky’omugaso tekisinziira ku ssente mmeka ze kiguliddwa. Wabula, ekirabo kiba kya mugaso singa kikuleetera essanyu oba ne kikola ku kimu ku byetaago byo.
2 Mu birabo ebingi by’oyinza okwagala okufuna, waliwo kimu ekibisinga byonna. Kye kirabo Katonda ky’awadde olulyo lw’omuntu. Yakuwa atuwadde ebintu bingi, naye ekirabo ekisingayo obulungi mu byonna, ye ssaddaaka y’Omwana we Yesu Kristo. (Matayo 20:28) Nga bwe tugenda okulaba mu ssuula eno, ekinunulo kye kirabo ekisingayo obulungi ky’oyinza okufuna, kubanga okuyitira mu kyo, osobola okufuna essanyu eritagambika era n’ebyetaago byo ebikulu ennyo ne bikolebwako. Mazima ddala, ekinunulo kye kisingayo okwoleka okwagala Yakuwa kw’alina gy’oli.
EKINUNULO KYE KI?
3. Ekinunulo kye ki, era kiki kye tusaanidde okutegeera okusobola okusiima ekirabo kino eky’omuwendo?
3 Ekinunulo y’engeri Yakuwa gy’akozesa okununula Abeefeso 1:7) Okusobola okutegeera obulungi enjigiriza ya Baibuli eyo, tusaanidde okusooka okulowooza ku ebyo ebyabaawo mu lusuku Adeni. Singa tutegeera bulungi ekyo Adamu kye yafiirwa ng’ayonoonye, tujja kusobola okumanya ensonga lwaki ekinunulo kirabo kya muwendo nnyo gye tuli.
abantu okuva mu kibi n’okufa. (4. Kyali kitegeeza ki eri Adamu okuba n’obulamu obutuukiridde?
4 Yakuwa bwe yatonda Adamu, yamuwa ekintu eky’omuwendo ennyo, kwe kugamba, obulamu obutuukiridde. Lowooza ekyo kye kyategeeza eri Adamu. Olw’okuba yali atuukiridde mu mubiri ne mu birowoozo, yali tayinza kulwala, kukaddiwa, oba okufa. Ng’omuntu atuukiridde, yalina enkolagana ennungi ennyo ne Yakuwa. Baibuli egamba nti Adamu “yali mwana wa Katonda.” (Lukka 3:38) N’olwekyo, enkolagana ennungi Adamu gye yalina ne Yakuwa, efaananako n’eyo omwana gy’abeera ne taata we amwagala ennyo. Yakuwa yayogeranga ne Adamu, n’amuwa emirimu egimatiza era n’amutegeeza ekyo kye yali agwanidde okukola.—Olubereberye 1:28-30; 2:16, 17.
5. Baibuli etegeeza ki bw’egamba nti Adamu yakolebwa mu “kifaananyi kya Katonda”?
5 Adamu yakolebwa mu “kifaananyi kya Katonda.” (Olubereberye 1:27) Ekyo kyali tekitegeeza nti Adamu yali afaanana Katonda mu ndabika. Nga bwe twayiga mu Ssuula 1 ey’ekitabo kino, Yakuwa muntu wa mwoyo atalabika. (Yokaana 4:24) N’olw’ensonga eyo, Yakuwa talina mubiri gwa nnyama na musaayi. Adamu okukolebwa mu kifaananyi kya Katonda kyali kitegeeza nti alina engeri ng’eza Katonda, gamba ng’okwagala, amagezi, obwenkanya, n’amaanyi. Ate era Adamu yalinga Kitaawe mu ngeri nti yalina eddembe ery’okwesalirawo. N’olwekyo, Adamu teyali ng’ekyuma ekikola ebyo byokka ebyakitegekerwa okukola. Wabula, yali asobola okwesalirawo ekituufu n’ekikyamu. Bwe yandironzeewo okugondera Katonda, yandisobodde okubeera mu Lusuku lwa Katonda emirembe gyonna.
