Yesu Kristo
Yesu alina kifo ki mu kutuukirizibwa kw’ebigendererwa bya Katonda?
Bik 4:12; 10:43; 2Ko 1:20; Baf 2:9, 10
Laba ne Nge 8:22, 23, 30, 31; Yok 1:10; Kub 3:14
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Mat 16:13-17—Omutume Peetero agamba nti Yesu ye Kristo, Omwana wa Katonda
-
Mat 17:1-9—Yesu afuusibwa mu maaso g’abatume be basatu, era abatume abo bawulira Yakuwa ng’agamba nti Yesu Mwana we
-
Biki ebyafuula Yesu okuba ow’enjawulo ku bantu abalala bonna?
Yok 8:58; Bak 1:15-17; Yok 14:9, 10; 1Pe 2:22
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Mat 21:1-9—Yesu bw’ayingira mu Yerusaalemi nga yeebagadde endogoyi, kituukiriza obunnabbi obukwata ku Masiya Kabaka, Yakuwa gwe yalonda
-
Beb 7:26-28—Omutume Pawulo alaga engeri Yesu, Kabona Asinga Obukulu, gy’ali ow’enjawulo ennyo ku bakabona abalala bonna abasinga obukulu
-
Eby’amagero Yesu bye yakola bituyigiriza ki ku Yesu ne ku Kitaawe?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Mat 4:23, 24—Yesu akiraga nti asinga badayimooni amaanyi era asobola okuwonya endwadde eza buli kika
-
Mat 14:15-21—Yesu aliisa abantu nkumi na nkumi mu ngeri ey’eky’amagero ng’akozesa emigaati etaano n’ebyennyanja bibiri
-
Mat 17:24-27—Yesu akola eky’amagero n’asobozesa Peetero okufuna ssente z’okusasula omusolo gwa yeekaalu, era ekyo kiyamba abalala obuteesittala
-
Mak 1:40, 41—Yesu akwatirwa ekisa omugenge n’amuwonya, ekiraga nti ayagala okuwonya abalwadde
-
Mak 4:36-41—Yesu akkakkanya omuyaga, ekiraga nti Kitaawe amuwadde amaanyi okuggyawo obutyabaga obuva ku mbeera y’obudde
-
Yok 11:11-15, 31-45—Yesu akaabira mukwano gwe Lazaalo eyafa; akiraga nti akyayira ddala okufa n’obulumi bwe kuleetera abantu ng’azuukiza Lazaalo
-
Obubaka obukulu Yesu bwe yali abuulira bwe buliwa?
Ezimu ku ngeri ennungi Yesu ze yayoleka ng’ali ku nsi ze ziruwa? Laba engeri gye yakiraga nti yali . . .
Atuukirikika—Mat 13:2; Mak 10:13-16; Luk 7:36-50
Musaasizi—Mak 5:25-34; Luk 7:11-15
Muvumu—Mat 4:2-11; Yok 2:13-17; 18:1-6
Mwetoowaze—Mat 11:29; 20:28; Yok 13:1-5; Baf 2:7, 8
Alina okwagala—Yok 13:1; 14:31; 15:13; 1Yo 3:16
Muwulize—Luk 2:40, 51, 52; Beb 5:8
Alina amagezi mangi—Mat 12:42; 13:54; Bak 2:3
Lwaki Yesu yawaayo obulamu bwe, era tuganyulwa tutya mu ssaddaaka ye?
Lwaki tusaanidde okuba abasanyufu nti Yesu Kristo afuga nga Kabaka mu ggulu?
Zb 72:12-14; Dan 2:44; 7:13, 14; Kub 12:9, 10
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Zb 45:2-7, 16, 17—Zabbuli eno eraga nti Kabaka Katonda gwe yalonda yandiwangudde abalabe, era yandifuze na mazima, n’obwetoowaze, n’obutuukirivu
-
Is 11:1-10—Yesu bw’anaaba afuga ensi yonna nga Kabaka, ensi ejja kuba nnungi nnyo era ng’erimu emirembe
-
Biki Yesu by’agenda okukola mu kiseera ekitali kya wala?