Okweraliikirira
Owulira nga weeraliikiridde olw’ebizibu gamba ng’obwavu, obutaba na mmere, oba olw’obutaba na wa kubeera?
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
Kuk 3:19—Oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi, nnabbi Yeremiya, okufaananako Abayudaaya abalala bangi, talina wa kubeera
2Ko 8:1, 2; 11:27—Abakristaayo mu Masedoniya baavu nnyo; emirundi mingi n’omutume Pawulo abulwa eby’okulya, taba na bya kwambala, era abulwa aw’okusula
Ebyawandiikibwa ebizzaamu amaanyi:
Laba ne Ma 24:19
Owulira nga weeraliikiridde olw’obutaba na mikwano, olw’ekiwuubaalo, oba olw’obutayagalibwa?
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
1Sk 18:22; 19:9, 10—Nnabbi Eriya awulira ekiwuubaalo olw’okuba alowooza nti ye yekka asigadde ng’aweereza Yakuwa n’obwesigwa
Yer 15:16-21—Nnabbi Yeremiya awulira ng’awuubadde olw’okuba abantu b’alimu baagala nnyo eby’amasanyu okusinga obubaka bw’ababuulira
Ebyawandiikibwa ebizzaamu amaanyi:
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli ebisobola okukuzzaamu amaanyi:
1Sk 19:1-19—Yakuwa awa Eriya eky’okulya n’eky’okunywa, amuwuliriza bulungi ng’amubuulira ebimweraliikiriza, amuyamba okukimanya nti alina amaanyi mangi
Yok 16:32, 33—Yesu akimanyi nti abatume be bajja kumwabulira, naye era akimanyi nti tali yekka