6. Kiki Adamu kye yafiirwa bwe yajeemera Katonda, era abaana be baakwatibwako batya?
Olubereberye 3:17-19) Eky’ennaku, Adamu si ye yekka eyafiirwa obulamu obwo obw’omuwendo, naye era yabufiiriza n’abaana be yandizadde. Ekigambo kya Katonda kigamba: “Ku bw’omuntu omu [Adamu] ekibi . . . kyayingira mu nsi, okufa ne kuyingira olw’ekibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna, kubanga bonna baayonoona.” (Abaruumi 5:12) Mazima ddala, ffenna twasikira ekibi okuva ku Adamu. Bwe kityo, Baibuli egamba nti ‘yeetunda’ mu buddu bw’ekibi n’okufa awamu n’abaana be. (Abaruumi 7:14) Adamu ne Kaawa baali tebakyalina ssuubi lyonna kubanga baasalawo okujeemera Katonda mu bugenderevu. Naye kyali kitya ku bikwata ku baana baabwe, nga mw’otwalidde naffe?
6 Kyokka, Adamu bwe yajeemera Katonda n’asalirwa ogw’okufa, yafiirwa nnyo. Ekibi kye yakola kyamuviirako okufiirwa ekirabo eky’obulamu obutuukiridde n’emikisa emirala mingi. (7, 8. Ekinunulo kirina makulu ki ag’emirundi ebiri?
7 Yakuwa yadduukirira olulyo lw’omuntu ng’ayitira mu kinunulo. Ekinunulo kitegeeza ki? Ekinunulo kirina amakulu ga mirundi ebiri. Amakulu agasooka gali nti, gwe mutango oguweebwayo okusobola okununula omuntu oba ekintu. Tusobola okugeraageranya omutango ogwo ku ssente ennyingi eziweebwayo okusobola okununula omuntu awambiddwa mu lutalo. Ag’okubiri gali nti, gwe mutango oguweebwayo okusasulira ekintu. Kiyinza okugeraageranyizibwa ku muwendo ogusasulwa ng’ekintu kyonooneddwa. Ng’ekyokulabirako, singa omuntu akola akabenje, aba alina okusasula omuwendo ogwenkanankanira ddala ekyo kyennyini ekiba kyonooneddwa.
8 Kati olwo kyandisobose kitya okusasulira ekyo Adamu kye yatufiiriza ffenna ne tusobola okununulibwa okuva mu kibi n’okufa? Ka twekenneenye ekinunulo Yakuwa kye yawaayo n’engeri gy’oyinza okukiganyulwamu.
ENGERI YAKUWA GYE YAWAAYO EKINUNULO
9. Kinunulo kya ngeri ki ekyali kyetaagisa?
9 Olw’okuba obulamu bw’omuntu obutuukiridde bwe bwabuzibwa, tewaliwo n’omu ku bantu abatatuukiridde eyali asobola okubuzzaawo. (Zabbuli 49:7, 8) Ekyali kyetaagisa okubuzzaawo kye kinunulo ekyali kyenkanankanira ddala n’obulamu obwabuzibwa. Kino kituukagana bulungi n’omusingi ogw’obwenkanya ogusangibwa mu Baibuli, ogugamba: “Obulamu bugattwenga obulamu.” (Ekyamateeka 19:21) N’olwekyo, muwendo ki ogwandyenkanyenkanye n’obulamu obutuukiridde Adamu bwe yabuza? Kyali kyetaagisa obulamu bw’omuntu omulala atuukiridde okuba “ekinunulo ekyenkanankana.”—1 Timoseewo 2:6, NW.
10. Yakuwa yawaayo atya ekinunulo?
10 Yakuwa yawaayo atya ekinunulo? Yatuma omu ku baana be ab’omwoyo abatuukiridde ku nsi. Naye, Yakuwa teyamala gatuma kitonde kyonna eky’omwoyo. Yatuma oyo gwe yali asinga okwagala, Omwana we eyazaalibwa omu yekka. (1 Yokaana 4:9, 10) Kyeyagalire, Omwana oyo yaleka ekifo kye eky’omu ggulu. (Abafiripi 2:7) Nga bwe twayiga mu ssuula evuddeko, Yakuwa yakola ekyamagero bwe yakyusa obulamu bw’Omwana we n’abuteeka mu lubuto lwa Malyamu. Ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu, Katonda yasobozesa Yesu okuzaalibwa ng’omuntu atuukiridde era nga talina kibi.—Lukka 1:35.
