Obunnabbi Obumaze Okutuukirira
Ku ntandikwa twayogedde ku lugero olukwata ku Kolusasi eyalimbibwalimbibwa omulaguzi ow’e Delphi, n’agenda okulwana ne kabaka wa Buperusi ne bamuwangula. Okwawukana ku ngero ng’ezo, Bayibuli erimu obunnabbi obukwata ku kabaka wa Buperusi obwatuukirira mu ngeri eyeewuunyisa.
Ng’ebulayo emyaka 200 kabaka oyo azaalibwe, nnabbi Isaaya yayogera nti kabaka oyo yandibadde ayitibwa Kuulo, era n’annyonnyola n’engeri kabaka oyo gye yandiwambyemu ekibuga Babulooni ekyali eky’amaanyi ennyo.
Isaaya 44:24, 27, 28: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, . . . ‘Nze ŋŋamba amazzi ag’omu buziba nti, ‘Kalira, era ndikaliza emigga gyo gyonna’; nze njogera ku Kuulo nti, ‘Musumba wange, era alituukiriza byonna bye njagala’; nze njogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kiriddamu okuzimbibwa,’ ne ku yeekaalu nti, ‘Omusingi gwo gulizimbibwa.”’”
Okusinziira ku munnabyafaayo Omuyonaani ayitibwa Herodotus, eggye lya Kuulo lyawugula amazzi g’Omugga Fulaati, ogwali gwetooloola ekibuga Babulooni. Ekyo kyasobozesa eggye eryo okusomoka omugga ogwo ne liyingira mu Babulooni. Kuulo bwe yamala okuwamba Babulooni, yakkiriza Abebbulaniya abaali baatwalibwa mu buwaŋŋanguse mu nsi eyo okuddayo okuzimba ekibuga Yerusaalemi ekyali kyazikirizibwa emyaka 70 emabega.
Isaaya 45:1: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba oyo gwe yafukako amafuta, Kuulo, gw’akutte ku mukono gwe ogwa ddyo okuwangula amawanga mu maaso ge, okuggyako bakabaka eby’okulwanyisa, okuggulawo enzigi mu maaso ge, emiryango gibe nga si miggale.”
Abaperusi baayingira mu kibuga nga bayitira mu mulyango ogwalina enzigi engumu, naye nga ku olwo gwalekebwa muggule. Singa Abababulooni baamanya Kuulo kye yali ateekateeka okukola, bandibadde baggala enzigi z’omulyango gw’ekibuga ekyo ogwali okumpi n’omugga.
Obunnabbi obwo bwe bumu ku bunnabbi obungi obuli mu Bayibuli obwatuukirira mu ngeri eyeewuunyisa. a Obutafaananako ebyo abantu bye balagula nga bagamba nti biva eri bakatonda baabwe, obunnabbi obuli mu Bayibuli buva eri Katonda ow’amazima eyagamba nti: “Okuva ku lubereberye nnangirira ebintu ebiribaawo, okuva edda n’edda nnangirira ebintu ebitannaba kukolebwa.”—Isaaya 46:10.
Katonda ow’amazima ayitibwa Yakuwa, y’asobola okugamba bw’atyo. Erinnya lye litegeeza nti, “Asobozesa Ebintu Okubaawo.” Liraga nti alina obusobozi okumanya ebiribaawo mu biseera eby’omu maaso era n’abisobozesa okubaawo okusinziira ku kigendererwa kye. Erinnya eryo litukakasa nti Katonda ajja kutuukiriza ebintu byonna bye yasuubiza.
