Koppa Okukkiriza Kwabwe
Abasajja n’abakazi abeesigwa aboogerwako mu Bayibuli, tubayigirako ki leero?
Ebiseera
Ebiseera ne mmaapu bijja kukuyamba okumanya ddi era n’ekifo abantu bano abeesigwa aboogerwako mu Bayibuli we baabeererawo.
Ebbaluwa Okuva eri Akakiiko Akafuzi
Akakiiko Akafuzi katukubiriza fenna okusoma ekitabo kino kinnoomu oba ng’amaka tusobole okuganyulwa mu bujjuvu.
Enyanjula
Bayibuli ejjudde ebyokulabirako ebirungi eby’abasajja n’abakazi abeesigwa. Tuyinza tutya okuganyulwa mu kyokulabirako kyabwe?
Abbeeri
“Newakubadde nga Yafa, Akyayogera”
Tuyinza tutya okumanya ebikwata ku Abbeeri ne ku kukkiriza kwe ng’ate Bayibuli emwogerako katono nnyo?
NUUWA
‘Yatambula ne Katonda ow’Amazima’
Lwaki tekyali kyangu Nuuwa ne mukazi we okukuza abaana baabwe? Okuzimba eryato, kyayoleka kitya okukkiriza kwabwe?
IBULAYIMU
‘Kitaawe w’Abo Bonna Abalina Okukkiriza’
Ibulayimu yayoleka atya okukkiriza? Oyinza otya okukoppa okukkiriza kwa Ibulayimu?
LUUSI
“Gy’Onoogendanga, Gye Nnaagendanga”
Lwaki Luusi yali mwetegefu okuleka ab’eŋŋanda ze era n’ensi yewaabwe? Ngeri ki Luusi ze yalaga ezamufuula okuba ow’omuwendo eri Yakuwa?
LUUSI
‘Omukazi Omwegendereza’
Lwaki abufumbo bwa Bowaazi ne Luusi bwali bwa njawulo? Bwe kituuka ku maka, kiki kye tuyinza okuyigira ku Luusi ne Nawomi?
KAANA
Yategeeza Katonda Ebyamuli ku Mutima
Okukkiriza Kaaana kwe yalina mu Yakuwa kwamuyamba okugumira embeera enzibu.
SAMWIRI
‘Yeeyongera Okukula ng’Ali mu Maaso ga Yakuwa’
Embeera Samwiri ze yakuliramu zaali zitya ez’enjawulo? Kiki ekyamuyamba okuba n’okukkiriza okwamaanyi bwe yali ku Weema Entukuvu
SAMWIRI
Teyaggwamu Maanyi Wadde ne mu Mbeera Enzibu
Ffenna twolekagana n’ebizibu era tuggwamu amaanyi, ekiyinza okunafuya okukkiriza kwaffe. Obugumiikiriza bwa Samwiri butuyigiriza ki?
ABBIGAYIRI
Yali Mukazi Mutegeevu
Kiki kye tuyigira ku bufumbo bwa Abbigayiri obwalimu ebizibu ebingi?
ERIYA
Yalwanirira Okusinza okw’Amazima
Tuyinza tutya okukoppa Eriya singa tusanga abawakanya ebyo Bayibuli by’eyigiriza?
ERIYA
Yatunula era Yalindirira
Kiki ekiraga nti nnabbi Eriya yanyiikirira okusaba nga bwalindirira Yakuwa atuukirize ekisuubizo kye?
YONA
Yayigira Ku Nsobi Ze
Naawe waliwo ekintu kyonna Yakuwa kye yali akwetaaza okukola naye ggwe n’owulira nga kizibu nnyo gy’oli? Ebyogerwa ku Yona birina kye bituyigiriza ku bugumikiriza n’obusaasizi bwa Yakuwa.
ESEZA
Yalwanirira Abantu ba Katonda
Kyetaagisa okukkiriza n’obuvumu okusobola okwoleka okwagala nga okwa Eseza.
ESEZA
Yayoleka Amagezi n’Obuvumu, era Teyeefaako Yekka
Eseza yeewaayo atya ku lwa Yakuwa ne ku lw’abantu be?
MALIYAMU
“Laba! Ndi Muzaana wa Yakuwa!”
Maliyamu kye yaddamu Malayika Gabulyeri kiraga ki ku kukkiriza kwe? Ngeri ki endala ez’omugaso ze yayoreka?
MALIYAMU
“Yafumiitiriza mu Mutima Gwe”
Ebyatuuka ku Maliyamu e Besirekemu byanyweza okukkiriza kwe mu Bisuubizo bya Yakuwa.
YUSUFU
Yakuuma, Yalabirira, era Teyaddirira
Yusufu ab’omu maka ge yabakuuma mu ngeri ki ez’enjawulo? Lwaki yatwala Maliyamu ne Yesu e Misiri?
PEETERO
Yalwanyisa Okutya n’Okubuusabuusa
Okubuusabuusa kintu kya mutawaana nnyo. Naye Peetero yaggwaamu okutya n’okubuusabuusa n’asalawo okutambula ne Yesu.
PEETERO
Yanywerera ku Yesu Wadde nga Yafuna Ebigezo Bingi
Okukkiriza kwa Peetero awamu n’okwagala okunywerera ku Yesu byamuyamba bitya nga Yesu amunenyezza?
PEETERO
Yayigira ku Mukama We Okusonyiwa
Kiki Yesu kye yayigiriza Peetero ku kusonyiwa? Yesu yakiraga atya nti yali asonyiye Peetero?
Okufundikira
Oyinza otya okweyongera okunyweza okukkiriza kwo n’okukuumira essuubi lyo mu birowoozo?
Era Oyinza Okwagala Okusoma Ebitundu Bino
VIDIYO