11. Omuntu omu yandisobodde atya okununula obukadde n’obukadde bw’abantu?
11 Omuntu omu yandisobode atya okununula obukadde n’obukadde bw’abantu? Kirowoozeeko, obukadde n’obukadde bw’abantu baafuuka batya aboonoonyi? Kijjukire nti Adamu bwe yayonoona, yafiirwa obulamu obutuukiridde. N’olwekyo, yali tayinza kuzaala baana batuukiridde. Wabula, yabasikiza ekibi n’okufa. Yesu, Baibuli gw’eyita “Adamu ow’oluvannyuma,” yalina obulamu obutuukiridde 1 Abakkolinso 15:45) Mu ngeri eyo, Yesu yadda mu kifo kya Adamu okusobola okutununula. Bwe yawaayo obulamu bwe obutuukiridde ng’ekinunulo eri Katonda, Yesu yasasulira ekibi kya Adamu. Bwe kityo, Yesu yasobozesa abaana ba Adamu okufuna essuubi.—Abaruumi 5:19; 1 Abakkolinso 15:21, 22.
era teyayonoona. (12. Yesu okubonyaabonyezebwa n’asigala nga mwesigwa kyalaga ki?
12 Baibuli ennyonnyola engeri Yesu gye yabonaabonamu nga tannafa. Yakubibwa embooko ez’amaanyi, yakomererwa ku muti era n’afiira mu bulumi obw’amaanyi. (Yokaana 19:1, 16-18, 30; laba ebirala ku mpapula 204-6.) Lwaki kyali kyetaagisa Yesu okubonaabona bwatyo? Mu emu ku ssuula ez’omu maaso, tujja kuyiga nti Setaani yabuusabuusa obanga wandibaddewo omuweereza wa Yakuwa yenna eyandisigadde nga mwesigwa ng’agezeseddwa. Olw’okuba yasigala mwesigwa ng’ayise mu kubonaabona okw’amaanyi, Yesu yalaga nti ebyo Setaani bye yayogera byali bya bulimba. Yakyoleka nti omuntu atuukiridde, era alina eddembe ery’okwesalirawo asobola okusigala nga mwesigwa eri Katonda ka kibeere ki Omulyolyomi ky’akola. Yakuwa ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo Omwana we bwe yasigala nga mwesigwa!—Engero 27:11.
13. Ekinunulo kyasasulwa kitya?
13 Ekinunulo kyasasulwa kitya? Ku lunaku olw’ekkumi n’ennya, mu mwezi oguyitibwa Nisani ku kalenda y’Ekiyudaaya, mu mwaka 33 C.E., Yakuwa yaleka Omwana we atuukiridde era ataalina kibi okuttibwa. N’olwekyo, Yesu yawaayo obulamu bwe obutuukiridde ng’ekinunulo “omulundi gumu.” (Abebbulaniya 10:10) Ku lunaku olw’okusatu oluvannyuma lw’okufa kwe, Yakuwa yamuzuukiriza mu bulamu obw’omwoyo. Ng’ali mu ggulu, Yesu yawaayo eri Katonda omuwendo gwa ssaddaaka y’obulamu bwe obutuukiridde ku lw’abaana ba Adamu. (Abebbulaniya 9:24) Yakuwa yakkiriza omuwendo gwa ssaddaaka ya Yesu okuba ekinunulo ekyetaagisa okununula olulyo lw’omuntu okuva mu buddu bw’ekibi n’okufa.—Abaruumi 3:23, 24.
EKINUNULO KYE KITEGEEZA GY’OLI
14, 15. Kiki kye tulina okukola okusobola ‘okusonyiyibwa ebibi byaffe’?
14 Wadde nga tuli boonoonyi, tusobola okuganyulwa mu kinunulo. Ka twekenneenye egimu ku miganyulo gye tuyinza okufuna kati era ne mu biseera eby’omu maaso okuyitira mu kirabo kya Katonda kino.
