Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
Mawulire amalungi agava eri Katonda ge galuwa? Lwaki tusobola okugakkiriza? Brocuwa eno eddamu ebibuuzo ebikwata ku Bayibuli bye tutera okwebuuza.
Engeri gy’Osobola Okuganyulwa mu Brocuwa Eno
Brocuwa eno ejja kukuyamba okusoma Ekigambo kya Katonda, Bayibuli. Laba engeri gy’osobola okuzuula ebyawandiikibwa mu Baibuli yo.
ESSOMO 1
Mawulire Ki Amalungi?
Yiga ebikwata ku mawulire agava eri Katonda, Lwaki kikulu okussaayo omwoyo ku mawulire ago, n’ekyo ky’osaanidde okukola.
ESSOMO 3
Ddala Amawulire Amalungi Gava eri Katonda?
Tuyinza tutya okuba abakakafu nti ebiri mu Bayibuli bituufu?
ESSOMO 5
Lwaki Katonda Yatonda Ensi?
Bayibuli ennyonnyola ensonga lwaki Katonda yatonda ensi, okubonaabona kunaakoma ddi, era ensi eneebeera etya mu biseera eby’omu maaso awamu naabo abanaagibeerako.
ESSOMO 6
Tuliddamu Okulaba Abaafa?
Kiki ekitutuukako bwe tufa? Tuliddamu okulaba abaagalwa baffe abaafa?
ESSOMO 7
Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda y’ani, era Obwakabaka bwa Katonda bunaakola ki?
ESSOMO 8
Lwaki Katonda Akyaleseewo Ebintu Ebibi n’Okubonaabona?
Ebikolwa ebibi byatandika bitya, era lwaki Katonda akyabireseewo? Okubonaabona kuliggwaawo
ESSOMO 9
Amaka Gammwe Gayinza Gatya Okubaamu Essanyu?
Yakuwa, Katonda omusanyufu ayagala amaka gabeemu essanyu. Funa okubuulirira okutuukirawo okuva mu Bayibuli okukwata ku baami, abakyala, abazadde n’abaana.
ESSOMO 10
Oyinza Otya Okumanya Eddiini ey’Amazima?
Waliwo eddiini emu yokka ey’amazima? Weetegereze ebintu bitaano ebiyamba omuntu okutegeera eddiini ey’amazima.
ESSOMO 11
Amateeka ga Katonda Gatuganyula Gatya?
Yesu yannyonnyola ensonga lwaki twetaaga obulagirizi era n’atubuulira n’amateeka abiri amakulu ennyo.
ESSOMO 12
Oyinza Otya Okusemberera Katonda?
Manya oba nga ddala Katonda awulira okusaba kwonna, osaanidde kusaba otya, na kiki kye tusobola okukola okusobola okusemberera Katonda.
ESSOMO 13
Kiki Ekinaatuuka ku Madiini?
Ekiseera kirituuka buli omu n’aba ng’asinza Katonda omu yekka ow’amazima?
ESSOMO 14
Lwaki Katonda Alina Ekibiina ky’Abaweereza Be ku Nsi?
Bayibuli eraga engeri Abakristaayo ab’amazima gye bategekeddwamu n’ensonga lwaki bategekeddwa.
ESSOMO 15
Lwaki Wandyeyongedde Okumanya Ebisingawo?
By’oyize ku Katonda ne mu Kigambo kye binaaganyula bitya abalala? Onooba na nkolagana ki ne Katonda?