Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 15

Lwaki Wandyeyongedde Okumanya Ebisingawo?

Lwaki Wandyeyongedde Okumanya Ebisingawo?

1. Onooganyulwa otya bw’oneeyongera okusoma Bayibuli?

Awatali kubuusabuusa, ebintu ebitonotono by’oyize mu Bayibuli bikuleetedde okwagala Yakuwa. Naye olina okukola kyonna ekisoboka okulaba nti okwagala okwo kweyongera. (1 Peetero 2:2) Ojja kufuna obulamu obutaggwaawo bw’oneeyongera okusemberera Katonda ng’osoma Ekigambo kye.​— Soma Yokaana 17:3; Yuda 21.

Bw’oneeyongera okumanya Katonda, okukkiriza kwo kujja kweyongera okunywera. Okukkiriza kujja kukusobozesa okusanyusa Katonda. (Abebbulaniya 11:1, 6) Kujja kukuleetera okwenenya n’okukola enkyukakyuka ezeetaagisa mu bulamu bwo.​—Soma Ebikolwa 3:19.

2. By’oyize ku Katonda binaaganyula bitya abalala?

Osobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa

Awatali kubuusabuusa ojja kubuulirako abalala by’oyize. Ffenna twagala nnyo okubuulirako abalala amawulire amalungi. Bw’oneeyongera okuyiga Bayibuli, ojja kuyiga engeri y’okugikozesaamu okunnyonnyola abalala ensonga lwaki okkiririza mu Yakuwa era n’okubabuulira amawulire amalungi.​—Soma Abaruumi 10:13, 15.

Abantu abasinga obungi bwe baba batandika okubuulira, basookera ku mikwano gyabwe n’ab’eŋŋanda zaabwe. Naye bw’oba obuulira beera mwegendereza. Mu kifo ky’okubagamba nti enzikiriza zaabwe nkyamu, babuulire ku bisuubizo bya Katonda. Era kijjukire nti abantu bakwatibwako nnyo enneeyisa yo okusinga by’oyogera.​—Soma 2 Timoseewo 2:24, 25.

3. Onooba na nkolagana ki ne Katonda?

Okusoma Ekigambo kya Katonda kijja kukuyamba okukula mu by’omwoyo. Ojja kuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Era ojja kuba omu ku bantu be.​—Soma 2 Abakkolinso 6:18.

4. Oyinza otya okweyongera okukulaakulana?

Osobola okukula mu by’omwoyo nga weeyongera okusoma Ekigambo kya Katonda. (Abebbulaniya 5:13, 14) Saba omu ku Bajulirwa ba Yakuwa akuyigirize Bayibuli ng’akozesa akatabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli? Bw’oneeyongera okusoma Ekigambo kya Katonda, obulamu bwo bujja kweyongera okuba obulungi.​—Soma Zabbuli 1:1-3; 73:27, 28.

Amawulire amalungi gava eri Yakuwa, Katonda omusanyufu. Osobola okumusemberera ng’okuŋŋaana wamu n’abantu be. (Abebbulaniya 10:24, 25) Bw’oneeyongera okukola Yakuwa by’ayagala, ojja kuba oluubirira obulamu obwa namaddala​—obulamu obutaggwaawo. Okusemberera Katonda kye kintu ekisingayo obulungi ky’oyinza okukola.​—Soma 1 Timoseewo 1:11; 6:19.