15 Okusonyiyibwa ebibi. Olw’okuba twasikira obutali butuukirivu, tulina okufuba ennyo okukola ekituufu. Ffenna tusobya mu bigambo oba mu bikolwa. Naye okuyitira mu ssaddaaka ya Yesu, tusobola ‘okusonyiyibwa ebibi byaffe.’ (Abakkolosaayi 1:13, 14) Kyokka, okusobola okusonyiyibwa, tulina okwenenyeza ddala. Ate era, tulina okusaba Yakuwa atusonyiwe ng’asinziira ku kukkiriza kwe tulina mu ssaddaaka y’Omwana we.—1 Yokaana 1:8, 9.
16. Kiki ekitusobozesa okusinza Katonda nga tulina omuntu ow’omunda omuyonjo, era miganyulo ki egiri mu kuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo?
16 Okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo mu maaso ga Katonda. Omuntu ow’omunda bw’aba ng’atulumiriza, kiyinza okutuviirako okuwulira nga tetukyalina mugaso. Kyokka, Yakuwa atusonyiwa ng’asinziira ku kinunulo ne tusobola okumusinza nga tulina omuntu ow’omunda omuyonjo wadde nga tetutuukiridde. (Abebbulaniya 9:13, 14) Kino kitusobozesa okwogera ne Yakuwa awatali kutya. N’olwekyo, tusobola okutuukirira Yakuwa mu kusaba nga tetulina nkenyera yonna. (Abebbulaniya 4:14-16) Okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo, kiviirako omuntu okuba n’emirembe mu birowoozo era n’okufuna essanyu.
17. Mikisa ki gye tusobola okufuna olw’okuba Yesu yatufiirira?
17 Essuubi ery’obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Abaruumi 6:23 lugamba, “Empeera y’ekibi kwe kufa.” Era olunyiriri olwo lugattako: “Naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu Mukama waffe.” Mu Ssuula 3 ey’ekitabo kino, twekenneenya emikisa gye tujja okufuna mu Lusuku lwa Katonda olugenda okujja. (Okubikkulirwa 21:3, 4) Emikisa egyo gyonna, nga mw’otwalidde n’obulamu obutaggwaawo, gijja kusobola okufunika olw’okuba Yesu yatufiirira. Okusobola okufuna emikisa egyo, tulina okukiraga nti tusiima ekirabo ky’ekinunulo.
Katonda ku nsi.OYINZA OTYA OKULAGA OKUSIIMA?
18. Lwaki twandisiimye nnyo Yakuwa olw’okutuwa ekinunulo?
18 Lwaki twandisiimye nnyo Yakuwa olw’okutuwa ekinunulo? Ekirabo kireeta essanyu singa oyo aba akigabye yeefiiriza ebiseera, afuba nnyo, oba n’abaako bye yeerekereza. Tusanyuka nnyo bwe tukimanya nti omuntu atuwadde ekirabo olw’okuba atwagala. Ekinunulo kye kirabo ekisingayo obulungi, kubanga Katonda yeefiiriza nnyo okusobola okukituwa. Yokaana 3:16 wagamba: “Katonda bwe yayagala ensi bw’ati, n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka.” Ekinunulo bwe bujulizi obusingayo okutukakasa nti Yakuwa atwagala. Ate era, kitukakasa nti ne Yesu atwagala nnyo, olw’okuba yawaayo obulamu bwe kyeyagalire ku lwaffe. (Yokaana 15:13) N’olwekyo, ekinunulo kyanditukakasizza nti Yakuwa n’Omwana we batwagala kinnoomu.—Abaggalatiya 2:20.
19, 20. Oyinza otya okulaga nti osiima ekirabo kya Katonda eky’ekinunulo?
19 Kati olwo, oyinza otya okulaga nti osiima ekirabo kya Katonda eky’ekinunulo? Okusookera ddala, yiga ebisingawo ku Yakuwa, Omugabi Asingiridde. (Yokaana 17:3) Okuyiga Baibuli nga weeyambisa akatabo kano kijja kukusobozesa okukola ekyo. Bw’oneeyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa, ojja kweyongera okumwagala. N’ekinaavaamu, okwagala okwo kujja kukuleetera okwagala okukola ebimusanyusa.—1 Yokaana 5:3.
