Amagezi Agali mu Bayibuli Gakyakola?
ABAMU BAGAMBA NTI TEGAKYAKOLA. Omusawo omu yageraageranya okukolera ku magezi agali mu Bayibuli ku kukozesa ekitabo kya ssaayansi ekyawandiikibwa mu myaka gya 1920, okusomesa abayizi. Ate abamu bakitwala nti okugoberera amagezi agali mu Bayibuli kiringa okugoberera amagezi agali mu katabo ka kompyuta eyava ku mulembe ng’okozesa kompyuta empya.
Ku mulembe guno ogukulaakulanye ennyo mu bya tekinologiya, lwaki omuntu yandikozesezza amagezi agali mu kitabo ekyawandiikibwa edda ennyo? Waliwo emikutu gya Intaneeti mingi egiwa amagezi ku nsonga ezitali zimu. Ku ttivi kubaako abawi b’amagezi bangi n’abakugu ku nsonga ez’enjawulo. Ate era n’ebitabo bingi ebiwa amagezi ku nsonga ezitali zimu bifulumiziddwa era ababitunda bafuna ssente mpitirivu.
Ku magezi ago gonna agaliwo, lwaki omuntu yandisomye Bayibuli, eyawandiikibwa emyaka nga 2,000 egiyise? Abo abagamba nti okukolera ku magezi agali mu Bayibuli kiringa okukozesa ekitabo kya ssaayansi ekikadde oba ekya kompyuta eyava ku mulembe batuufu? Nedda. Ssaayansi ne tekinologiya bikyuka buli kiseera, naye ebyetaago by’abantu tebikyuka. Abantu bakyetaaga okumanya ekigendererwa ky’obulamu, okufuna essanyu, emikwano emirungi, era n’okuba n’enkolagana ennungi mu maka.
Wadde nga Bayibuli yawandiikibwa dda nnyo, ewa amagezi ku nsonga ezo awamu n’endala nnyingi. Amagezi agagirimu gaava eri Katonda, era tusobola okugakozesa mu mbeera zonna ez’obulamu. (2 Timoseewo 3:16, 17) Obulagirizi obuli mu Bayibuli tebuva ku mulembe, kubanga “Ekigambo kya Katonda kiramu.”—Abebbulaniya 4:12.
Ddala ekyo kituufu? Bayibuli yava ku mulembe, oba kye kitabo ekikyasinze okuba eky’omugaso, era ekirimu amagezi agakola mu mbeera zonna ez’obulamu? Akatabo kano, Omunaala gw’Omukuumi, awamu n’obulala obunaddako, bujja kukuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo.