Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 9

Musinzize Wamu Yakuwa

Musinzize Wamu Yakuwa

“Musinze oyo eyakola eggulu, n’ensi.”—Okubikkulirwa 14:7

Akatabo kano kalaze nti Bayibuli erimu amagezi agasobola okuyamba amaka okubaamu essanyu. Yakuwa ayagala mubeere basanyufu. Asuubiza nti singa mukulembeza by’ayagala, ‘ebintu ebirala byonna bijja kubongerwako.’ (Matayo 6:33) Mu butuufu ayagala mubeere mikwano gye. Mufube okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa kubanga ekyo kye kintu ekisingayo obukulu mu bulamu.—Matayo 22:37, 38.

1 MUNYWEZE ENKOLAGANA YAMMWE NE YAKUWA

BAYIBULI KY’EGAMBA: Yakuwa agamba nti: “Nnaabeera kitammwe, era nammwe munaabeera baana bange ab’obulenzi n’ab’obuwala.” (2 Abakkolinso 6:18) Ekimu ku bye muyinza okukola okusobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda kwe kumusaba. Yakuwa ayagala ‘mumusabenga bulijjo.’ (1 Abassessaloniika 5:17) Mwetegefu okuwuliriza essaala zammwe. (Abafiripi 4:6) Bw’osabira awamu n’ab’omu maka go, bajja kukiraba nti weesiga Katonda.

Ng’oggyeeko okusaba Katonda, mwetaaga okuwuliriza by’abagamba nga musoma Bayibuli n’ebitabo ebiginnyonnyola. (Zabbuli 1:1, 2) Mufumiitirize ku ebyo bye muba musomye. (Zabbuli 77:11, 12) Okuwuliriza Katonda kizingiramu n’okugenda mu nkuŋŋaana okumusinza.—Zabbuli 122:1-4.

Okubuulirako abalala ebikwata ku Yakuwa nakyo kijja kunyweza enkolagana yammwe naye. Gye munaakoma okubuulira abalala ebikwata ku Yakuwa, gye mujja okukoma okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye.—Matayo 28:19, 20.

BYE MUYINZA OKUKOLA:

  • Buli lunaku mufuneeyo akadde okusoma Bayibuli n’okusaba

  • Wadde nga kirungi okwesanyusaamu, mukulembeze ebyo Katonda by’ayagala

2 MUSINZIZE WAMU KATONDA NG’AMAKA

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.” (Yakobo 4:8) Musaanidde okubeera n’enteekateeka ey’okusinza kw’amaka obutayosa. (Olubereberye 18:19) Okugatta ku ekyo, musaanidde okukulembeza Katonda mu buli kye mukola. Mufube okunyweza enkolagana yammwe ne Katonda nga muyiga ebimukwatako buli kiseera. Katonda agamba nti: “Ebigambo bino bye nkulagira leero . . . onoobyogerangako bw’onootuulanga mu nnyumba yo, era bw’onootambuliranga mu kkubo, era bw’onoogalamiranga, era bw’onoogolokokanga.” (Ekyamateeka 6:6, 7) Mubeere nga Yoswa eyagamba nti: “Nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama.”—Yoswa 24:15.

KYE MUYINZA OKUKOLA:

  • Mubeere n’enteekateeka ey’okuyiga ebikwata ku Katonda esobola okuganyula buli omu mu maka