Akatyabaga Bwe Kaggwaawo
BW’OBA nga wali okoseddwako akatyabaga, osobola okutegeera embeera abalala abali nga ggwe gye bayitamu; bafuna entiisa ya maanyi, basoberwa, era beeraliikirira nnyo. Bangi baggwaamu essuubi ne bawulira ng’obulamu tebukyali bwa mugaso.
Ate era bangi ababa bakoseddwa akatyabaga bawulira nga beetamiddwa obulamu era nga tebakyasobola kugumiikiriza. Kyokka, Bayibuli eraga nti embeera k’ebeere nzibu etya, obulamu bwa mugaso era Bayibuli esobola okuyamba abantu ng’abo okuba n’essuubi nti ebiseera eby’omu maaso bijja kuba birungi.
OKUMANYA AMAZIMA AGALI MU BAYIBULI KITUWA ESSUUBI
Omubuulizi 7:8 wagamba nti: “Enkomerero y’ekintu esinga entandikwa yaakyo.” Oluvannyuma lw’akatyabaga, oyinza okulowooza nti embeera teriddamu kutereera. Naye bw’ogumiikiriza n’ogenda ng’okola mpolampola embeera esobola okutereera.
Bayibuli eyogera ku kiseera lwe ‘watajja kuddamu kuwulirwa ddoboozi lya kukaaba oba okutema emiranga olw’ennaku.’ (Isaaya 65:19) Ekyo kijja kubaawo ng’ensi efugibwa Obwakabaka bwa Katonda. (Zabbuli 37:11, 29) Obutyabaga tebuliddamu kubaawo. Tetuliddamu kujjukira bulumi bwe tufuna olw’ebizibu bye tuyitamu kubanga Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna atusuubiza nti: “Ebintu ebyasooka tebirijjukirwa, era tebirisigala mu mutima.”—Isaaya 65:17.
Kirowoozeeko: Omutonzi waffe atusuubiza “ebiseera eby’omu maaso ebirungi.” Mu kiseera ekyo nga tufugibwa Obwakabaka bwa Katonda, obulamu bujja kuba bulungi era nga bujjudde emirembe n’essanyu. (Yeremiya 29:11) Okumanya ekyo kisobola kitya okukuyamba bw’oba ng’owulira nti obulamu bwo tebukyali bwa mugaso? Sally, ayogeddwako mu kitundu ekisoose agamba nti, “Bw’olowooza ku bintu ebirungi Obwakabaka bwa Katonda bye bujja okutukolera mu biseera eby’omu maaso, kikuyamba obutalowooza nnyo ku byayita, n’okugumira embeera gy’olimu kati.”
Tukukubiriza okweyongera okumanya ebyo Obwakabaka bwa Katonda bye bujja okukolera abantu. Bw’onookola bw’otyo, ojja kukiraba nti obulamu bukyali bwa mugaso kati, nga bw’olindirira ekiseera lwe watalibaawo katyabaga konna. Ne mu kiseera kino, Bayibuli etuwa amagezi agasobola okutuyamba nga tukoseddwa akatyabaga. Ka tulabe agamu ku magezi ago.