20 Kkiririza mu ssaddaaka ya Yesu. Yesu kennyini yagamba: “Akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 3:36) Tuyinza tutya okulaga nti tukkiririza mu Yesu? Okukkiriza okwo tekulagibwa mu bigambo mwokka. Yakobo 2:26 wagamba: ‘Okukkiriza okutaliiko bikolwa kuba kufu.’ Yee, okukkiriza okwa nnamaddala kweyolekera mu “bikolwa” byaffe. Engeri emu gye tuyinza okulagamu nti tukkiririza mu Yesu, kwe kufuba okumukoppa mu bigambo ne mu bikolwa.—Yokaana 13:15.
21, 22. (a) Lwaki twandibaddewo ku mukolo gw’Okujjukira eky’Ekiro kya Mukama waffe ogubaawo buli mwaka? (b) Kiki ekijja okunnyonnyolwa mu Ssuula 6 ne 7?
21 Beerangawo ku mukolo gw’eky’Ekiro kya Mukama waffe ogubaawo buli mwaka. Akawungeezi nga Nisani 14, 33 C.E., Yesu yatandikawo omukolo ogw’enjawulo Baibuli gw’eyita ‘eky’ekiro kya Mukama waffe.’ (1 Abakkolinso 11:20; Matayo 26:26-28) Ate era, omukolo guno guyitibwa Ekijjukizo ky’okufa kwa Kristo. Yesu yagutandikawo okusobola okuyamba abatume be awamu n’abantu abalala abandifuuse Abakristaayo ab’amazima okumanya nti okuyitira mu kufa kwe ng’omuntu atuukiridde, yawaayo obulamu bwe ng’ekinunulo. Ku bikwata ku mukolo ogwo Yesu yawa ekiragiro: “Mukolenga bwe mutyo okunjijukiranga nze.” (Lukka 22:19) Bwe tubeerawo ku mukolo gw’Ekijjukizo, kitujjukiza okwagala Yakuwa ne Yesu kwe baatulaga okuyitira mu kinunulo. Tusobola okulaga nti tusiima ekinunulo nga tubeerawo ku mukolo ogw’Okujjukira okufa kwa Yesu ogubaawo buli mwaka. *
22 Mazima ddala ekirabo kya Yakuwa eky’ekinunulo kya muwendo nnyo. (2 Abakkolinso 9:14, 15) Ekirabo kino kisobola n’okuganyula abafu. Essuula 6 ne 7 zijja kunnyonnyola engeri ekyo gye kisobokamu.
[Obugambo obuli wansi]
^ lup. 21 Okumanya ebisingawo ku makulu g’eky’Ekiro kya Mukama waffe, laba empapula 206-8.
BAIBULI KY’EYIGIRIZA
▪ Ekinunulo y’enteekateeka Yakuwa mw’ayitidde okununula olulyo lw’omuntu okuva mu kibi n’okufa.—Abeefeso 1:7.
▪ Yakuwa yawaayo ekinunulo bwe yatuma ku nsi Omwana we eyazaalibwa omu yekka okutufiirira.—1 Yokaana 4:9, 10.
▪ Okuyitira mu kinunulo, tusobola okusonyiyibwa ebibi byaffe, okubeera n’omuntu ow’omunda omuyonjo, era n’okufuna essuubi ery’obulamu obutaggwaawo.—1 Yokaana 1:8, 9.
▪ Tulaga nti tusiima ekinunulo nga tweyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa, nga tukkiririza mu ssaddaaka ya Yesu, era nga tubaawo ku mukolo gw’eky’Ekiro kya Mukama waffe.—Yokaana 3:16.
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 52]
Yakuwa yawaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka ng’ekinunulo ku lwaffe
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 54]
Engeri emu mwe tulagira nti tusiima ekirabo kya Yakuwa eky’ekinunulo kwe kweyongera okuyiga ebimukwatako