ETTEREKERO LYAFFE
‘Tewali Kkubo Lye Batasobola Kuyitamu’
NGA Maaki 26, 1937, abasajja babiri abaali bakooye ennyo era nga bali mu mmotoka eyali ejjudde enfuufu baatuuka mu kibuga Sydney eky’omu Australia. Baali baatandika olugendo lwabwe omwaka gumu emabega, era baali bavuze olugendo lwa mayiro 12,000 ne bayita mu byalo bingi ebyalimu ebiwonvu n’ebisirikko. Abasajja abo tebaali balambuzi. Omu yali ayitibwa Arthur Willis ate ng’omulala ayitibwa Bill Newlands era be bamu ku bapayoniya abanyiikivu abaali abamalirivu okutuusa amawulire amalungi mu bitundu bya Australia ebyesudde.
Okutuukira ddala awo ng’omwaka gwa 1930 gunaatera okutuuka, Abayizi ba Bayibuli * abatonotono abaali mu Australia baabuuliranga mu byalo ne mu bibuga ebiri ku mwalo. Kyokka munda mu Australia mwalimu ebitundu bingi ebyesudde ebyalimu abantu abatono. Naye ab’oluganda baali bakimanyi nti abagoberezi ba Yesu balina okubuulira “okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala,” nga mw’otwalidde n’ebitundu bya Australia ebyesudde. (Bik. 1:8) Naye bandisobodde batya okutuusa amawulire amalungi mu bitundu ebyo? Beesiga Yakuwa okubayamba era ne bakola kyonna ekisoboka okutuusa amawulire amalungi mu bitundu ebyo.
BAPAYONIYA BE BAAWOMAMU OMUTWE
Mu 1929, ebibiina mu Queensland ne mu bugwanjuba bwa Australia byakola emmotoka ez’enjawulo ezandikozeseddwa mu kutuusa amawulire amalungi mu bitundu ebyesudde. Emmotoka ezo zaakwasibwa bapayoniya abanyiikivu abaali basobola okugumira embeera enzibu era abaali basobola okuziddaabiriza nga zoonoonese. Bapayoniya abo baatuuka mu bitundu bingi ebyali bitabuulirwangamuko.
Bapayoniya abaali batasobola kufuna mmotoka baagendanga okubuulira mu bitundu ebyesudde nga bakozesa bugaali. Ng’ekyokulabirako, mu 1932, Bennett Brickell, mu kiseera ekyo eyalina emyaka 23, yava e Rockhampton, Queensland, n’agenda okubuulira mu bitundu ebiri mu bukiikakkono bwa Australia okumala emyezi etaano. Ku ggaali ye yatikkako bulangiti, engoye, emmere, n’ebitabo bingi. Emipiira gy’eggaali ye bwe gyagwerera, yagenda mu maaso n’olugendo lwe nga mukakafu nti Yakuwa yandimuyambye. Yasindika eggaali ye mayiro 200 ezaasembayo n’ayita mu bitundu abantu bangi mwe bajjanga bafiira olw’ennyonta. Mu myaka 30 egyaddirira, Ow’oluganda Brickell
yatambula eŋŋendo empanvu nnyingi okutuuka mu bitundu bya Australia ebitali bimu ng’akozesa eggaali, ppikipiki, n’emmotoka. Brickell ye yasooka okubuulira mu bitundu omuli abantu abayitibwa Aborigines era yayamba mu kutandikawo ebibiina ebipya. Brickell yamanyibwa nnyo mu bitundu bya Australia ebyesudde era abantu bangi baali bamussaamu ekitiibwa.OKWAŊŊANGA EBIZIBU EBITALI BIMU
Ssemazinga wa Australia y’omu ku ssemazinga ezisingayo okuba n’abantu abatono, naddala mu bitundu ebyesudde. N’olwekyo, abantu ba Yakuwa kibeetaagisa okufuba ennyo okusobola okutuuka ku bantu abali mu bitundu ebyo ebyesudde.
Bapayoniya Stuart Keltie ne William Torrington baayoleka obunyiikivu nga bafuba okutuuka ku bantu abali mu bitundu ebyesudde. Mu 1933, baayita mu ddungu eriyitibwa Simpson, erijjudde omusenyu, ne bagenda okubuulira mu kabuga k’omu Alice Springs. Emmotoka yaabwe bwe yafa, Ow’oluganda Keltie, eyalina okugulu okw’ekiti, yeeyongerayo ku lugendo lwe ng’akozesa eŋŋamira! Okufuba kwa bapayoniya abo kwavaamu ebibala bwe baasisinkana maneja wa wooteeri esangibwa okumpi ne sitenseni y’eggaali y’omukka ey’omu William Creek. Maneja wa wooteeri eyo eyali ayitibwa Charles Bernhardt yayiga amazima, n’atunda wooteeri ye, era n’amala emyaka 15 ng’aweereza nga payoniya mu bitundu bya Australia ebisingayo okuba ebikalu era ebyesudde, ng’ali yekka.
Bapayoniya abo baali beetaaga okuba abavumu n’okuba abeetegefu okugumira embeera enzibu. Ng’ekyokulabirako, lumu Arthur Willis ne Bill Newlands abaayogeddwako waggulu bwe baali bagenda okubuulira mu bitundu bya Australia ebyesudde, baamala wiiki bbiri okutambula olugendo lwa mayiro 20, kubanga enkuba ey’amaanyi eyali etonnye yali ereetedde eddungu mwe baali bayita okujjula ebisooto. Emirundi egimu baalinanga okusindika emmotoka yaabwe okugiyisa ku ntuumu z’omusenyu ng’eno akasana bwe kabookya, era baayita mu biwonvu ebirimu enjazi ne basomoka n’emigga. Emmotoka yaabwe yateranga okufa, era ekyo bwe kyabangawo baatambulanga oba baavuganga obugaali ne bagenda mu kabuga akaliraanyeewo ne balinda okumala wiiki eziwerako okutuusa bwe baabaleeteranga ebyuma ebipya eby’okuteeka ku mmotoka yaabwe. Wadde nga baafuna ebizibu ng’ebyo, baasigala basanyufu. Oluvannyuma Arthur Willis, yagamba nti: “Tewali kkubo bantu ba Yakuwa lye batasobola kuyitamu.”
Ow’oluganda Charles Harris, eyamala emyaka mingi ng’aweereza nga payoniya, yagamba nti okuweereza mu bitundu ebyesudde awamu n’ebizibu bye yafuna byamuyamba okwongera okunyweza enkolagana ye ne Yakuwa. Yagattako nti: “Omuntu bw’aba n’ebintu ebitono, obulamu tebumukaluubirira nnyo. Bwe kiba nti Yesu yali mwetegefu okusula wabweru, bwe kyabanga kyetaagisa, naffe twandibadde beetegefu okukikola bwe kiba nga kyetaagisa okusobola okutuukiriza obuweereza bwaffe.” Ekyo kyennyini bapayoniya bangi kye baakola. Olw’okuba bapayoniya abo baabuulira n’obunyiikivu, kyasobozesa amawulire amalungi okutuuka ku bantu bangi mu bitundu ebitali bimu ebya ssemazinga wa Australia, era bangi bakkiriza amazima.