Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 32

Kiki Ekikkirizibwa Okukolebwa ku Ssabbiiti?

Kiki Ekikkirizibwa Okukolebwa ku Ssabbiiti?

MATAYO 12:9-14 MAKKO 3:1-6 LUKKA 6:6-11

  • AWONYA OMUKONO GW’OMUSAJJA KU SSABBIITI

Ku Ssabbiiti endala, Yesu agenda mu kkuŋŋaaniro era nga kirabika lya mu Ggaliraaya. Asangamu omusajja alina omukono ogukaze. (Lukka 6:6) Abawandiisi n’Abafalisaayo beekaliriza Yesu. Lwaki? Booleka ekyo ekiri mu mitima gyabwe nga bamubuuza nti: “Kikkirizibwa okuwonya omuntu ku Ssabbiiti?”​—Matayo 12:10.

Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya balowooza nti tekikkirizibwa kuwonya ku Ssabbiiti okuggyako ng’obulamu buli mu kabi. Ng’ekyokulabirako, bakitwala nti ku Ssabbiiti tekikkirizibwa kuyunga ggumba eriba limenyese oba okusiba ekigere oba omukono oguba gunuuse, mbu olw’okuba obulamu bw’omuntu tebuba mu kabi. N’olwekyo abawandiisi n’Abafalisaayo babuuza Yesu ekibuuzo si lwa kuba nti bafaayo nnyo ku musajja oyo abonaabona, wabula olw’okuba baagala kufuna kye banaasinziirako okuvunaana Yesu.

Naye Yesu akimanyi nti endowooza yaabwe nkyamu. Akiraba nti balina endowooza egudde olubege, era etali ya mu Byawandiikibwa ekwata ku bintu ebitalina kukolebwa ku Ssabbiiti. (Okuva 20:8-10) Guno si gwe mulundi ogusoose Yesu okuvumirirwa olw’okukola ebintu ebirungi ku Ssabbiiti. Kati Yesu aleetawo embeera egenda okwanika endowooza yaabwe enkyamu. Agamba omusajja ow’omukono ogukaze nti: “Situka ojje wano mu makkati.”​—Makko 3:3.

Yesu agamba abawandiisi n’Abafalisaayo nti: “Ani ku mmwe bw’aba n’endiga emu n’egwa mu kinnya ku Ssabbiiti, atagiggyaamu?” (Matayo 12:11) Endiga ekiikirira bizineesi omuntu gy’aba ataddemu ssente ze, n’olwekyo tayinza kugireka mu kinnya okutuusa olunaku oluddako, kubanga eyinza okufiiramu n’afiirwa. Ng’oggyeeko ekyo, Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Omutuukirivu alabirira ebisolo bye.”​—Engero 12:10.

Ng’asinziira ku nsonga ezo, Yesu abagamba nti: “Omuntu si wa muwendo nnyo okusinga endiga? N’olwekyo, kikkirizibwa okukola ekintu ekirungi ku Ssabbiiti.” (Matayo 12:12) Awatali kubuusabuusa, Yesu okuwonya omusajja oyo aba takoze kintu ekitakkirizibwa ku Ssabbiiti. Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya tebasobola kuwakanya ebyo by’abagambye. Mu butufuu, basalawo kusirika busirisi.

Yesu abeebulunguluza amaaso nga munyiivu era nga munakuwavu olw’endowooza yaabwe enkyamu. Oluvannyuma agamba omusajja nti: “Golola omukono gwo.” (Matayo 12:13) Omusajja agolola omukono gwe era guwona. Omusajja oyo asanyuka nnyo, naye ekyo kiyisa kitya abo abaagala okuvunaana Yesu?

Mu kifo ky’okusanyuka olw’okuba omukono gw’omusajja guwonye, Abafalisaayo bafuluma era amangu ddala bateesa ‘n’abawagizi ba Kerode okutta Yesu.’ (Makko 3:6) Mu bawagizi ba Kerode kirabika mwe muli ne bannaddiini abayitibwa Abasaddukaayo. Abasaddukaayo n’Abafalisaayo tebakolagana, naye ku luno bassizza kimu nga nkuyege olw’okuba baagala kutta Yesu.