ESSOMO 7
Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
1. Obwakabaka bwa Katonda kye ki?
Obwakabaka bwa Katonda gavumenti ey’omu ggulu. Ejja kudda mu kifo kya gavumenti eziriwo leero era ejja kusobozesa Katonda by’ayagala okukolebwa mu ggulu ne ku nsi. Amawulire agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda mawulire malungi. Mu kiseera ekitali kya wala, Obwakabaka bwa Katonda bujja kufuga bulungi abantu. Bujja kuleetera abantu bonna ku nsi okuba obumu.—Soma Danyeri 2:44; Matayo 6:9, 10; 24:14.
Obwakabaka bulina okuba ne kabaka. Yakuwa yalonda Omwana we Yesu Kristo okuba Kabaka w’Obwakabaka bwe.—Soma Okubikkulirwa 11:15.
Laba vidiyo Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
2. Lwaki Yesu y’agwanidde okuba Kabaka?
Omwana wa Katonda y’agwanidde okuba Kabaka kubanga wa kisa, era anywerera ku kituufu. (Matayo 11:28-30) Era asobola okuyamba abantu kubanga ajja kufuga ensi yonna ng’asinziira mu ggulu. Bwe yazuukizibwa, yagenda mu ggulu n’atuula ku mukono gwa Yakuwa ogwa ddyo. (Abebbulaniya 10:12, 13) Oluvannyuma Katonda yamuwa obuyinza okutandika okufuga.—Soma Danyeri 7:13, 14.
3. Baani abanaafuga ne Yesu?
Abo abayitibwa ‘abatukuvu’ be bajja okufuga ne Yesu. (Danyeri 7:27) Abatukuvu abaasooka okulondebwa be batume ba Yesu abaali abeesigwa. N’okutuusa leero Yakuwa akyalonda abasajja n’abakazi abeesigwa okuba abamu ku batukuvu abo. Okufaananako Yesu, nabo bazuukizibwa n’emibiri egy’omwoyo.—Soma Yokaana 14:1-3; 1 Abakkolinso 15:42-44.
Lukka 12:32) Bajja kuba 144,000, era bajja kufuga ensi nga bali wamu ne Yesu.—Soma Okubikkulirwa 14:1.
Bantu bameka abagenda mu ggulu? Yesu yabayita “ekisibo ekitono.” (4. Kiki ekyaliwo Yesu bwe yatandika okufuga?
Obwakabaka bwa Katonda bwatandika okufuga mu 1914. * Yesu kye yasooka okukola ng’atandise okufuga kwe kusuula Sitaani ne badayimooni be ku nsi. Kino kyasunguwaza nnyo Sitaani n’atandika okuleeta ebizibu mu nsi yonna. (Okubikkulirwa 12:7-10, 12) Okuva mu kiseera ekyo ebizibu byeyongedde nnyo. Entalo, enjala, endwadde, ne musisi, bye bimu ku ebyo ebiri mu “kabonero” akalaga nti mu kiseera ekitali kya wala Obwakabaka bujja kufuga ensi yonna.—Soma Lukka 21:7, 10, 11, 31.
5. Obwakabaka bwa Katonda bukola ki?
Okuyitira mu mulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna, Obwakabaka bwa Katonda bukuŋŋaanyizza abantu okuva mu mawanga gonna era bali bumu. Obukadde n’obukadde bw’abantu abawombeefu kaakano bali wansi w’Obwakabaka bwa Katonda obufugibwa Yesu. Obwakabaka bwa Katonda bujja kubakuuma bwe bunaaba buzikiriza ensi ya Sitaani eno embi. N’olwekyo abo bonna abaagala okuganyulwa mu Bwakabaka bwa Katonda basaanidde okugondera Yesu.—Soma Okubikkulirwa 7:9, 14, 16, 17.
Mu kiseera eky’emyaka 1,000, Obwakabaka bwa Katonda bujja kutuukiriza Katonda kye yali ayagaliza abantu mu kusooka. Ensi yonna ejja kufuuka lusuku lwa Katonda. Oluvannyuma Yesu ajja kuwaayo Obwakabaka eri Kitaawe. (1 Abakkolinso 15:24-26) Waliwo omuntu yenna gwe wandyagadde okubuulira ku Bwakabaka bwa Katonda?—Soma Zabbuli 37:10, 11, 29.
^ lup. 6 Okumanya ebisingawo ku ekyo obunnabbi bwa Bayibuli kye bwayogera ku mwaka 1914, laba olupapula 217-220 mu katabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?