Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Febwali 10-16

ZABBULI 147-150

Febwali 10-16

Oluyimba 12 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. Tulina Ensonga Nnyingi Ezituleetera Okutendereza Yakuwa

(Ddak. 10)

Yakuwa atufaako kinnoomu (Zb 147:​3, 4; w17.07 lup. 18 ¶5-6)

Amanyi obusobozi bwaffe we bukoma era atuyamba ng’akozesa omwoyo gwe (Zb 147:5; w17.07 lup. 18 ¶7)

Atuwadde enkizo ey’okuba abamu ku bantu be (Zb 147:​19, 20; w17.07 lup. 21 ¶18)


WEEBUUZE, ‘Biki ebirala ebindeetera okutendereza Yakuwa?’

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Zb 148:​1, 10—Ebitonde byoleka bitya nti Yakuwa wa magezi? (w04 6/1 lup. 26 ¶ 22)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 3) NNYUMBA KU NNYUMBA. Omuntu akugamba nti alina obulwadde obutawona. (lmd essomo 2 akatundu 5)

5. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Buulira omuntu ebimu ku ebyo bye wayize mu lukuŋŋaana olwakaggwa. (lmd essomo 4 akatundu 3)

6. Okwogera

(Ddak. 5) w19.03 lup. 10 ¶7-11—Omutwe: Wuliriza Yesu—Buulira Amawulire Amalungi. Kozesa n’ekifaananyi. (th essomo 14)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 159

7. Lipoota y’Omwaka gw’Obuweereza

(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.

Oluvannyuma lw’okusoma lipoota y’omwaka gw’obuweereza evudde ku ofiisi y’ettabi, saba abakuwuliriza okwogera ku birungi ebiri mu Lipoota y’Obuweereza ey’Ensi Yonna ey’Abajulirwa ba Yakuwa eya 2024. Buuza ebibuuzo ababuulizi be walonze nga bukyali, abalina ebyokulabirako ebirungi bye baafuna mu buweereza omwaka oguwedde.

8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 37 n’Okusaba