Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okitobba 7-13

ZABBULI 92-95

Okitobba 7-13

Oluyimba 84 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. Okuweereza Yakuwa kye Kisingayo Obulungi!

(Ddak. 10)

Yakuwa agwanidde okusinzibwa (Zb 92:​1, 4; w18.04 lup. 26 ¶5)

Yakuwa ayamba abaweereza be ne basalawo mu ngeri entuufu era ebaleetera essanyu (Zb 92:5; w18.11 lup. 20 ¶8)

Yakuwa atwala abaweereza be nga ba muwendo ne bwe baba nga bakaddiye (Zb 92:​12-15; w20.01 lup. 19 ¶18)

WEEBUUZE, ‘Kiki ekinnemesa okwewaayo eri Yakuwa n’okubatizibwa?’

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Zb 92:5—Ebigambo ebyo biraga ki ku magezi ga Yakuwa? (cl lup. 176 ¶18)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Ng’onyumya n’omuntu, funa engeri gy’omubuulira ku mulimu gw’okola ogw’okuyigiriza abantu Bayibuli. (lmd essomo 5 akatundu 3)

5. Weeyongere Okuyamba Abantu

(Ddak. 3) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Laga omuntu eyali tayagala kuyiga Bayibuli mu kusooka, naye nga kati ayagala okumanya ebisingawo, engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli. (lmd essomo 8 akatundu 4)

6. Okufuula Abantu Abayigirizwa

(Ddak. 5) Yogerako n’omuyizi wa Bayibuli atakulaakulana. (lmd essomo 12 akatundu 5)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 5

7. Abavubuka bwe Baba n’Ebibeeraliikiriza

(Ddak. 15) Kukubaganya Birowoozo.

Abaweereza ba Yakuwa nabo bafuna ebibeeraliikiriza. Ng’ekyokulabirako, emirundi egitali gimu Dawudi yafuna ebimweraliikiriza. Bwe kityo bwe kiri n’eri bakkiriza bannaffe bangi leero. (Zb 13:2; 139:23) Eky’ennaku n’abavubuka bafuna ebibeeraliikiriza. Ekyo kiyinza okubaviirako okukaluubirirwa okukola ebintu bye bakola bulijjo gamba ng’okugenda ku ssomero oba okugenda mu nkuŋŋaana. Kiyinza n’okubaviirako okufunanga okutya oba okufuna ebirowoozo eby’okwetta.

Abavubuka, bwe mufuna ebibeeraliikiriza mubuulireko bazadde bammwe oba omuntu omulala omukulu. Ate era musabe Yakuwa abayambe. (Baf 4:6) Ajja kubayamba. (Zb 94:​17-19; Is 41:10) Lowooza ku Steing.

Mulabe VIDIYO Yakuwa Yandabirira. Oluvannyuma buuza abawuliriza:

• Kyawandiikibwa ki ekyayamba Steing, era lwaki?

• Yakuwa yamuyamba atya?

Abazadde, musobola okuyamba abaana bammwe okwaŋŋanga ebibeeraliikiriza nga mubawuliriza bulungi, nga mukiraga nti mubaagala era nga mubayamba okukikakasa nti Yakuwa abaagala. (Tit 2:4; Yak 1:19) Mwesige Yakuwa abayambe okubudaabuda abaana bammwe n’okubazzaamu amaanyi.

Tuyinza obutamanya nti mukkiriza munnaffe alina ebintu eby’amaanyi ebimweraliikiriza era tuyinza obutamanya ngeri gy’awuliramu. Wadde kiri kityo, tuyinza okubaako kye tukolawo okuleetera bakkiriza bannaffe bonna mu kibiina okuwulira nti baagalibwa era nti ba muwendo.—Nge 12:25; Beb 10:24.

8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 81 n’Okusaba