Ow’Omukwano Omubi
Ow’Omukwano Omubi
Olina “mukwano” gwo gwe wafuna mu myaka gyo egy’obuvubuka, eyakuleeteranga okuwulira nti okuze era eyakuyambanga okugya mu banno. Bwe wafunanga ebikweraliikiriza, wagendanga gy’ali okufuna “obuweerero.” Mu butuufu, wamwesigamangako mu mbeera nnyingi.
Naye oluvannyuma lw’ekiseera, wakizuula nti wa bulabe. Ayagala obeere naye buli kiseera, ne bwe kiba nti mu bifo ebimu ekyo tekikkirizibwa. Wadde nga yakuleeteranga okuwulira nti okuze, Yakosa obulamu bwo. Ng’oggyeeko ebyo byonna, aze abba ssente zo.
Gye buvuddeko awo, ogezezzaako okumwekutulako naye akulemeddeko. Wejjusa okuba nti wamufuula mukwano gwo.
EMBEERA ng’eyo abanywi ba ssigala bangi gye balimu. Omukyala ayitibwa Earline eyamala emyaka 50 ng’anywa ssigala agamba nti: “Ssigala yannyambanga okusinga omuntu yenna. Teyali mukwano gwange gwe nnali mmaze naye ekiseera ekiwanvu kyokka, naye ebiseera ebimu ye yabanga mukwano gwange yekka.” Kyokka nga Earline bwe yakiraba oluvannyuma, ssigala wa mukwano mubi era wa bulabe. Mu butuufu, Earline ye yayogera ebigambo ebiragiddwa ku ntandikwa y’ekitundu kino. Naye bwe yamanya nti okunywa ssigala kibi mu maaso ga Katonda, olw’okuba ayonoona omubiri Katonda gwe yatuwa, yalekera awo okumunywa.—2 Abakkolinso 7:1.
Omusajja ayitibwa Frank naye yasalawo okulekera awo okunywa ssigala asobole okusanyusa Katonda. Naye nga wayiseewo olunaku lumu lwokka oluvannyuma lw’okusalawo okuva ku ssigala, yeesanga ayavula mu nnyumba ye ng’anoonya obutundutundu obwagwa. Frank agamba nti, “Ekyo kyanzuukusa. Okwesanga nga njavula nga nnoonya obutundutundu obwagwa, kyandeetera okuwulira obubi ennyo era saddamu kunywa ssigala.”
Lwaki kizibu nnyo okulekayo okunywa ssigala? Abanoonyereza bazudde ensonga eziwera: (1) Okufaananako ebiragalalagala, okunywa ssigala kisobola okufuukira omuntu omuze. (2) Ekirungo ekiri mu ssigala ekiyitibwa nicotine kisobola okutuuka ku bwongo mu butikitiki musanvu bwokka. (3) Emirundi mingi ssigala afuuka ekitundu ky’obulamu bw’omuntu, kubanga akwataganyizibwa n’okulya, okunywa, okunyumya n’abalala, okuwummuza ebirowoozo, n’ebirala.
Kyokka ng’ekyokulabirako kya Earline ne Frank bwe kiraga, kisoboka okulekayo omuze gw’okunywa ssigala. Bw’oba ng’oyagala okulekera awo okunywa ssigala, okusoma ekitundu ekiddako kiyinza okukuyamba.