OBUNNABBI OBUTUUKIRIRA MU KISEERA KINO
Wandyagadde okumanya Bayibuli ky’eyogera ku kiseera kino kye tulimu? Emyaka nga 2,000 egiyise, Bayibuli yalagula nti mu “nnaku ez’enkomerero” wandibaddewo ‘ebiseera ebizibu.’ Enkomerero yaaki? Ensi eno kwe tuli oba abantu si bye bijja okusaanyizibwawo ku nkomerero, wabula Katonda ajja kuggyawo obutabanguko, okunyigirizibwa, n’okubonaabona, abantu bye bayiseemu okumala enkumi n’enkumi z’emyaka. Ka tulabe obumu ku bunnabbi obulaga nti tuli mu “nnaku ez’enkomerero.”
2 Timoseewo 3:1-5: “Mu nnaku ez’enkomerero . . . , abantu baliba beeyagala bokka, nga baagala nnyo ssente, nga beepanka, nga ba malala, nga bavvoola, nga tebagondera bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga si beesigwa, nga tebaagala ba luganda, nga tebakkiriza kukkaanya, nga bawaayiriza, nga tebeefuga, nga bakambwe, nga tebaagala bulungi, nga ba nkwe, nga bakakanyavu, nga beegulumiza, nga baagala eby’amasanyu okusinga Katonda, era nga bawa ekifaananyi nti beemalidde ku Katonda naye nga bye bakola tebiraga nti bamwemaliddeko.”
Tokikkiriza nti abantu bwe batyo bwe beeyisa leero? Naawe okiraba nti abantu abasinga obungi leero beeyagala bokka, baagala nnyo ssente, era ba malala? Okirabye nti abantu bangi bakambwe, era nti tebatera kukkaanya? Oteekwa okuba ng’okirabye nti abaana bangi tebakyagondera bazadde baabwe, era nga n’abantu abasinga obungi baagala nnyo eby’amasanyu okusinga Katonda. Ate buli lukya, embeera yeeyongera kwonooneka.
Matayo 24:6, 7: “Muliwulira entalo mu bifo ebitali bimu. . . . Eggwanga lirirumba eggwanga, n’obwakabaka bulirumba obwakabaka.”
Okunoonyereza okumu kulaga nti abantu abaakafiira mu ntalo okuva mu mwaka gwa 1914 basukka mu bukadde 100, era ng’omuwendo ogwo gusinga omuwendo gw’abantu mu nsi nnyingi. Teeberezaamu ebiwoobe n’emiranga ebibaddewo olw’entalo ezo. Olowooza amawanga galina kye gakozeewo okusobola okumalawo entalo?
Matayo 24:7: “Walibaawo enjala.”
Ekitongole ekikola ku by’emmere ekya World Food Programme kigamba nti: “Wadde ng’ensi erimu emmere esobola okumala buli muntu, abantu obukadde 815 basula njala. Ate omuntu omu ku buli bantu basatu bakoozimba olw’endya embi.” Kigambibwa nti buli mwaka, abaana obukadde nga busatu be bafa enjala.
Lukka 21:11: “Walibaawo musisi ow’amaanyi.”
Buli mwaka, wabaawo musisi wa mirundi nga 50,000 mu nsi yonna, era musisi wa mirundi nga 100 asobola okwonoona ebizimbe. Ate era buli mwaka wabaawo musisi wa mulundi gumu ow’amaanyi ennyo. Kigambibwa nti wakati wa 1975 ne 2000, musisi yatta abantu nga 471,000.
Matayo 24:14: “Amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.”
Abajulirwa ba Yakuwa abasukka mu bukadde munaana, babuulira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu nsi nga 240. Babuulira mu bibuga, mu byalo, ne mu bitundu eby’ensozi. Omulimu ogwo bwe gunaamala okukolebwa ku kigero Katonda ky’ayagala, ‘enkomerero ejja kujja.’ Ekyo kitegeeza ki? Kitegeeza nti gavumenti z’abantu zijja kuvaawo, waddewo Obwakabaka bwa Katonda. Obwakabaka bwa Katonda bunaakola ki? Weeyongere okusoma omanye kye bunaakola.
a Laba ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti, “Obujulizi Obukakasa Obunnabbi Obwatuukirira.”