Lwaki Twetaaga Obwakabaka bwa Katonda?
Ku ntandikwa, Omutonzi waffe ayitibwa Yakuwa, ye yali Omufuzi yekka era ng’afuga mu ngeri ya kwagala. Yatonda olusuku olulabika obulungi mu Edeni, n’ateekamu abantu abaasooka era n’abawa emmere nnyingi. Ate era, yabawa emirimu egyandibaleetedde essanyu. (Olubereberye 1:28, 29; 2:8, 15) Abantu bandibadde mu mirembe singa bakkiriza okusigala nga bafugibwa Katonda.
Bayibuli eraga nti malayika omujeemu, oluvannyuma eyayitibwa Sitaani, yabuusabuusa obanga Katonda y’agwanidde okufuga abantu. Yagamba nti abantu bandibadde basanyufu nga tebafugibwa Katonda era nga tebagoberera bulagirizi bwe. Eky’ennaku, bazadde baffe abaasooka, Adamu ne Kaawa, bakkiriza obulimba bwa Sitaani obwo era ne bajeemera Katonda.—Olubereberye 3:1-6; Okubikkulirwa 12:9.
Olw’okuba Adamu ne Kaawa baajeemera Katonda, baagobebwa mu lusuku Edeni ne bafiirwa obulamu obutaggwaawo era obutuukiridde. (Olubereberye 3:17-19) Kye baasalawo kyakwata ne ku baana be baazaala. Bayibuli egamba nti olw’okuba Adamu yajeemera Katonda, “ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi.” (Abaruumi 5:12) Ate era ekibi ekyo kyaleetawo ekizibu ekirala. Bayibuli egamba nti: ‘Omuntu aba n’obuyinza ku munne n’amuyisa bubi.’ (Omubuulizi 8:9) Ekyo kitegeeza nti abantu bwe bafuga bantu bannaabwe, wabaawo ebizibu.
ABANTU BATANDIKA OKUFUGA
Omuntu eyasooka okufuga ayogerwako mu Bayibuli ayitibwa Nimuloodi. Nimuloodi yajeemera obufuzi bwa Yakuwa. Okuviira ddala mu kiseera kye, abantu abalina obuyinza ku balala babukozesezza bubi. Emyaka nga 3,000 emabega, kabaka Sulemaani yawandiika nti: “Nnalaba amaziga g’abo abanyigirizibwa, era nga tewali ababudaabuda. Tewaali ababudaabuda olw’okuba abaali babanyigiriza baalina obuyinza.”—Omubuulizi 4:1.
Ne leero bwe kityo bwe kiri. Mu 2009, ekitabo ekyafulumizibwa Ekibiina ky’Amawanga Amagatte kyagamba nti, effuga bbi “kye kimu ku bisinze okuleeta ebizibu ebiriwo leero.”
KATONDA ANAATERA OKUBAAKO KY’AKOLAWO!
Ensi yeetaaga abafuzi abalungi era ne gavumenti ennungi. Era ekyo kyennyini Omutonzi waffe ky’atusuubiza!
Katonda ataddewo Obwakabaka, oba gavumenti ejja okuggyawo obufuzi bw’abantu, era ‘bwo bwokka bubeerewo emirembe n’emirembe.’ (Danyeri 2:44) Obwo bwe Bwakabaka abantu bukadde na bukadde bwe baludde nga basaba bujje. (Matayo 6:9, 10) Naye Katonda si y’ajja okuba omufuzi mu gavumenti eyo. Alina gwe yalonda okuba Kabaka. Ani oyo Katonda gwe yalonda?