ESSUULA 21
Yesu mu Kkuŋŋaaniro e Nazaaleesi
-
YESU ASOMA MU MUZINGO GWA NNABBI ISAAYA
-
ABANTU B’OMU NAZAALEESI BAGEZAAKO OKUTTA YESU
Abantu b’omu Nazaaleesi basanyufu era babuguumiridde. Yesu bwe yali tannagenda eri Yokaana okubatizibwa omwaka nga gumu emabega, yali abeera mu kibuga kino era nga mubazzi. Naye kati amanyiddwa ng’omusajja akola ebyamagero. Abantu b’omu kitundu ekyo bonna beesunga okumulaba ng’akola ebimu ku byamagero ebyo.
Yesu bw’agenda mu kkuŋŋaaniro ery’omu kitundu ekyo nga bwe yakolanga, abantu beeyongera okubuguumirira. Mu kkuŋŋaaniro eryo, basaba era ne basoma mu bitabo Musa bye yawandiika nga bwe kikolebwa ‘mu makuŋŋaaniro buli Ssabbiiti.’ (Ebikolwa 15:21) Ebimu ku ebyo ebiri mu bitabo bya bannabbi nabyo bisomebwa. Yesu bw’ayimirira okusoma, kirabika alaba abantu bangi be yakuŋŋaananga nabo mu kifo kino. Aweebwa omuzingo gwa nnabbi Isaaya era agwanjuluza n’atuuka awali obunnabbi obukwata ku Oyo Yakuwa gwe yafukako omwoyo omutukuvu. Leero obunnabbi obwo busangibwa mu Isaaya 61:1, 2.
Yesu asoma ekitundu ekiraga nti eyafukibwako amafuta yandirangiridde nti abawambe bajja kuteebwa, nti abazibe b’amaaso bajja kulaba, era nti yandibuulidde omwaka gwa Yakuwa ogw’okukkiririzibwamu. Yesu addiza omuweereza omuzingo era n’atuula wansi. Abantu bonna bamutunuulira nkaliriza. Kirabika abaako by’ayogera, oluvannyuma n’agamba nti: “Leero ekyawandiikibwa kino kye muwulidde kituukiridde.”—Lukka 4:21.
Abantu beewuunya ‘ebigambo ebirungi by’ayogedde’ era bagamba nti: “Ono si mwana wa Yusufu?” Naye bw’akimanya nti baagala akole ebyamagero ng’ebyo bye baawulirako, Yesu abagamba nti: “Awatali kubuusabuusa mujja kuŋŋamba olugero luno nti, ‘Musawo, weewonye. Ebintu bye twawulira bye wakola mu Kaperunawumu bikolere na wano mu kitundu ky’ewammwe.’” (Lukka 4:22, 23) Abantu abo muli baalowooza nti ebyamagero yandisoose kubikolera mu kitundu ky’ewaabwe, abantu be be baba basooka okuganyulwa. Bwe kityo, bayinza okuba nga balowooza nti abatwala ng’abatali ba mugaso.
Yesu bw’ategeera kye balowooza, ayogera ebimu ku ebyo ebyaliwo mu Isirayiri mu biseera eby’edda. Abagamba nti waaliwo bannamwandu bangi mu Isirayiri mu kiseera kya Eriya, naye Eriya teyatumibwa eri omu ku bo. Wabula, yatumibwa eri nnamwandu ataali Muyisirayiri ow’omu kabuga Zalefaasi ak’omu Sidoni, gwe yakolera ekyamagero. (1 Bassekabaka 17:8-16) Ate era mu biseera bya nnabbi Erisa, waaliwo abagenge bangi mu Isirayiri, naye Naamani Omusuuli ye yekka eyawonyezebwa.—2 Bassekabaka 5:1, 8-14.
Abantu ab’omu kitundu ekyo bawulira batya Yesu bw’akiraga nti beefaako bokka era nti tebalina kukkiriza, ng’abageraageranya ku abo abaaliwo edda mu Isirayiri? Abo abali mu kkuŋŋaaniro basunguwala era bamufulumya mu kibuga nga bamusindiikiriza. Bamutwala ku kagulungujjo k’olusozi olwazimbibwako ekibuga Nazaaleesi nga baagala kumusuula wansi. Naye Yesu abayitamu wakati n’agenda nga tebamutuusizzaako kabi konna. Yesu agenda e Kaperunawumu, ekiri ebukiikakkono bw’ebugwanjuba bw’ennyanja y’e Ggaliraaya.