Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abalaguzi​—Basobola Okumanya eby’Omu Maaso?

Abalaguzi​—Basobola Okumanya eby’Omu Maaso?

ABALAGUZISA EMMUNYEENYE

Abalaguzisa emmunyeenye bagamba nti emmunyeenye, omwezi, oba sseŋŋendo, birina kye bikola ku bantu abali ku nsi. Bagamba nti ekifo ebintu ebyo we bibeera ng’omuntu azaalibwa kirina kye kikola ku nneeyisa ye ne ku biseera bye eby’omu maaso.

Wadde ng’okulaguzisa emmunyeenye kwatandika dda nnyo mu Babulooni, abantu bangi bakyettanira enkola eyo. Okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa mu Amerika mu 2012, omuntu omu ku buli bantu basatu yagamba nti okulaguzisa emmunyeenye “kukwataganamu ne ssaayansi,” ate abantu 10 ku 100 baagamba nti okulaguzisa emmunyeenye “kukwataganira ddala ne ssaayansi.” Ddala ekyo kituufu? Nedda. Ka tulabe ensonga lwaki tugamba bwe tutyo.

  • Sseŋŋendo n’emmunyeenye tebirina maanyi ga njawulo gasobola kubaako kye gakola ku bantu ng’abalaguzisa emmunyeenye bwe bagamba.

  • Bye balagula biba tebitegeerekeka bulungi, era nga bye bintu ebya bulijjo ebituuka ku bantu.

  • Abalaguzisa emmunyeenye leero bakyagoberera enkola eyakozesebwanga edda ng’abantu bakyakkiriza nti sseŋŋendo endala zeetooloola ensi. Ekituufu kiri nti sseŋŋendo endala zeetooloola njuba, so si nsi.

  • Abalaguzisa emmunyeenye ab’enjawulo bye balagula ku muntu omu biba tebikwatagana.

  • Abalaguzisa emmunyeenye baawula abantu mu biti 12 oba mu bubonero obuyitibwa zodiac signs, nga basinziira ku lunaku omuntu lwe yazaalibwa. Olw’okuba ensi tekyali mu kifo kyennyini kye yalimu edda, bw’ogirabira mu bwengula, ennaku ezikwataganyizibwa n’obubonero bwa zodiac, tezikyakwatagana n’ekiseera enjuba w’eyitira ku mmunyeenye ezaaweebwa obubonero obwo.

Bagamba nti obubonero obwo obuyitibwa zodiac signs bubayamba okumanya engeri omuntu gy’alyeyisaamu. Naye ekituufu kiri nti, abantu abaazaalibwa ku lunaku lwe lumu tebeeyisa mu ngeri y’emu. N’olwekyo, olunaku omuntu lwe yazaalibwako terulina kakwate konna na nneeyisa ye.

OKULAGULA EBIRIBAAWO MU MAASO

Okuva edda, abantu beebuuza ku balaguzi. Abalaguzi baanoonyanga amakulu mu bintu gamba ng’engeri ebyenda by’ebisolo n’eby’abantu gye byakulamu, oba engeri enkoko empanga gy’ebojjereramu ng’erya. Abalala baasinziiranga ku ngeri ebikoola by’amajaani gye byakulamu oba empeke z’emmwanyi. Leero bakozesa ebintu nga kaadi, dayisi, oba engeri endala, okulagula ebinaatuuka ku muntu mu biseera eby’omu maaso. Ddala abalaguzi basobola okuyamba omuntu okumanya ebinaamutuukako? N’akatono. Ka tulabe lwaki tugamba bwe tutyo.

Enkola abalaguzi ze bakozesa tezikwatagana. Ne bwe balagula nga bakozesa enkola y’emu, bye bagamba nti bye bijja okubaawo tebikwatagana. Ng’ekyokulabirako, omuntu bw’abuuza abalaguzi babiri ekibuuzo kye kimu, era bombi ne bakozesa enkola y’emu okulagula, bombi bandibadde babuulira omuntu oyo ekintu kye kimu. Naye ebiseera ebisinga si bwe kiba.

Enkola abalaguzi ze bakozesa n’ebigendererwa byabwe bibuusibwabuusibwa. Abamu bagamba nti kaadi ze bakozesa tezibaamu maanyi gonna. Abalaguzi beetegereza embeera y’omuntu ne basinziira okwo okumulagula, so si ku kaadi. Okugeza, omulaguzi omukugu abuuza omuntu ebibuuzo ne yeetegereza nnyo engeri omuntu gy’addamu ebibuuzo ebyo n’endabika ye ey’oku maaso. Oluvannyuma omulaguzi asinziira ku ebyo n’amubuulira ebinaabaawo mu bulamu bwe. Abantu bwe bamala okubeesiga, abalaguzi abo babasaba ssente nnyingi.

BAYIBULI KY’EGAMBA

Abo abakkiririza mu bulaguzi baba ng’abagamba nti byonna ebitutuukako biba byategekebwa dda. Naye ekyo si kituufu. Bayibuli eraga nti tulina eddembe ly’okwesalirawo, era engeri gye tusalawo ekwata ku biseera byaffe eby’omu maaso.​—Yoswa 24:15.

Ensonga endala ereetera abantu abasinza Katonda obuteenyigira mu bulagizi obw’engeri yonna eri nti, Katonda abuvumirira. Bayibuli egamba nti: “Tewalabikanga mu ggwe omuntu yenna . . . akola eby’obulaguzi, oba akola eby’obufumu, oba anoonya obubonero okulagulwa, oba omusamize, oba omulogo, oba eyeebuuza ku mulubaale, oba alagula ebiribaawo mu maaso, oba eyeebuuza ku bafu. Kubanga buli akola ebintu ebyo Yakuwa a amukyayira ddala.”​—Ekyamateeka 18:10-12.

a Yakuwa lye linnya lya Katonda.​—Zabbuli 83:18.