Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekkubo, Amazima, n’Obulamu

Ekkubo, Amazima, n’Obulamu

Kiteekwa okuba nga kikusanyusa nnyo okufuna amawulire amalungi. Beera mukakafu nti mu kitabo kino mulimu amawulire amalungi ge weetaaga okumanya awamu n’abantu bo.

Amawulire ago amalungi gava mu Bayibuli, ekitabo Omutonzi w’ebintu byonna, Yakuwa Katonda, kye yawandiisa emyaka mingi emabega. Ekitabo kino kissa essira ku bitabo bina ebiri mu Bayibuli ebirimu amawulire amalungi ennyo eri abantu bonna. Ebitabo ebyo biyitibwa amannya g’abasajja Katonda be yakozesa okubiwandiika—Matayo, Makko, Lukka, ne Yokaana.

Abantu bangi ebitabo ebyo babiyita Enjiri ennya. Ebitabo ebyo byonna ebina birimu enjiri oba amawulire amalungi agakwata ku Yesu. Biraga nti Yesu, oyo Katonda mw’ayitira okutulokola era Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, ajja kuleetera abo bonna abamukkiririzaamu emikisa egy’olubeerera.—Makko 10:17, 30; 13:13.

LWAKI ENJIRI ZIRI NNYA?

Oyinza okuba nga weebuuza, lwaki Katonda yasalawo okuwandiisa ebitabo bina ebikwata ku bulamu bwa Yesu ne ku ebyo bye yayigiriza.

Waliwo emiganyulo mingi egiri mu ekyo. Ng’ekyokulabirako, kuba akafaananyi ng’abasajja bana bali kumpi n’omuyigiriza omulungi ennyo. Omusajja ayimiridde mu maaso g’omuyigiriza oyo musolooza wa musolo. Ate oyo ali ku mukono gwe ogwa ddyo musawo. Ate ali ku mukono gwe ogwa kkono muvubi era mukwano gw’omuyigiriza oyo ow’oku lusegere. Ow’okuna ayimiridde mabega w’omuyigiriza oyo era muto okusinga bali abasatu era yeetegereza ebigenda mu maaso. Abasajja abo bonna beesimbu era buli omu alina ekintu ekimukwatako ennyo. Singa bonna abana bawandiika ku ebyo omuyigiriza by’ayogedde ne by’akoze, buli omu ajja kubaako ebintu eby’enjawulo ebisinze okumukwatako by’akkaatiriza. Okusoma ebyo abasajja abo bonna abana bye bawandiise kisobola okutuyamba okufuna ekifaananyi ekijjuvu ekikwata ku ebyo omuyigiriza bye yayogera ne bye yakola. Ekyo kiraga bulungi emiganyulo egiri mu kuba nti tulina ebitabo bina ebikwata ku bulamu bw’Omuyigiriza Omukulu, Yesu.

Nga tukyali ku kyokulabirako ekyo, omusolooza w’omusolo ayagala okusikiriza Abayudaaya, bwe kityo ebintu ebimu abiwandiika mu ngeri esobola okubayamba okubitegeera obulungi. Omusawo essira alissa ku kuwonyezebwa kw’abalwadde, bw’atyo tawandiika ku bintu ebimu omusolooza w’omusolo by’awandiiseeko oba abisengeka mu ngeri ndala. Mukwano gw’omuyigiriza ow’oku lusegere, essira alissa ku nneewulira z’omuyigiriza n’engeri ze. Ate ye omusajja omuto ku balala by’awandiika abiwandiika mu bufunze. Wadde kiri kityo, buli omu ku basajja abo by’awandiika bituufu. Ekyo kiraga bulungi ensonga lwaki okuba n’ebitabo ebina ebikwata ku bulamu bwa Yesu kisobola okutuyamba okutegeera obulungi ebintu bye yakola, bye yayigiriza, awamu n’engeri ze.

Oluusi abantu bwe baba boogera ku bitabo ebyo, bayinza okubyogerako nga bakozesa ebigambo, gamba nga ‘Enjiri ya Matayo’ oba ‘Enjiri ya Yokaana.’ Ekyo tekiba kikyamu, kubanga ebitabo ebyo byonna birimu “amawulire amalungi agakwata ku Yesu Kristo.” (Makko 1:1) Kyokka, okutwalira awamu ebitabo ebyo birimu enjiri emu, nga gano ge mawulire amalungi agakwata ku Yesu.

Waliwo abantu bangi abafubye okwekenneenya Ekigambo kya Katonda ne bageraageranya era ne bakwataganya ebyo ebiri mu Matayo, Makko, Lukka, ne Yokaana. Awo nga mu mwaka gwa 170 E.E., omuwandiisi Omusuuli ayitibwa Tatian ekyo yafuba okukikola. Yakiraba nti ebitabo ebyo ebina bituufu era byaluŋŋamizibwa, era yakola ekitabo ekiyitibwa Diatessaron, ekyogera ku bulamu bwa Yesu n’obuweereza bwe nga bwe byagenda biddiriŋŋana.

Ekitabo kino, Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu kikola ekintu kye kimu naye mu ngeri entuufu era ematiza. Ekyo kiri kityo olw’okuba kati tweyongedde okutegeera ebikwata ku kutuukirizibwa kw’obunnabbi bungi Yesu bwe yayogera n’engero ze yagera. Okumanya okwo kutuyambye okwongera okutegeera ebintu bye yayogera, bye yakola, awamu n’engeri ebintu gye byagenda biddiriŋŋanamu. Ebintu eby’edda ebizuuliddwa nabyo bituyambye okwongera okutegeera ebintu ebimu n’okumanya ensonga lwaki abawandiisi ba Bayibuli baabiwandiika batyo. Kya lwatu nti oluusi wabaawo ebintu ebyaliwo bye tutasobola kumanya ngeri yennyini gye byagenda biddiriŋŋanamu. Naye ekitabo kino Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu kisengeka ebintu ebyo mu ngeri etegeerekeka obulungi.

EKKUBO, AMAZIMA, N’OBULAMU

Ng’osoma ekitabo kino, gezaako okulaba ensonga enkulu eyogerwako mu kitabo kino, ggwe, ab’omu maka go, awamu ne mikwano gyo gye mwetaaga okumanya. Kijjukire nti Yesu Kristo kennyini yagamba omutume Tomasi nti: “Nze kkubo, n’amazima, n’obulamu. Tewali ajja eri Kitange okuggyako ng’ayitidde mu nze.”—Yokaana 14:6.

Ekitabo kino, Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu kijja kukuyamba okukirabira ddala nti Yesu lye ‘kkubo.’ Tewali muntu asobola kutuukirira Yakuwa Katonda mu kusaba okuggyako ng’ayitidde mu Yesu. Ate era, Yesu lye kkubo eritusobozesa okutabagana ne Katonda. (Yokaana 16:23; Abaruumi 5:8) Bwe kityo, tewali ngeri yonna gye tusobola kufuna nkolagana nnungi ne Katonda okuggyako nga tuyitidde mu Yesu.

Yesu ge ‘mazima.’ Yayogeranga amazima era amazima kwe yatambulizanga obulamu bwe; tuyinza n’okugamba nti amazima gajjira mu Yesu. Obunnabbi bungi bwafuuka “‘yee’ okuyitira” mu Yesu. (2 Abakkolinso 1:20; Yokaana 1:14) Obunnabbi ng’obwo butuyamba okukiraba nti Yesu alina ekifo kikulu nnyo mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda.—Okubikkulirwa 19:10.

Yesu era bwe ‘bulamu.’ Okuyitira mu kinunulo, kwe kugamba, okuwaayo obulamu bwe obutuukiridde n’omusaayi gwe, Yesu yatuggulirawo ekkubo okufuna “obulamu obwa nnamaddala,” nga buno bwe ‘bulamu obutaggwaawo.’ (1 Timoseewo 6:12, 19; Abeefeso 1:7; 1 Yokaana 1:7) Era ajja kukyoleka nti bwe ‘bulamu’ eri obukadde n’obukadde bw’abantu abaafa, bw’anaabazuukiza ne baba n’essuubi ery’okubeera mu lusuku lwa Katonda emirembe gyonna.—Yokaana 5:28, 29.

Ffenna twetaaga okumanya ekifo Yesu ky’alina mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda. N’olwekyo, fuba nnyo okuyiga ebisingawo ebikwata ku Yesu—‘ekkubo, n’amazima, n’obulamu.’